Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Ebyemizannyo

Abaliko obulemu balina okukulakulanya ebitone

Bya Shamim Nateebwa Abantu abalina obulemu ku mibiri gyabwe basomozeddwa, bave mu kukabanga wabula baveeyo okukulakulanya ebitone byabwe. Okulabula kuno kukoleddwa omumyuka wa mayor wa Kampala Central, Sam Gombya mu kutongoza empaka zemisinde, egyabaliko obulemu egya e Nakawa. Emiside gino gyategekeddwa nekigenderewa okumanyisa abantu ku baliko obulemu, nokulaga obuobozi bwabwe. Gombya agambye nti abaliko obulemu naddala abavubuka, balina okuteeka…

Read More

Misiri yerondeddwa okutegeka AFCON

Egypt yegenda okutegeka empaka za Africa Cup of Nations 2019, okusinziira ku kibiina ekiddukanya omuzannyo gwomupiira mu Africa ekya Confederation of African Football. Egypt ewangudde South Africa, nobubonero 16, akulu akakubiddwa mu ttabameruka wabakulembeze bekibiina kino atudde mu gwanga lya Senegal. Kino kyadirira CAF okujjako Cameroon omukisa guno, bwebatetegeka bulungi

Read More

Eno y’emboozi yomupiira n’omuziki gyeywetaaga okumanya

Onyumirwa okulaba empiira gyo gyonna? Tukakasa nti walaba emipiira gyonna mu mpaka za FIFA World Cup okutuuka kugwakamlirizo. Wabula watya nga tukubulidde nti osobola n’okufuna amawulire g’ebyemizannyo gonna, waddenga ebya France okuwangula World w’omwaka guno byaggwa?. Tukakasa nti wetaaga amawulire gaffe, nga bwewetaaga okubeetingira ku kitimba oba online betting. Kati webuuza kiki kyetwogerako wano?. kankubagulizeeko ku bikwata ku muziki. Omupiira…

Read More

Omuserikale awangudde omusipi mumpaka z’ebikonde.

Bya Samuel Ssebuliba. Waliwo omuserikale wa polisi ali kudaala elya Special Police Constable Ronald Odoch awangudde omusipi ogwa World Heavy Kick Boxing Championship  mumpaka eza World Kickboxing Federation International Champion Title  ezibadde mu gwanga lya Hungary. Odoch  awuttudde  munansi wa Romania  Radu Mihai Gabriel , nga ono amukubidde mu luzanya lwakuna , era nga okumumegga amukubye ekkonde…

Read More

Minister yeeganye obukuubagano mu bitongole ebikuuma dembe.

Bya Ssamuel ssebuliba. Government ewakanyizza ebibadde bigambibwa nti waliwo okusika omuguwa wakati w’ebiwayi ebikola ku by’okwerinda  nadala bwekituuka kumutendera ogw’okukola ebikwekweto , kko n’okunonyereza kubuzzi bw’emisango. Gyebuvudeko amawullire gaze gakiraga nga bwewaliwo obutakaanya wakati wa ISO, Police ne CMI, era nga buli omu abaddde ayingirira emirimo gyamunne. Bwabadde ayogerako ne banamawulire , Frank Tumwebaze nga  ono ye minister…

Read More

Tiimu ya vipers yakwambalagana ne bright stars leero.

  Bya Samuel Ssebuliba. Nga tiimu ya Vipers Sports Club  yeetegekera okwetaba mu mpaka za Azam Uganda Premier League leero, tutegeezedwa nga team bwefunyeemu edibu nga kino kidiridde okukimanyaako nti omu kubazanyi baayo. Moses Waiswa tagenda kubeera ku tiimu egenda okw’ebiriga ne Bright Stars mumupiira egugenda okubeera ku kisaawe e Mwererwe. Omutendesi wa team eno Jorge Miguel Da…

Read More

Olila High School bawangudde ekyabakyala

Bya Ali Mivule Aba Olila High School  bebanantameggwa b’ekikopo kya Uganda Cup ekyabakyala. Olila yakubye  Gafford Ladies 3-1 ku penati oluvanyuma lw’okugwa amaliri 1-1 mu ddakiika 90. Olila yavudde maliri okuwangula omupiira guno mu muzanyo  ogwanyumidde abalabi ku kisaawe kya Madibira Primary school playground in Busia district last evening. Evelyn Kakayi  yeyasoose okuteebera  Gafford Ladies  wabula Cissy Nnatongo n’akuba…

Read More

Mujib Kasule ali ku ssaala

Bya Ali Mivule Akakaiiko ka FUFA akakola ku by’okulonda kakutuula olunaku lwaleero okusalawo ku nsonga z’ayagala okwesimbawo ku kifo ky’akulira FUFA Mujib Kasule ataasunsulibwa ku lwokutaano oluwedde. Ssentebe w’akakiiko kano  Samuel Bakiika  agamba Mujiba alina ebibulako bingi nga emikono gy’abaamusemba, obufaananyi n’ebirala ebibulamu. Ye Mujiba agamba ebyakyusibwa byali bingi ate obudde nebamuwa butono okuleeta buli kyetagisa . Wabula ategezezza…

Read More

FUFA ekungubagidde owa IvoryCoast

Bya Ali Mivule Ekibiina ekiddukanya omupiira mu ggwanga ekya FUFA kyegasse ku bantu abenjawulo okukugubagira abadde omuzanyi w’eggwanga lya Ivory Coast Ismael Cheick Tiote . Tiote y’atondose n’afa bweyabadde mu kutendekebwa ne ttiimu ye eya Beijing Enterprises FC mu ggwanga lya China. Kati akulira FUFA  Moses Magogo  omugenzi amumenye nga omusambi w’omupiira abadde yewwayo okukola obulungi omulimu gwe…

Read More