Bya Ali Mivule
Aba Olila High School bebanantameggwa b’ekikopo kya Uganda Cup ekyabakyala.
Olila yakubye Gafford Ladies 3-1 ku penati oluvanyuma lw’okugwa amaliri 1-1 mu ddakiika 90.
Olila yavudde maliri okuwangula omupiira guno mu muzanyo ogwanyumidde abalabi ku kisaawe kya Madibira Primary school playground in Busia district last evening.
Evelyn Kakayi yeyasoose okuteebera Gafford Ladies wabula Cissy Nnatongo n’akuba eyekyenkanyi olwo negugweera mu penati.