Bya Ruth Andera
Eyasangiddwa ng’asumuludde sewerage we ng’akulukutira mu bantu awereddwa ekibonerezo kyakwebaka mu kkomera e Luzira okumala ennaku 3.
Senoga Gerald nga Mutuuze we Lungujja mu division ye Lubaga avunaniddwa mu kkooti ya City Hall mu maaso g’omulamuzi we daala erisooka Moses Nabende nakiriza omusango.
Kino kiwaliriza omulamuzi okumuwa ekibonerezo kyakukola busibe mu Kkomera e Luzira okumala …
Bya Judith Atim
Ab’ekibiina ekigatta ba ssentebe ba zi disitulikiti ezenjawulo ekya Uganda Local Governments Association bafulumizza ekiwandiiko nebetonda olwabamu ku ba memba baabwe abayiira minisita akola ku nsonga za ssemateeka Maj General Kahinda Otafiire amazzi yenna najojobana.
Bano Otafiire baamutabukira ku lwomukaaga ku kisaawe kye Namboole Minisita nebamuyiira amazzi nga abamu bamulumiriza nti yetumikkirizza kubanga ssi…
Bya Shamim Nateebwa.
Omuwala omulala attiddwa mu bukambwe oluvannyuma lw'okusobezebwako era n'afumitibwa ebitti mu mbuggo ne mu kabina.
Attiddwa mu bukambwe ye Rossette Nakimuli, omutuuze we kitala mu tawuni kanso e Katabi mu kiro ekikeseza olwaleero era omulambo gwe negusulibwa mu nnimiro ya muwogo n'ebitooke.
Omuvubuka abadde agenda okulima y'asoose okulaba omulambo guno nakuba enduulu esombodde abatuuze .
Nakimuli…
Bya Shamim Nateebwa
Minista omubezi ow’ebyenjigiriza ebisookerwako Rose Mary Sseninde Nansubuga alagidde abakulu b'amasomero okuggalira ebweru wa geeti abazadde abagenda ku massomero nga bambadde enkunamyo.
Bino yabyogeredde ku ssomero lya Queen of Peace Primary School e Lubaga ku mukolo gw’omuwolereza w'essomero lino kwe yagguliddewo n'ekizimbe ekyemyaliro essatu okuli ennyumba z'abasomesa, awajjanjabibwa abayizi, etterekero ly'ebitabo ne laabu ya…
Bya Shamim Nateebwa
Poliisi mu bitundu bye Ntebe eriko omugoba wa Boda boda atayatukiriziddwa manya olw’ebyokwerinda gwegalidde ku misango gy’okusobya ku mwana owasiniya eyokutaano n'oluvanyuma natibwa.
Okusinziira kwakulira ba mbega ba poliisi e Ntebe Zakaliya Mbabazi omugenzi y'asembye okulabikako nga alinnye pikipiki y'omusajja ono kale nga yandiba nga amanyi ku ttemu lino.
Norah Wanyana myaka 18 yatiddwa sabiiti…
Bya Judith Atim
Olwaleero olupapulalwo oluganzi olwa Daily Monitor bweluweza emyaka 25 nga lukuweereza mu by’amawulire ag'amazima era agesigika.
Welutuukidde olwaleero nga olupapula lwa Daily Monitor wamma nga luganzi nyo nga era bangi bakyalweyunira .
Mu myaka gino 25 wabula era temubuzeemu maggwa nga mu 2013 lwaggalwa gavumenti okumala ennaku 11.
Ssenkulu wa Monitor Publications Tony Glencross agamba kikulu…
Bya Magembe ssabbiiti
Abavubuuka babiri ababadde bava okubba embuzi nya (4) mu disitulikiti
ye Kyegegwa bakigudeko motooka ya buyonjo mwebabadde batambulira
namba UAH-598N bwebalemeredde neyefula emirundi egiwerako ku kyalo
Butooke kuluguudo oluva eKyegegwa okuda eMubende okukakana nga
bamenyesemenyese amagulu n’okufuna ebisago ebyamanyi.
Omuddumizi wa poliisi eKyegegwa Byamukama Benoni ategezeezza nga
abavubuuka bano okuli ; Ssendegeya Robert ne Wumalu nga batuuze mu
gombolola ye…
Bya Abubaker Kirunda
Entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyalo Bukutu mu gombolola ye Bulopa ssemaka ow’emyaka 52 bw’awadde abaanabe 2 obutwa n’abatta oluvanyuma naye neyetuga.
Ssemaka ono ategerekeseeko lya Mukwajanga kitegerekese nti asoose kutematema baana bano bwebagonze n’abawa obutwa ne bafa.
Abaana aboogerwako kuliko ow’emyaka 8 ne mutowe Kintu ow’emyaka 6.
Bya Malik Fahad
Ab’obuyinza mu gombolola ye Kabira mu disitulikiti ye Kyotera tebalinze bya gavumenti kutegeka kulonda kwa byalo nebagenda mu maaso n’enteekateeka ezaabwe okulonda abakulembeze baabwe.
Okusinziira ku ssentebe w’egombolola ye Kibanda Richard Kalanzi,olukiiko lwakulembera lwasazeewo okutegeka okulonda ba ssentebe b’ebyalo n’iobukiiko obwekiseera kubanga abaliko mu kiseera kino bazeeyi ebitagambika sso nga abalala baafa dda.
Kalanzi agamba…
Bya Abubaker Kirunda
Poliisi ye Kamuli eriko omukazi ow’emyaka 27 gwekutte lwakukuba muwalawe ow’emyaka 3 n’azirika lwakubba nva za binyeebwa.
Lukia Kawuma omutuuze mu zooni ye Bulondo zone mu disitulikiti ye Kamuli y’akwatiddwa olwokubonereza obubi omwana nti y’akutte mu nva.
Omwogezi wa poliisi mu Bisoga East Michael Kasadha agamba maama y’avudde mu mbeera lwa mwana kukwata mu nva…