Bya Sam Ssebuliba
Poliisi mu Kampala ekyanonyereza ku ttemu erikutte wansi ne waggulu mu municipaali ye Nansana nga waliwo omukazi omulala atiddwa mu bukambwe olwaleero.
Ono okutibwa nga poliisi ekyanonyereza ku balala 4 abatibwa mu kitundu kino ku ntandikwa y’omwaka guno.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Assan Kasinye omugenzi amumenye nga Teddy Nakacwa omutuuze we Nakkule zooni.
Okunonyerza okusoose…
Bya Shamim Nateebwa
Kondakita akubye omusaabaze n'amuwangulamu amanyo lwa 3000.
Kondakita wa takisi nnamba UAT 156B nga ye Ibra Matovu okutabuka kiddiridde okutwala omusaabaze okuva e Luweero okutuuka e Kawanda kyokka bwe yamusabye ssente ze 3,000/- ze yatambulidde n’adda mu kwebuzaabuza..
Olwafulumye mu takisi n’ateekako kakokola tondeka nnyuma kyokka ga tazirina,Matovu namusimbako ekikumi n’amukwatira e Nakyesanja.
Yamusabye engatto n’essimu…
Aba KCCA abakwasisa amateeka nga bawamba ebintu by'abasuubuzi gyebuvuddeko
Bya Shamim Nateebwa
Omusubuuzi atomedwa emotooka ya KCCA alaajanye bamuddukirire.
Sarah Namayanja owemyaka 40 nga mutuuze eKawempe - Lugoba atunda ebyokunywa mu ppaaka ankadde y'alajanye n'ategeeza nti kyamutuseeko atwalibwa mu kkooti aba KCCA.
Namayanja mukiseera kino ali mu ddwaliro e Mulago agamba nti bwe baabadde bagenda oluggi lweggudde n’avaamu n’agwa…
Bya Shamim Nateebwa
Solomon Muwanguzi bamukutte ng'afera Nadiah Nabateregga akola ku Mobile Money ne bamukuba ne bamutulisa emimwa n’ennyindo era poliisi y’e Kawempe Ttula egenze okumutaasa ku bantu ng’afuuwa musaayi tasulewo tasibe yalikumimwa gyabantu.
Kitegerekesse nti omuvubuuka ono agambye Nabateregga nga bw’ayagala okumusindikira 10,000/ ku ssimu ye era bwatyo n'amugyako ssimu mbu yeeteeremu ennamba era mu kuginyigaanyiga…
Bya Shamim Nateebwa
Olunaku olwaleero olukiiko lwa Buganda lwakuddamu okutuula nga nebikulu ebisubirwa kwekusoma kw’embalirira eyomwaka 2017\18.
Omwaka gwebyensimbi oguwedde olukiiko lwa Buganda lwayiisa embalirila ya buwumbi bwakuno 73,nga n’essira ekulu lyali ku byanjigiriza ,ebyobulimi nebyobulamu.
Mungeri yemu wagenda kubawo olutuula olwenjawulo okujjukira emirimu gyomugenzi Ssebaana kizito nga bwekyasalibwawo Ssabasajja Kabaka.
Bya Ruth Andera
Abantu 20 abavunaanibwa okutta eyali omwogezi wa poliisi mu ggwanga Andrew Felix Kaweesi babongeddeyo ku alimanda e Luzira nga tebanamanya wa okunonyereza wekutuuse ku musango gwabwe.
Kino kiddiridde balooya ba gavumenti okuyingira olunaku olwokubiri nga bediimye ekikosezza enyo emirimu gya kkooti.
Omulamuzi Noah Sajjabi atunuddettunudde mu kkooti nga teri avunaana bantu bano omusango nagwongerayo okutuusa…
Bya Sam Ssebuliba
Omusambi w’omupiira Geofrey Massa alula oluvanyuma lwa poliisi okuwerekereza emmotoka gyeyabaddemu n’omukazi amasasi.
Omwogezi wa poliisi mu kampala n’emiriraano Emilian Kayima atutegezezza nti poliisi y’abadde erawuna e Namboole n’esanga emmotoka eyabadde esimbiddwa ku mabbali eyabadde avuga n’agisimbula mu bwangu obwekitalo nebagyekengera.
Kayima agamba mu kwekengera emmotoka eno abaserikale baagikubye emipiira Josephine Malinza eyabaddemu n’alumizibwa wamu…
Bya Ruth Andera
Akediimo kabannamateeka ba gavumenti kasanyalazza emirimu mu kkooti ezenjawulo wano mu Kampala.
Bannamateeka baasalwo okusigala ewaka beebake lwamusaala mutono nga ne nsalessale ow’ennaku 14 gwebaali baawa gavumenti okubatunulamu y’aweddeko.
Bannamateeka bafuna wakati w’emitwalo 50 n’akakadde okusinziira ku ddaala ly’oliko.
Kkooti ezeisinze okukosebwa kuliko Mengo, LDC, kkooti ewozesa abakenuzi , Buganda Road n’eya City Hall .
Emisango egirimu…
Bya Ivan Ssennabulya
Omukubiriza w’olukiiko lwa disitulikiti ye Mukono Emmanuel Mbonnye atiisizza okukulemberamu ba kansala okujja obwesige mu ssentebe wa disitulikiti Andrew Ssenyonga Luzindana lwakulemererwa kussa mu nkola bisalibwawo kanso.
Mbonnye agamba nti nga 29 May omwaka guno kanso yayisa ekiteeso ekyokuwera okusima omusenyu mu kirombe kye Wansiinga mu gombolola ye Mpunge era nebasalawo okuyungula abaserikale okutangira…
Bya Isaac Otwii
Waliwo omukazi ow’emyaka 36 agyemu engoye ku kkooti ye Lira nga awakanya eky’okuvunaana ab’oluganda lwe.
Dorcas Akot y’anaabwe ensonyi mu maaso lwa kkooti kugaana kuyimbula bantu be 6 abavunanibwa omusango gw’okugezaako okutta.
Abavunaanwa kuliko taatawe wamu ne mugandawe abaakwatibwa mu 2014 nebasindikibwa mu kkomera e Luzira nga era ekisinze okumunyiiza…