Bya Isaac Otwii
Waliwo omukazi ow’emyaka 36 agyemu engoye ku kkooti ye Lira nga awakanya eky’okuvunaana ab’oluganda lwe.
Dorcas Akot y’anaabwe ensonyi mu maaso lwa kkooti kugaana kuyimbula bantu be 6 abavunanibwa omusango gw’okugezaako okutta.
Abavunaanwa kuliko taatawe wamu ne mugandawe abaakwatibwa mu 2014 nebasindikibwa mu kkomera e Luzira nga era ekisinze okumunyiiza ye mulamuzi kwongezaayo musango buli kiseera.
Akot yewozezzaako n’ategeeza nga poliisi bweyagala okubamalawo bonna kale kwekubalagako kyalinawo.