Skip to content Skip to footer

Bakansala batabukidde ssentebe waabwe

Bya Ivan Ssennabulya

Omukubiriza w’olukiiko lwa disitulikiti ye Mukono Emmanuel Mbonnye atiisizza okukulemberamu ba kansala okujja obwesige mu ssentebe wa disitulikiti Andrew Ssenyonga Luzindana lwakulemererwa kussa mu nkola bisalibwawo kanso.

Mbonnye agamba nti nga 29  May omwaka guno kanso yayisa ekiteeso ekyokuwera okusima omusenyu mu kirombe kye Wansiinga mu gombolola ye Mpunge era nebasalawo okuyungula abaserikale okutangira abasima omusenyu wabula ate kati ekuuma bagusima kale nga tebabitegeera.

Ssentebe Andrew Ssenyonga tasobodde kufunika kubaaka nekyayogera ku nsonga eno.

 

Leave a comment

0.0/5