Bya Damalie Mukhaye.
Wetwogerera nga minister wa Kampala Betty Kamya asitudde n’ekibinja kyabakansala okuva mu kampala, nga bano abatutte kyankwanzi bawayeemu ne president ku nsonga za Kampala.
Kinajukirwa nti bakansala bano baali balina okugenda e Kyankwanzi nga 12 omwezi guno, kyoka executive director wa kampala Jenipher Musisi nagana okuwaayo obuwumbi 120 ezaali ez’okutambuza, kko n’okulabirira ba kansala bano.
Twogedeko ne kansala we Kyambogo Buruhan Byaruhanga n’agamba nti ba kansala 200 bebasitudde okwolekera Kyankwanzi.