Bya Ritah Kemigisa.
Waliwo okunonyereza okukoleddwa nezisuuka nga masekati ku bannayuganda tebalina nsimbi zakwebeezawo, era nga tebalina na kyakulya kyamisana na kyagulo.
Kuno okunonyereza kwakoleddwa ekibiina ekya Twaweza, nga kwalaze nti ebitundu 84% kubannayuganda sibasanyufu n'engeri eby'enfuna bya uganda gyebidukanyizibwamu.
Bwabadde afulumya alipoota eno Marie Nanyanzi nga ono yakulira ekiwayi ekya Sauti Za wananchi mu kibiina kino…
Waliwo ekibiina ky’obwanakyewa ekisazeewo okuwawalawala govt okutuka mu mbuga za mateeka, nga eno bagiranga kuviirako kufa kw'omukyala eyabadde agenda okuzaala.
Florence Nakamya kakano omugenzi ,yafa ku lunaku lwa Sunday, nga kigambibwa nti ono yalemererwa okusonda ensimbi ezaali ez’okumukolako mu kuzaala .
Kati getufunye gooleka nga ekibiina ekya Center for Health, Human Rights and Development bwekisazeewo okutwaala gavumenti…
Omugoba wa bodaboda abadde ayimiridde okumpi n’omwala amazzi gamututte.
Omusajja ono tategerekese mannya abadde ayimiridde ku luguudo lwa kafumbe mukasa.
Abeerabiddeko n’agaabwe bagamba nti babadde bayimiridde okumpi n’omwala ku mulyango okuyingira mu ka paaka ka bassaja basajjabalaba.
Bano bagenze okulaba nga munaabwe asilittuka agwa mu mazzi.
Wetugyidde ku mpewo nga poliisi tennatuuka mu kitundu kino wabula nga n’abantu tebamanyiw…