Bya Mike Sebalu Omukulembeze wéggwanga Yoweri Museveni akiikidde ensingo banna Uganda abali emabega wókuvumilira okukwatibwa nókuggalirwa kwa Dr. Kiiza Besigye bayogeddeko nga abataagaliza gwanga kalungi. Ngáyita ku mukutu gwe ogwa X, Museveni ategeezezza nga abatawagira kyakukwatibwa kwe bwebandisoose okuzuula nókumanya kiki ekyamukwasisa kuba byonna byeyali ateekateeka okukola byaali bigenderera kutabangula butebenkevu bwa gwanga. Ku kyokutabagana…
Bya Mike Sebalu Poliisi y’ebidduka mu gwanga etegeezezza ng’omuwendo gw’obubenje ku makubo bwegweyongedde okwetoloola ebitundu by’eggwanga eby’enjawulo mu bbanga elya ssabiiti ewedde. Obubenje buno bwaviiriddeko abantu obamu okufiirwa obulamu n’abalala nebaluzimbwa n’ebisago eby’amaanyi. Okusinziira ku mwogezi wa Poliisi y’ebidduka Micheal Kananura, pikipiki nga bulijjo zezasinga okuvaako obubenje buno obwakoze ebitundu 49 ku 100 ku…
Bya Ivan Ssenabulya
Okufananako ngabantu abalala, abayimbi bebamu ku bantu abasinga okukosebwa olwa ssenyiga omukambwe eyagotaanya emirimu egitali gimu.
Bangi ennyingiza yaabwe yakendeera olwebivvulu ebyaggalwa, era bangi kati betanidde nnyo emitimbagano okutunda enyimba zaabwe.
Abakugu era abategeera ekisaawe kyokuyimba bagamba nti anakozesa obulungi emitimbagano mu kuyimba yajja okuvvunuka okusomozebwa okuliwo.
Lino lyekkubo abayimbi KATALEYA & KANDLE lyebakutte.
Okuyita ku mutimbagano…
Bya Sadat Mbogo
mu mawulire agempuna, police y'e Nabyewanga mu gombolola y'e Nkozi e Mpigi eriko ssemaka gwekutte bwebamusanze, yeberese ku mbizzi anyumya akaboozi.
Akwatiddwa nga Ssaalongo mulamba mutuuze w'e Nabyewanga era ssemaka n'abaana mukaaga.
Ono asangiddwa omu ku batuuze ku mbizzi ya George Musiitwa mu kasiko okumpi n'amaka ge, kwekukuba enduulu ekunganyizza abe bulle ne bweya.
Atwala police…
Emisono tegiggwa munsi muno.
Mu ggwanga lya Bungereza omu ku bayiiya emisono, awalakase abasajja abyooya ku bifuba n’akolamu jacket ey’omulembe.
Ono kyamutwalidde essaawa 200 okukungaanya enviiri z’abasajja bano okufuna ezimumala okukola jacket eno.
Kkampuni enkozi y’amata emanyiddwa nga Arla yeetongozezza jacket eno ng’etongoza ekika ky’amata akipya
Kyadaaki eyali akulira ekibiina kya FDc Dr Kiiza Besigye asonze ekibuga.
Poliisi yakedde kusalako maka ge okumulemesa okufuluma kyokka nga oluvanyuma lw'okwogera naye basazeewo nebamuleka
AKulira poliisi y'obukiikaddyom Samuel Omala ategeezezza nga Besigye bwebamugaanye okufuluma mu mmotoka mbu atambuza bigere era bw'atyo n'afuluma
Wabula ate ssibweguli eri Loodi meeya akyatubiridde mu maka ge e Wakaliga.
Lukwago agaaniddwa okufuluma kyokka…
Police mu District ye Nakaseke ekutte abavubuka 5 nga bateberezebwa okusobya ku namukade owemuyaka 90 .
Lameck kigozi Omwogezi wa police mu masekati ga Buganda , agamba abataano bano baali baatwalibwa mu kitundu kino kukola bubapakasi , wabula teebakomye okwo okukakana nga bakakanye ku namukadde nabamusulika enenge.
Abataano bano esaawa yonna baakulabikako maaso gomulamuzi babitemye ku jakirizi…
Poliisi erwanaganye nabatuuze be Kyakatebe ku luguudo lwe Mubende, abakedde okubba omwenge okuva ku ki loole ekyagudde mu kifo kino enkya ya leero.
Loole eno ebadde eva Mityana ku depot ya bbiya wa Nile, nga etwala kuleeti za bbiya ezisuka mu 2000 e Mubende ne mu byalo ebye njawulo.
Wabula e Kyakatebe ze mayiro nga abiri okutuuka…
Omugoba wa bodaboda abadde ayimiridde okumpi n’omwala amazzi gamututte.
Omusajja ono tategerekese mannya abadde ayimiridde ku luguudo lwa kafumbe mukasa.
Abeerabiddeko n’agaabwe bagamba nti babadde bayimiridde okumpi n’omwala ku mulyango okuyingira mu ka paaka ka bassaja basajjabalaba.
Bano bagenze okulaba nga munaabwe asilittuka agwa mu mazzi.
Wetugyidde ku mpewo nga poliisi tennatuuka mu kitundu kino wabula nga n’abantu tebamanyiw…
Abakulembeze ba Mityana town council bakoze ekikwekweto nebamenya obuyumba bwa kiosk bwonna obuli mu tawuni, ekirese abasuubuzi nga balaajana.
Ekikwekweto abaserikale ba town council bakizoe mu matumbi budde ekiro nga abasuubuzi bagenze okutuuka ku mirimu nga obuyumba bwabwe ne maali byonna byalugenze dda.
Obuyumba obusuka mu 100 (kikumi) bwemumenyeddwa nga obwebibaawo bwononeddwa ate obwe bibaati bwo buboyeddwa…