Bya Mike Sebalu
Omukulembeze wéggwanga Yoweri Museveni akiikidde ensingo banna Uganda abali emabega wókuvumilira okukwatibwa nókuggalirwa kwa Dr. Kiiza Besigye bayogeddeko nga abataagaliza gwanga kalungi.
Ngáyita ku mukutu gwe ogwa X, Museveni ategeezezza nga abatawagira kyakukwatibwa kwe bwebandisoose okuzuula nókumanya kiki ekyamukwasisa kuba byonna byeyali ateekateeka okukola byaali bigenderera kutabangula butebenkevu bwa gwanga.
Ku kyokutabagana nókusonyiwa; Museveni ategeezezza nga bwewatali muntu yenna mu nsi ayinza kino kukiyigiriza banna Uganda kuba kino kyebaludde nga bagenderako okuva mu myaka egye 60.
Ono kati ayagala enkola za Court zitambuzibwe nga okusalawo kwa Court Ensukkulumu bwekwalagira Besigye asobole okuwozesebwa mu bwangu.
Ku kyóbujjanjabi, President Museveni ategeezezza nga Dr Besigye babadde afuna obujjanjabi mu dwaliro lya gavumenti munda mu komera era nga kino kibadde kikolebwa wamu nábasawo be.
Agambye nti bwewanaaba waliwo obujjanjabi obwénjawulo obunetaagisibwa, gavumenti yakuweebwa amagezi ku nsonga eyo.
President asabye abo bonna abalumilirwa Dr Besigye okubeera abagumiikiriza okutuusa nga omusango gwa Dr Besigye gujiddwa mu Court yámagye okuzzibwa mu Court yábantu baabulijjo asobole okuwozesebwa.
President waviiriddeyo nga waliwo ebyogerebwa bingi ku kyókukuumira Dr Besigye mu komera ngáte obulamu bwe bulabika nga bwelaliikiriza ate nga abaala bakuliza ensalawo ya Court Ensukkulumu.
End