Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: admin

Gavumenti esanyizzawo passport ezisoba mu mitwalo 5

Bya Babra Anyait Gavumenti ngéyita mu kitongole kyayo ekikola ku bya passport etegeezezza nga bweriko zi passport emitwalo 5 mu 8000 zesanyizzaawo nga abaali nannyinizo balemererwa kuzinona. Ezisanyiziddwawo zibalirirwamu obuwumbi bwezakuno obusoba mu 40. Solomon Mundeyi nga yogerera ekitongole kino ategeezezza nga ekyabakozesa kino kwekuburwa ekifo wezikuumirwa ekimala. Ayongeddeko nga bwewaliwo néndala emitwalo 7…

Read More

Katikkiro atongozza Luwalo lwaffe 2025

Bya Prossy Kisakye Kamala byonna wa Buganda Charles Peter Mayiga, nga 21 January 2025 atongozza enkola ey'oLuwalo lwaffe ey'omwaka 2025. Katikkiro Mayiga abadde mu Bulange e Mengo, akubiriza abantu ba Kabaka okwetanira enteekateeka eno nga bwebaakola omwaka oguwedde. Kamalabyonna ategeezezza nga ensimbi eziva mu Luwalo lwaffe bweziyamba okukola emirimu gy'ebyenkulakulana mu bwa Kabaka. Amagombolola aokuva…

Read More

Ab’akabondo kábabaka abavuganya gavumenti sibakusirika ku nsonga za Dr. Besigye

Bya Damali Mukaye Akabondo kábabaka abóludda oluwabula gavumenti mu Parliament kasizza kimu nga nkuyege okukozesa amaloboozi gabwe mu Parliament okuwaliriza gavumenti okuyimbula Dr Kiiza Besigye okuva mu komera gyakuumirwa e Luzira. Bano abasoose okwevumba akafubo kebatakkirizzamu bannamawulire ku Parliament era baweze obutakoma ku kubanja Dr Besigye yekka wabula nábantu abalala abakwatibwa olwénsonga zébyóbufuzi nga tebarina…

Read More

President Museveni ayogedde ku nsonga za Dr Besigye

Bya Mike Sebalu Omukulembeze wéggwanga Yoweri Museveni akiikidde ensingo banna Uganda abali emabega wókuvumilira okukwatibwa nókuggalirwa kwa Dr. Kiiza Besigye bayogeddeko nga abataagaliza gwanga kalungi. Ngáyita ku mukutu gwe ogwa X, Museveni ategeezezza nga abatawagira kyakukwatibwa kwe bwebandisoose okuzuula nókumanya kiki ekyamukwasisa kuba byonna byeyali ateekateeka okukola byaali bigenderera kutabangula butebenkevu bwa gwanga. Ku kyokutabagana…

Read More

Amyuka Lord Mayor akwatiddwa nga yekalakaasiza ku nguudo z’ekibuga

By Abubakar Lubowa Poliisi ya CPS wano mu Kampala eyodde era neggalira banna byabufuzi Doreen Nyanjura ne Ingrid Turinaawe bwebabadde batambula ku nguudo nga bawakanya ekyokukuumira donctor Kizza Besigye mu komera. Bano babadde n’abantu abalala ababadde bakutte ebipande ebiriko obubaka obusaba okuyimburwa kwa Dr. Besigye awatali wadde akakwakulizo. Bano babasanze mu bitundu bya Arua Park…

Read More

Poliisi y’ebidduka neeraliikirivu n’omuwendo gw’obubenje obweyongera ku makubo

Bya Bbara Anyait Abakulira ekkomera e Luzira bagaaye abakulembeze b’ebibiina by’obufuzi okuyingira e komera lino gyebabadde bagenze okulaba ku Dr. Kiiza Besigye. Mu bano kubaddeko abakulembeze okuva mu kibiina ki National Unity Platform (NUP) abakulembeddwa president waabwe Robert Kyagulanyi Ssentamu gattako n’aba Alliance for National Transfromation (ANT) nga bakulembeddwa Winnie Kiiza n’abalala Ngáyogerako ne bannamawulire…

Read More

New Palm k’ekasimu akappya akatono era ak’omulembe akategenda kukujuliriza.

Ojjukira akuuma kebayita Palm Pilot? Bwoba tojjukira nkakasa bazadde bo bakimanyi obanga baali bakawuliddeko. Kale kankujjukize nti mu mwaka 1997 waaliwo kampuni gy’ebayita Palm Company. Kampuni eno yaleeta PDA eyagulawo ekkubo, eri okujja kwa smartphones oba amasimu kika kya sereeza, wabula yagwawo mu 2011, naye kati ekomyewo ku mayengo. Kati osobola okuzannya emizannyo gyo gy’osinga okwagala okuyita ku…

Read More

Eno y’emboozi yomupiira n’omuziki gyeywetaaga okumanya

Onyumirwa okulaba empiira gyo gyonna? Tukakasa nti walaba emipiira gyonna mu mpaka za FIFA World Cup okutuuka kugwakamlirizo. Wabula watya nga tukubulidde nti osobola n’okufuna amawulire g’ebyemizannyo gonna, waddenga ebya France okuwangula World w’omwaka guno byaggwa?. Tukakasa nti wetaaga amawulire gaffe, nga bwewetaaga okubeetingira ku kitimba oba online betting. Kati webuuza kiki kyetwogerako wano?. kankubagulizeeko ku bikwata ku muziki. Omupiira…

Read More

Obunkenke buzzemu wakati w’amawanga ga Korea

File Photo: Tanka ya North Korea emwanyi Obunkenke buzzemu wakati w’amawanga ga Korea gombi. Omukulembeze w’eggwanga lya North Korea Kim Jong-un alagidde amagye ge ku nsalo eyawula eggwanga lye n’erya South Korea okwetegekera olutalo n’eggwanga lya South Korea. Kim agamba okugyako nga South Korea ekomezza okubaketta ku nsalo yaabwe bakubasesebbula. Bbo abantu abali okumpi baatandise dda okwetegula nga era…

Read More

Faaza Soroti agezezaako okweta

File Photo: Ekereziya ye Rubaga Faaza mu kigo kye Soroti agezezaako okweta lwamusajja azzenga akubira muganzi we amassimu agatatadde nga amukwana. Musajja wakatonda ono Fr. Deogracious Opio, addusiddwa mu ddwaliro ekkulu e Soroti nga ali mu mbeera mbi n’akambe akagambibwa nti keyakozesezza okwesalasala. Omwogezi wa poliisi mu bitundu bino Juma Hassan Nyene ategezezza nti faaza ono nga yakadda…

Read More