Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Emboozi

Katikkiro atongozza Luwalo lwaffe 2025

Bya Prossy Kisakye Kamala byonna wa Buganda Charles Peter Mayiga, nga 21 January 2025 atongozza enkola ey'oLuwalo lwaffe ey'omwaka 2025. Katikkiro Mayiga abadde mu Bulange e Mengo, akubiriza abantu ba Kabaka okwetanira enteekateeka eno nga bwebaakola omwaka oguwedde. Kamalabyonna ategeezezza nga ensimbi eziva mu Luwalo lwaffe bweziyamba okukola emirimu gy'ebyenkulakulana mu bwa Kabaka. Amagombolola aokuva…

Read More

Ab’akabondo kábabaka abavuganya gavumenti sibakusirika ku nsonga za Dr. Besigye

Bya Damali Mukaye Akabondo kábabaka abóludda oluwabula gavumenti mu Parliament kasizza kimu nga nkuyege okukozesa amaloboozi gabwe mu Parliament okuwaliriza gavumenti okuyimbula Dr Kiiza Besigye okuva mu komera gyakuumirwa e Luzira. Bano abasoose okwevumba akafubo kebatakkirizzamu bannamawulire ku Parliament era baweze obutakoma ku kubanja Dr Besigye yekka wabula nábantu abalala abakwatibwa olwénsonga zébyóbufuzi nga tebarina…

Read More

Abazigu bakubye omusuubuzi amasasi agamusse

Bya David Awori Poliisi e Busia etandise omuyiggo okuzuula abazigu bémmundu abalumbyeko edduuka lyómusuubuzi avungisa sente nebamukuba amasasi oluvanyuma agamusse ngáddusibwa mu ddaliro e Tororo. Kigambibwa nti bano bakuulise nómuwendo gwénsimbi ogutannategerekeka muwendo. Ettemu lino libadde kumpi nákatale akaggalwa aké Mawero ku luguudo lwa Tororo mu kibuga Busia. Okusinziira ku musasi waffe David Awori mu…

Read More

Eyali omuyambi w’omubaka Ssegirinya agenda kwesimbawo nga talina kibiina

Bya Prossy Kisakye Eyali omuyambi w’eyali omubaka wa Kawempe North kati omugenzi Mohamad Ssegirinya ono nga ye Mohamad Luwemba alangiridde mu butongole nga bwagenda okuvuganya ku kifo ekyo nga tarina ticket ya kibiina kyonna kwajjidde. Luwemba okulangirira bino kiddiridde ekibiina kya National Unity Platform (NUP) mukama we kyeyali akiikilira okugaana okumuwa ticket yakyo mu kusunsulamu…

Read More

Akulira okukunga mu NUP awambiddwa

Bya Mike Sebalu Abakulembeze bekibiina ki National Unity Platform (NUP) bategeezezza nga bwewaliwo munnabwe awambiddwa akawungeezi ka leero abantu negyebuli eno abatannaba kutegerekeka. Omuwambe ategerekese nga ye Fred Nyanzi Ssentamu abangi gwebamanyi nga Chairman, nga y’akulira eby’okukunga mu NUP. Kigambibwa nti abamuwambye ababadde mu ngoye ezabulijjo kyokka nga bambalidde emmundu. Okuzinziira ku ayogerera NUP Joel…

Read More

Abayimbi 3 abasinga okusanyusa mu Uganda

Ekisaawe ky’okuyimba mu Uganda, kyekimu kwebyo omuli abayimbi abenjawulo era abasanyusa, era abewaddeyo okuyitimusa okuyimba okutuuka mu Africa wonna. Mu mboozi eno, tutunuliidde abamu ku bayimbi emunyenye mu Uganda olwa talanta gyebalina nebyo byebayiseemu okubaako webatuuka. ...Grace Nakimera Waliwo bingi ebibogerwako ebinyuma, okugeza ng’ebya Grace Nakimera. Ono munnaYuganda, yatandika okuyimba ku myaka 7 era okuva olwo taddanga mabega. Nakimera…

Read More

Khalid Aucho yetonze

Bya Lukeman Mutesasira Omuwuwutanyi wa tiimu y'egwanga, the Uganda cranes Khalid Aucho yetondedde egwanga n'ekibiina ekitwaala omuzanyo gw'omupiira mu gwanga ekya FUFA olw’okusiwuuka empisa ekyamuviirako okugobwa mu nkambi. Aucho okugobwa kyadirira okugaana entambula eyasindikibwa okumunona ku kisaawe Entebbe, okumutwala mu nkambi e Kisaasi, gyebasula. Akulira ekibiina kya NUP, Robert Kyagulanyi Ssentamu yavaayo nategeeza nti ensoonga za Khalid Aucho…

Read More

Palamenti esiimye banabyamizanyo abaawangula emidaali.

Bya Kyeyune moses Olunaku olwaleero Parliament esiimye banabyamizanyo ba Uganda abagenda okukiika mu mpaKa z'amawanga agaaliko amatwale ga Bungereza okukakana nga batuweesezza ekitiibwa. Bano webaviirideyo nga omukulembeze we gwanga Kaguta Museveni  yakamala okukyaza bano e Ntebe  naasiima kyebaakolera egwanga. Ekiteeso ekisiima bano kireteddwa omubaka we Ajuri Hamson Obua nekisembebwa omubaka we  Bukedea Annita Among. Mukwogera omubaka Obua  agambye nti…

Read More

Banabyamizanyo abaakikirira uganda bakomyewo ku butaka.

Bya Samuel Ssebuliba. Wetwogerera nga banabyamizanyo ba Uganda abaatukikira mu mpaka ez’amawanga agaaliko amatwale ga Bungereza bataka mu Uganda oluvanyuma lw’okuwangula emidaali mukaaga mu mpaka zino. Bano mukutuuka baniriziddwa minister akola ku by'enjigiriza n'emizanyo Janet Kataha Museveni, nga ono obwedda ali ku kisaawe E ntebe abalinze. Nga abakatuuka omu kubawangudde  emidaali nga ono ye Josua Kiptegei ategeezeza…

Read More

Omulwadde omukyamu alongoseddwa obwongo.

Bya musasi waffe. Mu gwanga lya Kenya waliwo abasawo abagobeddwa, nga kigambibwa nti ono aze kumulwadde omukyamu n'amulogoosa obwongo, kyoka nga sigwabadde alina okukolako. Amawulire getufunye okuva ku mukutu gwa Standard media ogwa Kenya gulaga nga  abagobedwa bwekuliko  abakola mukifo omulongosebwa abantu, ko ne nurse  nga bano bebade bakola mukiro ekyo webalongoserezza omulwadde ono. Akulira edwaliro lino Lily…

Read More