Waliwo omusajja asingisiddwa omusango gw’okugezaako okutta omufu
Bino bibadde mu ggwanga lya Australia.
Daniel Darrington kigambibwa okuba nti yakuba essasi eryakwata omulambo n’ekigendererwa ky’okugutta omulundi ogw’okubiri.

File Photo: Abagoole nga benywegera
Omuwala eyasuubiza kitaawe nti ajja kwekuuma azze n’ebbaluwa y’abasawo eraga nti abadde akyaali mbereera ku mbaga ye.
Omuwala ono Brelyn Bowman ebbaluwa ye gy’akwasizza kitaawe ng’eriko omukono gw’omusawo nti mu butuufu abadde talabanga ku musajja.
Ono afumbiddwa muganzi we gwebagaalanye okuva mu buto era nga bakubye ebirayiro ku mukolo ogukungaanyizza abantu abasoba mu…

File Photo:Kappa nga ekutte ecuppa ya biya
Kkapa eyanywedde n’egangayira erayidde obutaddamu kukwata ku ccupa oluvanyuma lw’okugoyebwa omwenge kumpi kumala wiiki musanvu
Ka kkapa kano akamanyiddwa nga Alijosha kaanywedde eccupa za wayini ssatu eza neyiba bwekabadde katambula agaako.
Nanyini ko agambye nti okumala wiiki musanvu ng aka kkapa kano tekasobola kutambula era nga kagwa eyo gyekanyweera.
Oluvanyuma lw’okukalanga buli…

File Photo: Omukazi nga tadde sente mu kaleega
Mu ggwanga lya Australia , waliwo ekifo ekirirwaamu ekiweze ensimbi eziterekebwa mu kalega ne mu mpale z’omunda
Abaddukanya ekifo kino bagamba nti bwebanyuka babadde babala ensimbi naye ng’ezisinga ziwunya entuuyo era nga batebereza nti zino baba bazikulidde

File Photo: Kooti Enkulu eya Uganda
Maama w’omwana eyagaana okumusindika ku ssomero nga kitaawe afudde ayolekedde okusindikibwa mu kkomera.
Omwana ayogerwaako wa myaka 11 nga yagaana okugenda ku ssomero ng’asiiba akaaba olw’okufiirwa kitaawe
Wabula omwana ono kati bamugobye ku ssomero lwabutasoma nga ne nyina ayolese okusindikibwa mu kkomera

File photo: Empeeke ezigambibwa okwongera amanyi ge kisajja
Omusajja amize amakerenda agaleeta amanyi g’ekisajja amaze ennaku ttaano ng’agaludde
Ono amakerenda nno agamize akyalidde mukwano wakati mu lwali n’okuwakana nti amakerenda tegakola
Omusajja yafuniddewo kamunguluze n’alwaala era bw’atyo n’atandika okukuba enduulu.
Bya mu Amerika

File Photo: Abakazi nga bakoola duyilo
Abakugu mu byobulamu bakizudde ku buli bantu kkumi abakola dduyiro, omu atuuka ku ntikko.
Omusawo omukugu mu bya dduyiro Dr Debby agambye nti kisinga kubaawo ssinga omuntu akola dduyiro alimu okuwanika amagulu.
Gwe akola duyiro twetaaga bujulizi.

File Photo: Abali bobulamu ku beach
Mu ggwanga lya Hong Kong, abakyala bakeera kwekalirira ku musana okusobola okusala amasavu n’obuzito.
Bano nno omusana bagutunulamu butereevu nti gubayambe okusala obuzito
Abakugu balabudde dda nti bano boolese okufa amaaso ssinga tebakikomya
Waliwo enjiibwa ekwatiddwa ng’eyingiza enjaga mu kkomera mu ggwanga lya Costa Rica .
Enjiibwa eno ebadde esibiddwaako enjaga mu kisawo ng’erimu gulamuzi 14
Eno esaliddwa ekibonerezo kyakusibwa ennaku 40.
Waliwo omukyala kasobeza eyerabidde omwana we ow’emyezi esatu n’afa ng’obuzibu bwonna kaboozi
Omukyala ono abadde asitudde omwana ng’amutwala mu ddwaliro omusajja amusigudde n’amulesaawo omwana amusanze ku siteegi webalindira baasi.
Ono aleseewo omwana n’agenda n’omusajja ono mu nju ye okumala essaawa mwenda era agenze okudda nga bebi w’amulese afudde
Omukyala ono bw’asimbiddwa mu kkooti akkirizza emisang nga kati asibiddwa…