Olwali
Abakaabi bongezza ebisale
Ekibiina ky’abakaabi ekya Kumasi funeral services kyongezezza ebisale by’okukaabira ku mikolo oluvanyuma lw’okubinikibwa emisolo emipya Akulira ekibiina kino ekisimbye amakanda mu Ghana, ategeezezza nti bamaze emyaka etaano nga tebongeza bisale kyokka nga kati kibasusseeko. Omukulu ono agambye nti bassa ensimbi nyingi mu kutendeka abakaabi okusobola […]
Giraasi etambudde yokka
Ababadde baweereza pulogulaamu bakanudde amaaso wakati mu kutya oluvanyuma lw’ogugambibwa okubeera omuzimu okutandika okutambuza gulaasi mwebabadde banyweera amazzi. Giraasi eno etandise okutambula yokka okwetoloola emeeza kyokka wakati mu kutya teri avuddeu kigambo. Bibadde mu ggwanga lya Hondurus
Amukubye akakondo ku mutwe
Omukazi amazeeko abantu ebyewungula bweyayambudde akakondo n‘akakompola omusajja abadde amukwana mu mutwe. Abantu ababadde mu ka restorant beebarabye ng’akagatto kabayitako ekikumi nekatuukira ku musajja ssabakwanyi Akagatto kano kakutte omusajja n’ayiika omusaayi. Omukyala ono olumaze akimye bulungi akagatto ke n’akambala olwo n’atambula neyeyongerayo Biri Bungereza
Akozze lwa lulenzi
Omukazi abadde omuzito ekisusse asaze kiro 16 muganzi we bw’amukyaaye. Omukyala olw’omukwano n’emmere buli lunaku abadde agejja ekyavuddeko muganzi we okumuddukako Ono kati alwana kusala buzito kulaba nti addamu okuwangula olulenzi.
Ba difiiri basitudde
Ba difiri okuva mu ggwanga lya Guinea balondeddwa okulamula omupiira wakati wa Uganda ne Togo olunaku lw’enkya Keita Yakuba y’agenda okulamula ayambibweeko Dumbuya Abubakan ne Raffi Abdel. Yoomu tiimu ya Uganda esitudde okwolekera Togo nga ku bano kuliko Denis Onyango, Robert Odongkara, Isaac Isinde, Geoffrey […]
Agezezzaako okutta omulambo
Waliwo omusajja asingisiddwa omusango gw’okugezaako okutta omufu Bino bibadde mu ggwanga lya Australia. Daniel Darrington kigambibwa okuba nti yakuba essasi eryakwata omulambo n’ekigendererwa ky’okugutta omulundi ogw’okubiri.
Omuwala embereera aleese obujulizi
Omuwala eyasuubiza kitaawe nti ajja kwekuuma azze n’ebbaluwa y’abasawo eraga nti abadde akyaali mbereera ku mbaga ye. Omuwala ono Brelyn Bowman ebbaluwa ye gy’akwasizza kitaawe ng’eriko omukono gw’omusawo nti mu butuufu abadde talabanga ku musajja. Ono afumbiddwa muganzi we gwebagaalanye okuva mu buto era nga […]
KKapa egangayidde
Kkapa eyanywedde n’egangayira erayidde obutaddamu kukwata ku ccupa oluvanyuma lw’okugoyebwa omwenge kumpi kumala wiiki musanvu Ka kkapa kano akamanyiddwa nga Alijosha kaanywedde eccupa za wayini ssatu eza neyiba bwekabadde katambula agaako. Nanyini ko agambye nti okumala wiiki musanvu ng aka kkapa kano tekasobola kutambula era […]
Teri nsimbi za kaleega
Mu ggwanga lya Australia , waliwo ekifo ekirirwaamu ekiweze ensimbi eziterekebwa mu kalega ne mu mpale z’omunda Abaddukanya ekifo kino bagamba nti bwebanyuka babadde babala ensimbi naye ng’ezisinga ziwunya entuuyo era nga batebereza nti zino baba bazikulidde
Abadde akungubaga bamugobye ku ssomero
Maama w’omwana eyagaana okumusindika ku ssomero nga kitaawe afudde ayolekedde okusindikibwa mu kkomera. Omwana ayogerwaako wa myaka 11 nga yagaana okugenda ku ssomero ng’asiiba akaaba olw’okufiirwa kitaawe Wabula omwana ono kati bamugobye ku ssomero lwabutasoma nga ne nyina ayolese okusindikibwa mu kkomera