MANCHESTER
Kibeera kizibu oli okuvuga mmotoka ya bukadde 540 (£130,000) n’ekitakola mawulire oba abantu ne batagyegomba. Bw’atyo mwana mulenzi Mario Balotelli owa Man City yabadde agenzeeko ku ‘shoppingi’ kyokka yagenze okufuluma edduuka ng’abawagizi beebulunguludde mmotokaye ekika kya Bentley GT nga bagyekubizaako ebifaananyi.
Anti kyangu okumanya mmotoka eno kubanga Balotelli yagikyusa langi n’agisiiga ebifaanana eby’amagye,…