Ddala kafeero eyayimba nti eyayiiya omwenge asobola mutuufu kubanga gwo tegumanya oba oli musirikale oba nedda.
Munamaggye mu ggwanga lya Russia akwatiddwa n'aggalirwa lwakutomeza motoka yamaggye nga atamidde.
Musajja mukulu ono Ryazan's Margelov waakuvunaanibwa mu kooti yamaggye oluvanyuma lw'okwekatankira ebbidde ate neyepanka kunkata mbu navuga.
Ono yatomedde nekibanda kya cinema ekyabadde okumpi lwatamiiro.
Musajja wattu ono yagenze okudda engulu…
Bano ba officer ba police ya amerika mu kibuga califonia baka.
Bakutte diikula abadde avuga pikipiki ku sipiidi eyayiriyiri ate nga tayambadde helmet.
Diikula abadde ayambadde nga akamyu asoose kubiyita byalusaago neba officer nabawamu akapela ka Easter, wabula kimubuuseko ba offiisa olumaze okuseka nebamu kwanga ekipapula kyokuvugisa ekimama era waakusasula fayini.
Diikula ono abadde yeeyuna budde kugenda kusanyusa…
Omuzanyi womupiira Mario Balotelli tagwayo.
Buli kiseera aba ayagala kukola bintu byaawukana ku byaabalala.
Kuluno oluvanyuma lwomupiira gwebaazanye ne kirabu ya Verona, Balotelli yasazeewo kwesuubira mu nyonyi nga nkima.
Bazannyi banne webaatadde emigugu gyaabwe, evvubuka lino lyo weryaasazewo okweebaka, era lyaagenze nga mugugu wakati w'okulikuba olwaali okuva eri basambi banne nga bamwaagaliza otulo otulungi.
Omubbi abadde ava okukwakkula akasawo k'omukazi mu dduuka munda mu ggwanga lya Australia akigudeko.
Olumaze okubba , sempala ono amasuse wabula naagwa mundabiraamu ezimukubye ekigwo ye zaaabadde ayita omulyango.
Dala Kabwa kabbi kagumya mugongo kubanga obulumi tabuwulidde bwasituseewo neyeeyongerayo aleme kukwaatibwa.
Abaduukirize basoose kumuyoolayoola nga tebamanyi nti mubbi, era olusituse nateekako kakokola tondeka nyuma naamalamu omusubi.
Omusazi wensawo ono…
Abakyala abamu tebasaaga
Ono asazeewo kukyaawa bba lwakuba na mutaka atawera
Omukyaala ono amanyiddw anga Zhang wamyaka 52 ng’agamba nti omusajjja oo abadde tamuwa ssanyu
Ono mu kootie taddeyo bujuliz bwa buwanvu bwa bba nga bwa centimeter 5.
Omukyala ono era agambye nti yye ayagala nnyo ekigwo ky’oku makya kyokka nga bba ayagala bya kiro kyokka bw’atyo neyetegula ennaku
Embeera zabakyaala zisesa.
Omukazi mu gwanga lya Amerika mu saza lya Texas akumye ku nyumba ye omuliro nga ayagal okwookya omusota ogubadde guyingidde munda.
Nakyaala ono teyakaayanye namusota guno ogwaabadde gumuyingiridde, yasoobye mpola nafuna amafuta nagumansira, olwo najayo akabiriiti agwokye omukyomo naye tebyaagenze bulungi.
Eyagenderedde okwookya omusota yayokezzamu nyumba yonna neteta awatali kusigala kantu konna nga mwotwaalidde nenyumba…
Bwooba omanyi nti osaaabalira kunyonyi wabula nga oli munene ekisukiridde wulira bino.
Mu gwanga lya Norway ,Waliwo ekiteeso ekyokusasuza ba namudigu nebasemudigu ensimbi ezisinga ku zaabanaabwe aba sayizi eyekigero .
Enteekateeka eno yaakusasuza omuntu ensimzi za ticket okusinziira ku buzito bwe nemigugu gyaatisse.
Kino kitegeeza ebislae bya tiket zabantu abatonotono byaakukka ko.
Omukugu mu byenyonyi Dr Bhatta owa university…
Omusomi w’amawulire ku TV bimukalidde ku matama bw’asomye agakwata ku yye kenyini mu butanwa
Ono abadde agenda mu maaso nokusoma nebamuleetera agatalinda era bw’atyo naye n’atandika okusoma kyokka agenze okulaba nga asoa bimukwtakako.
Mu kwekanga asikatidde era wnao muganzi wenayingira studio n’akka wansi ku maviivii n’amusaba akkirize bafumbirwegane
Munnamauwlire ono wakati mu ssnayu akkirizza era nebatandikirawo okwenyegweera
Fredrick Musisi Kiyingi
LWAMUKAAGA
Ghana ne Cape Verde
South Africa ne Mali
SSANDE
Ivory Coast ne Nigeria
Burkina Faso ne Togo
KAMPALA
Ttiimu musanvu ku munaana ezisigadde mu kikopo kya 2013 Orange Africa Nations Cup, musanvu zonna ziva mu West Africa nga ku zino mukaaga zikwatagana mu luzannya lwa ‘Quarter Final’ wiikendi eno.
Naye ku…
a.Van Persie. Y’akyasinze okulengera akatimba mu United sizoni eno kubanga yaakateeba ggoolo 22. b.Wayne Rooney.Yaakateebera United ggoolo 12 sizoni eno. c. Danny Welbeck Yaakateeba ggoolo emu yokka sizoni eno. d.Javier Hanandez. Sizoni eno yaakateeba ggoolo 14 mu mipiira gyonna.
OMUPIIRA
Omutendesi wa Man United agamba nti abateebi baalina mu kiseera kino omuli Robin van Persie, Wayne Rooney,…