Dala kizibu okusasula omuzadde.
Mu china taata asazewo okweyambula abayizi mu tendekero bamulabireko nga bakuba ekifaananayi kye olwo asasulwe.
Omusajja ono nga mulimi Zhao Changyong, 47, abadde yeetega pawundi £15,000 okujanjaba mutabani we abadde nekirwadde kyamagumba.
.Musajja watuu ono yasoose kutunda farm ye ensimbi nga tezimala, olwo kwekusalawo ekiba kibe naye nga mutabani we awonye.
Ekisinga okukuba enaku kwekuba…
Omusajja amaze enaku 4 mu lift awatali mere wadde amazzi wabula natafa.
Thomas Fleetwood agamba asobodde okumalako lwakuba yafuna okutendekebwa kwekinamaje.
Omukulu ono abadde mu lift mu hotel emu eyakyankalanye olwo naremeramu okumala enaku nya.
Hotel eno abantu babadde tebakyagikozesa era nga kibadde kizibu okumanya nti waliwo omuntu alemedde mu lift.
Katonda akyakola ebyamagero.
Mu Germany, omwana owemyaaka 2 agudde okuva ku mwaaliriro ogwokuna ku kalian wabula natafuna kisago kyonna wadde okumenyeka.
Maria Kohler yaagudde wabula naavawo nga mpaawo kibaddewo.
Omusawo gyebamututte ategeezezza nga omuwala ono bwaali owomukisa enyo era ayongere kutendereza katonda kubanga kizibu okuva ku mwaliriro guno notamenyeka.
Maama womwana ono Melanie Kohler, 32, agamba kino kyewunyo kyenyini…
Abano aba poliisi tebasangika
Devon and Cornwall bavude mumbeera nebawaaba omusango gwokubabira ebyokulya.
Ekyewunyisa ebyokulya bibadde mu kizimbe mwebakolera nebategeeza nga bwebalina okubeer abalambulukufu nga baloopa buli musango gugudewo.
Ababiri bano basoose kukola statement nga bawaaba nga bwebabiddwako ekyemisana kyaabwe era nga baagala okunoonyereza kutandike.
Wabula mukama waabwe abasekeredde naategeeza nga okunoonyereza ku bintu nga bino bwekutasoboka.
Asoose kubiyita byakusaaga,…
Mu Ukraine Namukadde 97, abadde alongoosa amadirisa atalantuse okuva mu dirisa erimu ku kaliana nasigala nga alengejja oluvanyuma lwokwekwata okugezako okutaasa obulamu.
Angela Artyomova alaze nti akyaayagala obulamu bweyekutte neyenyweeza nga omuvubuka nga bwakuba omulanga bamuyambe.
Abayise bebamuyambye nebakubira police enzinya mooto ezze okumutaasa.
Wabula abapolice bano beewunyizza obuvumu bwa namukadde ono oluvanyuma lwokulengejja okumala edakiika asatu ku…
Omukyala omukadde gwebalagidde okujja akagaali ke mu bimuli by’awaka yekalakaasizza ng’ayiwa ebintu bye byonna mu maaso g’enyumba
Omukyala ono Debbie Ballard wa myaka 47 agambye nti tajja kukkiriza kumuboola nga y’ensonga lwaki asazeewo okubalagako
Omukyal aono abadde agufudde muze okudda mu bimuli ebili ku kkubo n’asimba awo makanda abantu babadde bamukooye ng’abatambuze bagamba nti abamalako emirembe.
Olukiiko olutwaala…
Kkampuni y’omwenge mu ggwanga lya japan ekoze omwenge mu busa bw’enjovu .
Omwenge guno ekyewunyisa nti abantu bagugula ng’abawendule kumpi kugumala ku katale.
Omwenge guno guyitibwa Kono Kuro ekitegeeza kazambi
Abagunyweddeko bagamba nti yadde gukaawa, gulina engeri gyeguwoomereramu, olwo kagunywa n'afa obuwoomi.
Omusajja abadde avuga ammotoka n’agitomeza akimazeeko abasilikale bw’abategeezezza nga bweyawuguddwa n’ava ku motoka oluvanyuma lw’okulaba amabeere g’omukyala omulala mu mmotoka
Omusajja ono agamba nti omukyala yabadde apise ebbeere nga yatendewaliddwa n’atandika okumira omugandaa era okukkakna ngatomezza emmotoka
Poliisi etuuse awabadde akabenje n’etasangawo mukyala ayogerwaako olwo nayo nebigisobera
Abavubuka abatambula nga basagazza empale nebalaga obuwale bw’omunda basaanye okuwulira bino
Mu America u ssaza lya Lousiana omuvubuka yenna anasangibwa ng’alaze ekawale k’omunda wakusasula
Essaza lino liyisizza etteeka lino olunaku lwaleero ng’analimenya wakusasula emitwaalo 15, singa omuntu addamue ensobi eno esasula emitwaalo 30 ate nga ssinga akiddamu owgiokusatu akola bulungi bwa nsi okumala essaawa 16
Abasiba balance eno…
Ono omusajja asobola .
Oluvanyuma lwamukyaala we gwebabadde baakawukana naye ebbanga ttono emabega okumweera enyumba yonna obutamulekera kantu konna, semaka ono atadde ekipande ekinene wabweeru w'enyumba ekirangira nakyala ono obubbi.
Robin Baker nga muvuzi wabiloole mu kibuga Leicestershire yakoze kino naalangira omukyaala ono nga bweyamumegga mu kooti ku musango gwokwawukana era nalabula nabasajja abayinza okwegwanyiza omukyaala ono nti…