Banange obuseegu bususse munsi.
Mu saza lya Southampton mu gwanga lya bungereza abaana abali wansi wemyaaka 13 bawanisizza bazadde baabwe emitima lwakukeera kweesa mpiki zamukwaano nga tebaneetuka.
Obulenzi obutanayiga nakwekuuta, bwekubisa nebifaananyi byobuseegu nebubiweereza obuwala nga bubusaba omukwaano.
Ebikolwa bino bisinze kweyolekera mu somero erimu mu kibuga kino nga abasomesa nabo bibasobedde olwabaana abato bano abaatamiira akaboozi.
Ebiseera ebisinga…
Buli omu n'omulimu gwe era nga bangi basaamu ebisoko okusikiriza abaguzi
Nono masiikini yayiiyizzaayo akapya mu mu mulimu gwe ogwokusabiriza.
Yafunye ebbakuli buli emu nagiteekako erinya lyediini eyenjawulo omuli, abaddu ba Allah abasiramu, abakatoliki, abakkiriza mu buda, nabakaafiri.
Oluvanyuma yatimbye ekipande ekirala ekisoma nti diini ki esinga obugabi n'ekisa.
Abantu obwedda beesomba nga bwebawaayo buli omu eri eddiini ye…
Oluvanyuma lwa sabiiti ttaano ng’ekisaawe kye Nakivubo kigaddwa, kyaddaki kiguddwaawo
Ab’ekitongole ekiwooza ekya Uganda Revenue authority bategeraganye n’abaddukanya ekisaawe kino era nga kigguddwaaow
Abe Nakivubo bawaddeyo obukadde 50 awamu n’okusasula ba wanyondo aba Ismba speed auctioneers
Manager w’ekiwsaawe kino, Ivan Lubega agamba nti bagenda kutandikirawo okulongoosa ekisaawe olunaku lw’enkya olwo emilimu giddemu okukwaggya
Omusajja ayitidde omuvubuka owemyaka 16 police lwakumubba nga bazanya omuzanyo gwa chess.
Gabriel Mirza, 47 nga munansi we gwanga lya Romania yalumiriozza omuvubuka ono nga bwabadde agenda okuwangula omuzanyo, olwo akavubuka kano nekeetoololamu mu kabuyonjo nekakozesa compyuta nekasoma empiki gyabadde agenda okuzzako.
Olukomyewo obwedda akavuya ate nekamuddako nekamukuba empiki, olwo naava mumbeera.
Musjja mukulu ono agamba akavubuka kano…
Abantu bangi bagaala kubeera balungi naye ate ono abwevuma
Omusajja gw’oyiwaka amazzi g’onywa afumuuddwa mu ggwanga lya Saudi Arabia lwakuyitira bulungi
Omar Al Gala munnakatemba ate ng’akuba ebifaanyi mu Dubai naye nga ebasajja banne babadde bamwegomba nnyo
Ono alina amaaso galoolabuloozi, n’akasusu era bangi bwebamulaba basigala basamaalilidde
Kati ono ye obubbi abuveeko kubanga tabusobola.
Omubbi amenye enyuma yomutuuze omu mu gwanga lya Romania nayingira , wabula kappa nemukanga naalya kava wansi wekitanda.
Sempala ono atidde nyo nga alaba nga kappa egenda okumukwagula olwo nakuba omulanga nga omwaana omuto.
Takomye awo akutte esimu nakubira police ejje emutaase mu kappa eno gyaatya okufa.
Police olutuuse musajja wattu ono…
Bwoba omanyi nti oli diifiri wa mupiira nga omupiira ogufuuwa matankane, weegendereze.
Mu Indonesia omuzanyi womupiira akubye diifiri namujjamu erinyo lwakugaba penati mungeri yamncoolo.
Pieter Rumaropen, yaakubye diifiri Wasit Muhaimin enguumi olwobusungu lwakugaba penati era tiimu ye newangulwa.
Wabula ref naye tanywa guteeka, asoose kuwa muzanyi ono kaadi emyufu olwo nalowooza kukyokukwaata ku mumwa nga yenna abadde atiirika musaasyi.
Ekibiina…
Ababbi b'ennaku zino bagezi nyo.
Mu kibuga San Diego mu gwanga lya Amerika, omukazi akubye enduulu bwasanze kilo zenjaga 30 mu motoka ye ate nga siyeyazitaddemu.
Nakyaala ono aweza egyobukulu 33, yeewunyzizza oluvanyuma lwomusajja atanategerekeka okutandika okwepakulira ku motoka ye nga bwajjamu enjaga ate nga baabuwe ye yabdde mpaawo kyajimanyiko.
Ono yakubye enduulu eyasombodd e nabapolice abaasose okumunyweza…
Abesimbyewo kubukulembeze bwomuzanyo gwebikonde,bamaze okukola ebigezo byolulimi nga okulonda tekunabaawo.
Mubesimbyewo kubwa sentebe kwekuli Godfrey Nyakana ne Sam Lukanga era nga okulonda kuno kwalamukaaga lwa week eno nga 27th e Lugogo.
Ye Gulu Wassajja owa Kololo boxing club nga ono yemutabani womugenzi Ben Ggulu, teyafunye amuvuganya kukyobuwanika bwekibiina ekikulembera omuzanyo guno ogwebikonde mugwanga.
Manchester United esitukidde mu kikopo kya pulemiya bw'ewnagudde omupiira gwaayo ye ne Aston Villa.
Robin Van Persie y'ateebye goolo emaze eggobe mu kibya nga kati yadde liigi ekyagenda mu maaso, omuwnaguzi yategerekese dda.
Guno mulundi gwa 20 nga United ewangula ekikopo kino.