Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Ebyobulamu

Minisitule eyongedde ku bifo omugemerwa e Mukono ne Wakiso

Bya Ivan Ssenabulya Minisitule yebyobulamu eriko ebifo ebiralal, byetaddewo mu disitulikiti ye Mukono ne Wakiso, abantu webayinza okwanguyirwa okugemebwa ssenyiga omukambwe. Ebifo ebiwera 35 byebitereddwawo e Wakiso okuli; Bulondo Health Centre 111, Buwambo HC IV, Community Health Plan Uganda, Saidina Abubaker Islamic Hospital, Kisubu Hospital nebirala. Ate e Mukono, munisipali yesinze okutekebwamu ebifo ebingi; okuli Goma Health Centre…

Read More

Uganda efunye abalwadde ba COVID-19 abappya 105

Bya Ritah Kemigisa Minisitule yebyobulamu ekakaksizza abalwadde ba ssenyiga omukambwe, abapya 105 nga guno gwemuwendo ogukyasinze okubeera waggulu okuva omuyaga ogwokubiri ogwa COVID-19 gulangirirwa. Emiwendo gino gyavudde mu kubera okwakolebwa nga 13 nenkeera waalwo nga 14 May 2021. Bano bavudde mu bitundu okuli disitulikiti ye Kampala, Oyam, Mbale, Mityana, Amuru nendala. Ku bano abantu 94 bawereddwa ebitanda mu malwaliro…

Read More

Amawanga 11 gaweddemu omusujja gwensiri

Bya Ivan Ssenabulya Ekitongole kyebyobulamu munsi yonna, World Health Organization baliko amawanga 11 gebalanagirirdde nti batuuse ku buwnaguzi, nga balinnye omusujja gwensiri ku nfeete. WHO yalangiridde Algeria, Argentina, Armenia, El Salvador, Kyrgyzstan, Morocco, Paraguay, Sri Lanka, Turkmenistan, United Arab Emirates ne Uzbekistan. Amawanga gano bagambye nti tegakyalimu musujja, wabulanga kisobose mu bbanga lya myaka 20 okuyita mu kawefube…

Read More

Gavumenti ekiriza ebitongole okuleeta eddagale erigema COVID-19

Bya Ritah Kemigisa Minisitule yebyobulamu etegezezza nti egenda kutandika okukiriza ebitongole abayingiza mu gwanga, eddagala erigema ssenyiga omukambwe COVID-19 okugema abakozi baabwe. Bweyabadde anyonyola ku ntekateeka yokugema bwetamabula, minisita webyobulamu Dr Jane Ruth Aceng yagambye nti okusalwo bwebati kidirirdde okusaba okwenjawulo okubadde kujja gyebali ku nsonga eno. Wabula minisita agambye nti eddagala erigenda okuyingira mu gwanga, lijja kuba…

Read More

Obulwaliro 73 bugaddwa e Masaka

Bya Malikh Fahad Ekitongole kye ddagala mu gwanga, National Drug Authority baliko obulwaliro 73 bwebagadde e Masaka nga babadde bakola nga tebalina layisinsi. Kino kidirirdde ekikwekweto ekikoleddwa mu disitulikiti ezikola obwagagavu bwe Msaaka okubadde Kalungu, Masaka, Sembabule, Bukomansimbi ne Kyotera. Ku bulwaliro obutonotono 207, bwebalambudde bazudde nga 73 tebatekeddwa kukola. Kyomukama Samuel akulira ebyokukwasisa amateeka mu NDA, agambye 184…

Read More

Bannakayewa banenyezza gavumenti ku by’okusala embalirira y’ebyobulamu

Bya Julier Nalwoga Abalwanirizi be ddembe lyobuntu, nga bali wamu nabasawo wansi wkeibiina Human Rights Awareness and promotion Forum bambalidde gavumenti ku ntekateeka gyerina, okusala ku mbalirirra yebyobulamu eyomwaka gwebyenfuna 2021/22. Mu mbalirirra etanabeera yankomeredde, giyite Budget Framework Paper, embalirirra ya minisitule yebyobulamu baakujisalako obuwumbi 258, okuva ku bwesedde 2 nekitundu. Moses Mulumba, nga yakulira ekitongole kya Center…

Read More

Ssente z’eddagala teziriiwo

Bya Ndhaye Moses Minisitule yebyobulamu egamba nti wadde olukiiko lwaba minisita lwayisizza ekitees, okugula ddagala erigema ssenyiga omukambwe COVID-19, bakyalina amakubo agenjawulo gebalina okuyitamu okufuna ssente ezetagisa obukadde $ 164 okusubola okutuusa eddagala mu gwanga. Wiiki ewedde gavumenti yalangiridde nti eddagala erigema COVID-19 lyakutuuka mu gwanga wakati wa April ne May omwaka guno, ngabantu obukadde 9 bebalubiridde…

Read More

Minisitule ereese ambuleensi z’okumazzi

Bya Ritah Kemigisa Gavumenti eriko ambulance zokumazzi ezomulembe zeyanjudde, ezireteddwa okwongera okulongoosa ebyobujanjabi ku mazzi. Zino zigenda kutekebwa mu district zomu bizinga okuli Kalangala ne Buvuma. Okusinziira ku muwandiisi owenkalakkalira Dr. Diana Atwine, ambulance zino zakuyamba ba nakabutuzi ababadde bakonkomalira mu bzinga e Kalangala ne Buvuma nebalemerrw nokutuuka mu malwaliro mu budde okusumulukuka. Ambulance zino 2, zirimu ebyomu ebyomulembe…

Read More

Omusujja gw’ensiri gweyongedde

Bya Moses Ndaye, Minisitule ye byobulamu egamba nti omusujja gwensiri gweyongedde nyo mu bitundu okuli Karamojja, West –Nile ne Busoga Abantu abasoba mu kasanvu bebafa buli mwaka mu ggwanga lino olwomusujja gw’ensiri. Akwasaganya ebyomusujja gwensiri mu minisitule eno Dr. Jimmy Opigo, agamba nti e Karamoja omusujja gwensiri guyimiridde ku bitundu 34%, mu West Nile 23% ate Busoga…

Read More

RDC alabudde amadiini agawakanya okugema

Bya Ivan Ssenabulya Buli kimu kijiddwako engalo, okutandika okugema abaana okwekikungo, ebirwadde okuli polio, Olukusense ne Rubella. Mu ntekateeka eno gavumenti erubiridde abaana obukadde 18 nga 43% ku bantu abali mu gwanga, okuva olunnaku lwenkya nga 16 okutukira ddala ku lunnaku lwa Sunda ngennakuz omwezi 2 Octoba. Minisita webyobulamu Dr Jane Acheng, agambye nti kino kikoleddwa okwetangira ebirwadde…

Read More