Bya Ivan Ssenabulya
Buli kimu kijiddwako engalo, okutandika okugema abaana okwekikungo, ebirwadde okuli polio, Olukusense ne Rubella.
Mu ntekateeka eno gavumenti erubiridde abaana obukadde 18 nga 43% ku bantu abali mu gwanga, okuva olunnaku lwenkya nga 16 okutukira ddala ku lunnaku lwa Sunda ngennakuz omwezi 2 Octoba.
Minisita webyobulamu Dr Jane Acheng, agambye nti kino kikoleddwa okwetangira ebirwadde…
Bya Abubaker Kirunda
Omuliro gukutte etterekero lye ddagala mu district ye Iganga negusanyawo eddagala lya bukadde na bukadde bwansmbi.
Omuliro guno gukutte store esangibwa ku Saza Road, mu munisipaali ye Iganda, nga tekina yadde okutegerekeka guvudde ku ki.
Omuddumizi wa poliisi mu district eno Willis Ndaulane poliisi yabazinya mwoto, bagezezaako okuguzikiza naye negubalamerera.
Ndaula agambye nti okunonyereza kugenda mu…
BYA YAHUDU KITUNZI
Abantu 1400 abawangaala n'akawuka ka mukenenya ku malwaliro ag'enjawulo mu district y'e Mbale basazeewo okuva ku ddagala olw'obutaba na mmere.
Atwala eby'obulamu mu district ye Mbale Dr. Jonathan Wangisi agambye nti abalwadde abasinga tebakyajja kunywa ddagla, nga bawa ensoga y'obwavu okutuuka okubulwa eky'okulya.
Wabula agambye nti bagenda kutondawo ekibinja kyabakugu okugenda mu byalo okubazuula, basobole okubazaamu…
Bya Malikh Fahad
Ekitongole kya Uganda Atomic Energy Council daaki kiguddewo, waadi yebifanayi oba x-ray mu ddwaliro ekkulu e Masaka, gyebaali baggala omwezi mulamba emabega.
Ekitongole ino kino kyeivunyzizbw aku mayungeo gonna aga radiation mu gwanga, wabula kyali kyaggalawo ekifo kino nga bagamba nti mayengo gaabwe gabotoka, ekiyinza okukosa abantu.
Akulira eddwaliro lye Masaka Dr. Nathan Onyachi, akakasizza…
Bya Shamim Nateebwa
Abaana abali mu mitwalo 30 bebali mu kabi okukwatibwa ekirwadde kya Mulangira, oluvanyuma lwobutagemebwa mu myaka 3 ejiyise, mu district 56.
Okusinziira ku ministry yebyobulamu ebitunfu okuli Buganda, Busoga ne Bugishu, abagemeddwa babdde batono atenga mu Karamoja abazadde bajumbidde ku 73% ne Kigezi 72%.
Bwabadde awayaamu ne banamwulire mu Kampala, akulira entekateeka zokugema mu ministry…
Bya Geretrude Mutyaba
Akulira eddwaliro lya Kitanda Health Centre 111 Dr Timothy Wasswa awanjagidde gavumenti n’abakulembeze mu district ye Bukomansimbi okubayamba ku mbeera ye ddwaliro lino.
Agambye nti bw’otuuka ku ddwaliro lino toyagala kukyama olw’embeera y’ebizimbe ekanga, nga balina ekitanda kimu abakyala kwebazaalira.
Kino agamba nti kivaako abakyala abembuto abasigadde okuzaliira ku ttaka.
Nakabutuzi omusasi waffe gwasanze ku ddwlairo…
Bya Shamim Nateebwa
Abatuuze b’e Kabowa bagamba nti batudde ku ccupa olw’embeera ya kaabuyonjo eyeeraliikiriza.
Bagamba nti kabuyonjo ntono atenga nezriwo ezimu zajjula dda, ng’enkuba bwetonnya zikulukuta.
Lawrence Mbabaali ow’ebyobulamu mu zooni ya Ssembule B ne Kironde agamba nti, embeera ya kaabuyonjo mu bitundu byabwe mbi nnyo, nga betaaga okuyambibwa ngebirwadde byobuligo nga Kolera mnga tebinabaddamu.
Agambye nti mu…
Bya Damalie Mukhaye
Bannakyewa abatakabanira okulwanyisa ekirwadde kya mukenenya mu gwanga mu mukago gwa One Dollar Initiative, beeralikirivu olw’obuyambi i okuva mu mawanga ga Bulaaya obweyongera okusalika.
Bino webijidde nga Uganda esigazza abavujjirizi 5 bokka, abateeka ssente mu kulwanyisa ssiriimu.
Bannakyewa bano bagamba nti kekaseera Uganda ezikuke, obulwadde bwandiddamu okutirimbula abantu.
Ebibalo biraga nti Uganda erimu abantu akakadde 1…
Bya Ndaye Moses
Abasawo wansi w’ekibiina ekya Uganda Nurses and Midwives Union, kirangiridde ak’ediimo kebatuumye Slow-down strike mu lunyanyimbe, nga bagala gavumenti esooke ebawe ensako yaabwe eya 15, 000/- ezeky’emisana.
Mu kdiimo kano bagambye nti essaawa bwezintukanga ezekyemisana, nga bava mu malwaliro omulundi gumu.
Pulezidenti wekibiina kino Justus Cherop Kiplangat, agambye nti omukulembeze w egwanga Yoweri K. Museveni…
Bya Shamim Nateebwa
Minisitule y’ebyobulamu ekakakasizza nga bwewaliwo okweyongera kw’ekirwadde kya Bilharzia naddala mu bantu abalinaanye enyanja, nga kivudde ku buligo obubafumbekeddemu.
Okusinsinziira ku minisita webyobulamu Dr Jane Ruth Acheng, ekirwadde kino kittira ddala.
Agambye nti wadde gavumenti eriko bingi byekoze okukirwanyisa okukimalwo, kikyaliwo.
Ebirwadde ebiralala ebitunulirwa ngebitonotono, River Blindness naye yeyongedde.
Mungeri yeemu aambye nti basobodde okulwanyisa ekirwadde kya…