Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Ebyobulamu

Okwekebeza hepatitis B kukyagenda mu maaso e Mengo

Bya Shamim Nateebwa Minisita wa Buganda avunanyizibwa ku byobulamu nebyenjigiriza Owek. Prosperous Nankindu Kavuma, akubirizza abantu b’omtanda okujumbira okwegemesa ekirwadde kyekibumba ekya Hepatitis B. Mu kiseera kino olusiisira lwebyobulamu lugenda mu maaso e Mengo nga lwategekedwa ekitongole kyobwakabaka  ekya kabaka foundation . Owek Nankindu agambye nti kyamugaso nnyo abantu okwekebeza obulwadde n’okubwegemesa. Kati abamu ku betabye mu kufuna obujanjabi…

Read More

Abatunda emmere bagenda kubakebera

Bya Malikh Fahad Ab'obuyinza mu town council ye Lyantonde balabudde abaddukanya zzi loogi, ebiriiro bye mmere nebifo ebisanayukirwamu, ku kukola anga tebalina zzi kabuyonjo. Atwala ebyobulamu mu town council eno Titus Gutoosi agambye nti banagi bakola, naye tebalina buyumba bukyamirwamu, ekitadde obulamu bwabantu mu kabi okukwatibwa ebirwadde. Bino abyogeredde mu lukiiko nabaddukanya ebifo ebisanyukirwamu. Kati omumyuka we Catherine Namara,…

Read More

Eddagala ly’abagabi b’obuyambi libeera lyayitako

Bya Prosy Kisakye Eddagala erisinga mu gwanga eriva bagabi b'obuyambi libeera lyayitako obanga nerimu linatera okuyitako. Kino kibikuddwa ssentebbe ow'ekitongole kye ddagala mu gwanga ekya National Drug Authority Dr. Medard Bitekyerezo, nga bajaguza emyaka 25 nga balaungamya ebye ddagala mu Uganda. Ategezezza nti kino kiva ku kuba nti Uganda gwanga erikyakula, ngebitongole ebisinga balilowozaako nnyo nga bejjako eddagala.

Read More

Okugema abasawo kwa leero e Kasese

Bya Ivan Ssenabulya Ministry yebyobulamu olwaleero egenda kutandika ku ntekateeka yokugema, abasawo abajanjaba nokulwanyisa ekirwadde kya Ebola mu district ye Kasese. Minister wbyobulamu Jane Ruth Achieng yagambye nti kino, kigenda kuyamba okwetangira kirwadde kya Ebola, okusasaana. Wetwogerera ngabantu 2 bebakafa, waasigaddewo 1 ku bantu 3 abakakasibwa okubera nekirwadde, songa abantu abasoba mu 10 bebakibwa mu nkambi ye Bwera. Okugema…

Read More

Bbokisi ze ddagala eziri mu 900 zikwatiddwa

Bya Damalie Mukhaye Ministry y'ebyobulamu nga bali wamu ne poliisi baboye box ze eziri mu 900, nebakwata nabantu amakumi 30 ababdde batunda eddagala lya gavumenti mu malwaliro gobwananayini nabamu okutunda eddagala ejingirire. Bwabadde ayogera ne banamawulire ku media centre wano mu Kampala, minister webyobulamu Jane Ruth Aceng agambye nti baakoze ebikwkeweto mu Buvanjuba bwe gwanga nemu Kampala,…

Read More

Mukozese abayizi okusomesa obuyonjo

Bya Ndaye Moses Ssentebbe wa district yen Iganga Patrick Kayemba asabye abaddukanya amatendekero gabasawo mu bitundu bya Busoga okweyambis abayizi baabwe, okudda mu bantu okubabangula nokubamanyisa ku bikwata ku kukuuma obuyonjo. Agamba nti basaanye bade mu bantu babangule okubabuliira, akabi akali mu bujama, ngemu ku ntekateeka yokulwanyisa ebirwadde. Anokoddeyo ebirwadde nga cholera, ekiddukano n’omusujja bwebisoboka okwewalika. Bino abyogeredde ku…

Read More

Amateeka getaagisa ku mekebejjezo

Bya Ndaye Moses Ministry yebyobulamu esabye ababazi bamateeka, okuvaayo namateeka amakakali, aganayitwamu okulwanyisa amakebejjezo oba laboratory ezitatukanye na mutindo. Akolanga kommissiona owa National Laboratory services Dr. Suzan Nabadda agamba nti okuyita mu mateeka, ebifo ebitatukanye na mutindo igwana kuggalwa. Agamba nti amakebejjezo nga gano gegavirako okuwa alizaati enfu.

Read More

Abalwadde ba Nalubiri bagala obujanjabi bubasemberere

Bya Ivan Ssenabulya Abazadde babaana abalina obulwadde bwa Sickle cell mu bitundu ebyesudde Kampala bawanjagidde gavumenti ebasembereze obujanjabi. Bino bibadde mu musomo gwa’bazadde abalina abaana abalwadde ogubadde ku ddwaliro lya Mukono Health Center IV. Abazadde bagamba basanga akaseera akazibu okubezaawo abaana kubanga obujanjabi buli Wala Mulago ne Kiruddu. Akwasagannya ensonga zokubudabuda abazadde abalina abaana abalina obulwadde bwa Sickle cells, Evelyn Mwesigwa…

Read More

Eddwaliro lye Mulago ly’akugulwawo mu myezi 5

Bya Shamim Nateebwa Eddwaliro lye Mulago lyakutandika okukola mu bbanga lya myezi 5, okuva kati ssinga gavumenti enaaba ebawadde obuwumbi 36 zebetaaga. Mu mwaka gwa 2014 Mulago omukadde lweyantika okudabirizibwa okulifuula eddwaliro eryuomulembe era erigenda okukola ku birwadde ebikambwe byokka. Mulago omukadde yeyekka abadde adabirizibwa. Bwabadde ayogera ne banamwulirwe oluvanyuma lwokulambula kwebabaddeko ku ddwaliro lino, okulaba emirmu bwejitambula Dr…

Read More