Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Amawulire

Gavumenti esanyizzawo passport ezisoba mu mitwalo 5

Bya Babra Anyait Gavumenti ngéyita mu kitongole kyayo ekikola ku bya passport etegeezezza nga bweriko zi passport emitwalo 5 mu 8000 zesanyizzaawo nga abaali nannyinizo balemererwa kuzinona. Ezisanyiziddwawo zibalirirwamu obuwumbi bwezakuno obusoba mu 40. Solomon Mundeyi nga yogerera ekitongole kino ategeezezza nga ekyabakozesa kino kwekuburwa ekifo wezikuumirwa ekimala. Ayongeddeko nga bwewaliwo néndala emitwalo 7…

Read More

Amyuka Lord Mayor akwatiddwa nga yekalakaasiza ku nguudo z’ekibuga

By Abubakar Lubowa Poliisi ya CPS wano mu Kampala eyodde era neggalira banna byabufuzi Doreen Nyanjura ne Ingrid Turinaawe bwebabadde batambula ku nguudo nga bawakanya ekyokukuumira donctor Kizza Besigye mu komera. Bano babadde n’abantu abalala ababadde bakutte ebipande ebiriko obubaka obusaba okuyimburwa kwa Dr. Besigye awatali wadde akakwakulizo. Bano babasanze mu bitundu bya Arua Park…

Read More

Poliisi y’ebidduka neeraliikirivu n’omuwendo gw’obubenje obweyongera ku makubo

Bya Bbara Anyait Abakulira ekkomera e Luzira bagaaye abakulembeze b’ebibiina by’obufuzi okuyingira e komera lino gyebabadde bagenze okulaba ku Dr. Kiiza Besigye. Mu bano kubaddeko abakulembeze okuva mu kibiina ki National Unity Platform (NUP) abakulembeddwa president waabwe Robert Kyagulanyi Ssentamu gattako n’aba Alliance for National Transfromation (ANT) nga bakulembeddwa Winnie Kiiza n’abalala Ngáyogerako ne bannamawulire…

Read More

Omutemu Ow’olulango asibiddwa emyaka 134 mu nkomyo

Bya Ruth Anderah, Abadde yefudde kakensa mu kutemula abantu, asibiddwa emyaka egisoba mu 134. Ono kikakasibwa nti yatta abantu 5 mu mwezi gumu amale agombwemu obwala mu mwaka gwa 2021 Musa Musasizi nga yaliko omwana wókuluguudo nóluvanyuma nafuuka omusuubuzi mu katale k’ewa Kiseeka era nga abadde Semaka ng’alina omukyala n’omwana abatuuze bé Mujomba zooni 6 e Nakulabye. Obutemu Musasizi…

Read More

Enguzi yaliremesa ebirubirirwa bya gavt ebya 2030 okutukirira

Bya Prossy Kisakye, Ekibiina ekivuganya gavumenti ekya Uganda People’s Congress kyeraliikirivu olw’obuli bw’enguzi obususse mu ggwanga kye kigamba nti kya bulabe nnyo eri ekirubirirwa kya Uganda ekya 2030. Ebigambo bya UPC webijjidde nga Uganda ku wiikendi nga 9th December, yeegasse ku nsi yonna okujjukira olunaku lw’okulwanyisa enguzi mu nsi yonna Olunaku luno lwakuziddwa wakati mu kunoonyereza okupya okwakoleddwa…

Read More

Abasubuuzi ba KACITA beemulugunyiza ku batembeeyi abayiye Emmaali ku Nguudo

Bya Mike Sebalu, Abasuubuzi wansi w’ekibiina ekibagatta ekya Kampala City Traders Association (KACITA) balaze obweraliikirivu olw’omuwendo gw’abatembeeyi abayiye emmaali ku nguudo nga sizoni y’ennaku enkulu yeyongera okusembera Okusinziira ku Ssentebe wa KACITA, Thaddeus Musoke, ng’abakulembeze batandise okufuna okwemulugunya okuva eri abasubuuzi abakolera mu bizimbe ku muzze guno ogubavirako okufiirizibwa. Okusinziira ku mateeka, okutunda ebintu ku nguudo kikugirwa mu…

Read More

Amawanga góbuvanjuba galabuddwa ku Nzige ezisuubirwa okulumba

Bya Mike Sebalu, Bakakensa mu biwuka ebisala ensalo nga bisanyawo ebirime n’obutonde nga n’enzige mwozitwalidde okuva mu kibiina ki Inter Governmental Authority on Development (IGAD) balabudde amawanga gannamukago ng’essaawa yonna enzige bwezandiddamu okulumba amawanga gezatuukamu gyebuvuddeko ekireseewo okwelariikirira mu balimi mu bitundu ebyo. Okusinziira ku bakugu, enzige zino zisuubirwa wakati w’omweezi gw’okusatu n’ogwokutaano omwaka ogujja, nga kati…

Read More

Aba DP bagala Poliisi ne KCCA okuteekesa munkola ebiragiro ku Muliro mu bizimbe

Bya Prossy Kisakye, Ab’oludda oluvuganya gavumenti mu kibiina kya Democratic Party basabye poliisi n’ekitongole ekikulembera ekibuga ki Kampala Capital City Authority okussa mu nkola enkola ezitangira omuliro mu bizimbe. Kino kiddiridde omuliro ogwakutte ekizimbe kya City House okutudde ekitebe kya DP olunaku lw’’eggulo ekyaviiriddeko omuntu omu okufa n’okusaanyaawo emmaali ya basuubuzi ebalirirwamu obukadde nóbukadde bwénsimbi. Bwabadde ayogerako eri…

Read More

Alipoota ku bubenje mu Kampala efulumye, Bweyongedde

Bya Prossy Kisakye, Ekitongole ki Kampala Capital City Authority kifulumizza alipoota y’omwaka ekwata ku nkozesa y’amakubo mu Kampala ng’elaga nti omuwendo gw’abantu abafiira mu bubenje ku makubo gweyongera n’akatunda kalamba ku 100. Akoze omukolo gw’okutongoza alipoota eno ku City Hall mu Kampala Stellah Namatovu ategeezeza nga abantu 419 bwebaafa omwaka oguwedde bwobageragenranya ne 425 omwaka 2021. Wabula omuwendo…

Read More

Omuntu omu afiiridde mu muliro okugutte ekizimbe kya City House

Bya Mike Sebalu, Poliisi ekakasizza nga bwewaliwo omuntu omu afiiridde mu muliro ogukutte ekizimbe ki City House mu Kampala enkya ya leero, omusirikidde ebintu ebibalirirwa obukadde bwénsimbi. Amyuka ayogerera Poliisi mu Kampala n’emiliraano Luke Oweyesigirie, atubuulidde nti omulambo guno gwa musajja atanategerekeka bimwogerako wabula nga gutwaliddwa mu dwaliro ekkulu e Mulago okwongera okugwekebejja. Oweyesigire era agamba nti Poliisi…

Read More