Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Amawulire

Eyalya emmere mu woteeli n’agaana okusasulwa asimbiddwa mu Kaguli

Bya Ruth Anderah, Omusajja owemyaka makumi 50 agambibwa okulya emmere n'ebyokunywa mu restaurant nagaana okusasula asimbiddwa mu mbuga z'amateeka. Rwamukyo Joseph nga mutuuze we Kisasi wano mu Kampala asimbiddwa mu maaso g'omulamuzi we daala erisooka ku City Hall, Edgar Karakire amusomedde omusango nagwegaana. Wabula amangu ddala oluvanyuma lwokwegaana omusango, omulamuzi amusindise ku alimanda mu kkomera e Luzira ajira…

Read More

Aba UPC balabudde gavt okutwala okulabula kw’ebikolwa byóbutujju ngékikulu

Bya Prossy Kisakye, Ekibiina ekiri ku ludda oluvuganya gavumenti ekya Uganda People’s Congress-UPC kisabye gavumenti okutwala okulabula kw’obutujju okuva mumawanga agébweru ngékikulu esobole okunyweza eby’okwerinda. Kino kiddiridde ku wiikendi ewedde, eggwanga okuddamu okufuna okutiisibwatiisibwa kwe bikolwa ebyóbutujju, bbomu bwezategebwa mu bitundu by’ekibuga Kampala okuli Kabalagala ne Nansana. Bwabadde ayogerako eri bannamawulire ku kitebe ky’ebibiina mu Kampala, omwogezi wa UPC,…

Read More

Palamenti esabye govt okuyingira munkayana zábasiraamu omuli nómuzikiti gwa Gaddafi

Bya Prossy Kisakye, Palamenti esabye gavumenti eyingire mu nkayana z’abasiraamu ezizingiramu okutunda omuzikiti gwa Gaddafi ogusangibwa ku Old Kampala okusinga okulinda ensala ya kkooti. Kino kiddiridde omubaka wa Munisipaali y’e Bugiri, Asuman Basalirwa okuleeta ensonga eno ku mwaliiro gwa palamenti ng’ayagala okumanya oba gavumenti yeeralamye ensonga eno olw’okutya okuwulira ebyobufuzi, eby’omwoyo n’ebyokwerinda ebiyinza okuvaayo. Basalirwa ayongedde okutegeeza palamenti…

Read More

Omusajja eyali yabula asangibwa nga mufu

Bya Malik Fahad, Poliisi mu disitulikiti y’e Kyotera etandise okunoonyereza ku mbeera omusajja eyabula gye yasangiddwa ng’afiiridde mu maka g’owooluganda lwe. Omugenzi ategerekese nga Vincent Bugembe omutuuze ku kyalo Kalongo ekisangibwa e Kalisizo mu disitulikiti y’e Kyotera. Okusinziira ku bantu b’omu kitundu yasemba okulabibwa ku Lwokusatu lwa wiiki ewedde bwe yali yeetegekera okugenda mu kabuga okusumbula ebintu Abatuuze bagamba…

Read More

Minisita Among avuddeyo ku ddembe lyábakozi

Bya Prossy Kisakye, Minisita avunaanyizibwa ku kikula ky’abantu abakozi n’enkulaakulana y’embeera z’abantu, Betty Amongi atongozza endagaano y’ensi yonna ku bakozi ne kigendererwa ekyókulwanirira eddembe lyabwe obutatulugunyizibwa bakama babwe. Bino bibadde mu ttabamiruka w’ekibiina ekigatta abakozi mu ggwanga ekya NOTU owómulundi ogwe 10 mu kampala. Amongi agambye nti abakozi bakulu nyo mu bulamu bwe mirimu era balina okusigala eddembe…

Read More

Aba DP bakubye ebituli mu alipoota ya Gavt ku bantu abazze babuzibwawo

Bya Prossy Kisakye, Ekibiina ekivuganya gavumenti ekya Democratic Party kyagala gavumenti yeetondere baannauganda olw’ebikolwa eby’okutyoboola eddembe ly’obuntu ebikoleddwa ebitongole by’ebyokwerinda eby’enjawulo mu ggwanga. Kino kiddiridde Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku nsonga z’omunda mu ggwanga Gen. David Muhoozi okwanjula alipoota ku bantu abazze babuzibwawo eyabadde erindiddwa ennyo ab’oludda oluvuganya gavumenti. Wabula Gen. Muhoozi yategeezezza Palamenti nti abantu abasinga abagambibwa okubuzibwawo…

Read More

Poliisi e Masaka ekutte bana ku byékuusa ku Butemu

Bya Gertrude Mutyaba, Poliisi e Masaka ekutte abantu bana ku by’okutta omusajja ategerekese nga John Galiwango ow’emyaka 4o. Omugenzi abadde musuubuzi wa mmotoka mu kibuga Masaka. Poliisi erumiriza nti omugenzi yattiddwa okumpi n’ebbaala esangibwa e Kitovu-Nnume mu Nyendo-Mukungwe mu kibuga Masaka nga busasaana mu kiro ekikeseza olwaleero. Omugenzi yakubiddwa bbulooka ku mutwe ekyaviiriddeko okuvaamu omusaayi omungi naafa. Omulambo gwa Galiwango…

Read More

Eyatta Bba Kkooti emuweereza ekibbaluwa

Bya Ruth Anderah, Kkooti enkulu e Nakawa efulumizza ekibaluwa kibakuntumye omulundi ogw’okubiri eri Molly Katanga ne Muwala we Martha Nkwanzi avunaanibwa omusango gw’okutta bba Henry Katanga. Kino kiddiridde Molly ne Nkwazi okulemererwa okussa ekitiibwa mu bbaluwa eyasooka ebalagira okweyanjula mu kkooti nga November 21st 2023 kigambibwa nti bombi baweebwa ebitanda mu ddwaaliro lya HIK ne Roswell Hospital. Kati…

Read More

Poliisi erabudde ku bukuumi bwókunguudo mu biseera byénnaku enkulu

Bya Juliet Nalwooga, Poliisi erabudde abantu bonna okubeera obulindaala ku nguudo nga sizoni y’ennaku enkulu esembera. Omwogezi wa poliisi y’ebidduka Michael kananura asabye abantu okwegendereza enyo ebiseera bino okwewala obubenje obutetaagisa. Kananura asabye abatambuza ebigere okukozesa amakubo gabwe nókwewala okusemberera ebimotoka ebyettise enyo mu kugenda okulya ennaku enkulu mu byalo byabwe. Mungeri yemu asabye bannauganda okuloopa abatagoberera mateeka ga…

Read More

Abaana 2 bafiiridde mu muliro ogukutte enju e Namayingo

Bya Abubaker Kirunda, Abaana babiri bakakasiddwa nga bafiiridde mu muliro ogwakutte enju ku kyalo Nalujo mu gombolola y’e Buswale mu disitulikiti yé Namayingo. Amumyuka omubaka wa gavumenti mu disitulikiti eno, Solomon Baleke agamba nti abagenzi baana ba Ivan Bwire. Ku bafudde kubadeko omwana owemyaka 3 ne taano. Okunzira ku Baleke omuliro wegwakwatidde nga abazadde bombi bali mukiyungu bafumba. Kigambibwa nti…

Read More