Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Amawulire

Akabenje e Kalungu kasse omu, 57 banyiga biwundu

Bya Gertrude Mutyaba, Poliisi e Kalungu etandise okunonyereza ku kyavirideko akabenje akagudewo olunaku lwegulo omwafiridde omuntu omu na balala 57 ne babuuka ne bisago. Kino kiddiridde bbaasi nnamba UBA 293F eyabadde eva Kampala okudda e Mbarara okutomera Tuleela eyabadde eva e Masaka ng’edda Kampala. Bino byabadde Kabaale-Bugonzi mu disitulikiti y’e Kalungu ku ssaawa nga 8:30. Omumyuka w’omuduumizi wa poliisi…

Read More

Sseduvutto asibiddwa emyaka 3

Bya Ruth Anderah, Omusajja owemyaka makumi 38 awereddwa ekibonerezo kyakukola busibe bwa myaka 3 lwakukunganya baana abanaku  neyefula agenda okubawa obuyambi ate namala nabasobyako. Kyalimpa Douglas nga mulimi ku kyalo Kasasa, Bukulula Sub County mu District ye Kalungu asibiddwa omulamuzi wa Buganda Road Ronald Kayizzi oluvanyuma lwokwekenenya obujulizi nakizuula nti ddala kituufu omusajja ono yefuula namunswa alyakunswaze. Oludda…

Read More

Poliisi ekutte agambibwa okuba omuyekera wa ADF

Bya Prossy Kisakye, Poliisi mu disitulikiti yé Jinja ekutte omusajja ategerekese nga Nyanzi mwezi David, abadde yefudde omulalu mu kibuga Jinja wabula nga kiteberezebwa okuba nti mutujju w’akabinja ka ADF. Omwogezi wa police mu Kiira region, James Mubi atubulidde nti Poliisi okumukwata emusanze ku Iganga road ng’ayambadde ebigoye ebiddugala nga biyuliseyulise, nga bwagenda alonda kasasiro ku luguudo. Kigambibwa…

Read More

Gavt etegeka kugatta mateeka agafuga ebyámawulire

Bya Prossy Kisakye, Gavumenti eyanjudde entegeka ez’okugatta amateeka agafuga abali mu kisaawe ky’amawulire. Ekyama kino kibikkuddwa minister w’ebyamawulire n’okulungamya eggwanga Dr Chris Baryomusi oluvannyuma lw’okwemulugunya kwa bannyini mikutu gy’amawulire okuyita mu kibiina ki National Association of Broadcasters –NAB ku miwaatwa mu mateeka kwossa ebitongole ebingi ebibavunanyizibwako ebiwa ebiragiro ebyenjawulo. Abadde ssentebe wa National Association of Broadcasters Kin Karisa anokoddeyo ebitongole bino okuli…

Read More

Abafirika abasinga obungi batya okwongera kunguzi-Alipoota

Bya Mike Sebalu,  Alipoota empya eyafulumiziddwa aba Afro Barometer nga beetegekera okukuza olunaku lwensi yonna olw’okulwanyisa enguzi olubeerawo nga 9 December, eraga nti wakati mu nguzi egenda yeeyongera, abafirika abasinga batya okujogerako. Lipoota eno yeesigamiziddwa ku kunoonyereza okukolebwa mu mawanga ga Afrika 39 nga ne Uganda mw’otwalidde. Eyongera okutegeeza nti Abafirika abasinga obungi bagamba nti obuli bw’enguzi munsi…

Read More

Omuwandiisi wákakiiko akagaba e mirimu e Bugiri akwatiddwa

Bya Abubaker Kirunda, Omuwandiisi w’akakiiko akavunanyizibwa kukugaba emirimu mu disitulikiti yé Bugiri Wilson Kabweru akwatiddwa ku bigambibwa nti yeenyigira mu nguzi. Kabweru yakwatiddwa ttiimu ya state house erwanyisa enguzi ekulirwa Mpata Owagage. Owagage agamba nti Kabweru abadde ayamba abantu okufuna emirimu local gavt nga tebalina mpapula ezeetaagisa. Anokodeyo ekyókuyamba abakozi b’eddwaliro ly’e Bugiri okufuna emirimu nga tebalina bisaanyizo. Owagage agambye…

Read More

Abajjulirwa ku gwóbubbi kkooti ebongedde ku kibonerezo

Bya Ruth Anderah, Abasajja 3 kkooti enkulu ey’eMpigi beyasingisa emisango okuli ogw'obunyazi wamu n'okugezaako okwekakatika ku mukazi nebasiba emyaka 10 gabamyuuse kkooti ejulirwamu bwebogendemu emyaka 4. Abasatu bano okuli Sekito Alex, Serunjogi Juma ne Abdallah nga olumu bamuyita Jaja Lukanika nga April 2nd 2019 omulamuzi wa kkooti enkulu e Mpigi Emmanuel Baguma, yabasingisa emisango era buli omu namuwa…

Read More

Gavt eyanukudde America kunvumbo empya

Bya Prossy Kisakye, Gavumenti evuddeyo ku nvumbo empya Amerika gye yatadde ku bakungu ba Uganda ng’egamba nti kino kyagenderedde kutiisatiisa kukakatika ku Bafirika omukwano ogwebikukujju ekitagenda kukola. Bino yayogeddwa minisita omubeezi ow’ensonga z’ebweru weggwanga, Henry Oryem mu mboozi ey’akafubo n’ekitongole ky’amawulire ekya Reuters. Yategeezezza nti envumbo empya ezaafulumiziddwa ku ntandikwa ya wiiki eno, zitunuulidde abakungu ba gavumenti abatannategeerekeka…

Read More

Poliisi e Tororo esse Omusajja abadde agezaako okutta Omusirikale

Bya Juliet Nalwooga, Poliisi e Tororo esse omusajja ow’emyaka 26 ategerekese nga Godfrey Odoi ku bigambibwa nti yalumbye omuserikale wa poliisi n’amulumya. Kino kiddiridde Odoi omutuuze ku kyalo Poti ekiri mu town council y’e Iyolwa mu disitulikiti y’e Tororo okulwanagana ne Francis Musamali omuserikale avunaanyizibwa ku poliisi y’e Iyolwa. Amawulire galaga nti Odoi yatemye Musamali ekiso ku mutwe…

Read More

Abaziika emirambo beekalakaasiza lwa butafuna Musaala

Bya Prossy Kisakye, Abakozi abaziika emirambo egibeera gibuliddwako bannyinigyo mu Town Council ye Luweero bediimye nebasuula emirambo 2 ku wofiisi za town council nga balaga obutali bumativu olw’okulwawo okusasulwa emisaala gyabwe. Abakozi bano bagamba nti babanja emitwalo 900,000 oluvannyuma lw’okuziika emirambo egiwera. Bannyonyodde nti mu kusooka baalinga buli mulambo baguziikira shs emitwalo 60,000/= nezikeendezebwa okukka ku shs emitwalo…

Read More