Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Amawulire

Eyatta mukwano gwe wakwebaka mu nkomyo emyaka 20

Bya Ruth Anderah, Omusajja agambibwa okutta mukwano gwe oluvanyuma lw’okufuna obutakaanya mu baala asibiddwa emyaka makumi 20. Sabiiti Nelson ekibonerezo kyemyaka makumi 20 kimuwereddwa  abalamuzi 3 aba kkooti ejjulirwamu oluvanyuma lwokusazaamu eky’emyaka 27 ekyali kimuwereddwa kkooti enkulu eya Kabale nga ekulembeddwamu omulamuzi , Moses Kazibwe Kawumu. Kigambibwa nga September 12th 2917 omulamuzi wa kkooti enkulu e Kabale yasalira sabiiti ekibonerezo…

Read More

Ssabapoliisi esabiddwa okuyingira mu nkayana zéttaka e Kireka

Bya Prosy Kisakye, Ssaabaddumizi wa Poliisi Martins Okoth Ochola, asabiddwa okuyingira mu nkayana z’etttaka wakati wékitongole kya police nábatuuze mu muluka gwé Kagugube e Kireka okutudde enkambi ya poliisi. Bweyabadde alambuddeko abatuuze bé Kivuli Zone 1, mu muluka gwe Kagugube abalumiriza poliisi okubasengula kuttaka lye bamazeeko emyaka ne bisiibo ne tteekawo enkambi, Minisita avunanyizibwa kunsonga z’byokwerinda mu…

Read More

Omupakasi wawaka asibiddwa e myaka 13 lwakusobya ku mwana

Bya Ruth Anderah, Omupakasi wawaka asibiddwa e myaka 13 lwakusobya ku mwana wa myaka 6 gyokka . Tubenawe Eliabu asimbiddwa abalamuzi 3 aba kkooti ejjulirwamu nga bakulembeddwamu Muzamiry Kibeedi, Christopher Gashirabake ne Oscar John Kihika. Kino kidiridde oluvanyuma lwokwejenenya obujjulizi obwaletebwa oludda oluwaabi nebakizula nti omwana oyo yasobezebwako. Tubenawe omusango yaguzza nga nga Junen 21th 2014 jjajja w'omwana ono bweyali…

Read More

Minisita wébyettaka asabye abali byámayumba nébizimbisibwa okuba abeesigwa

Bya Prossy Kisakye, Minisita avunanyizibwa kubyettaka Amayumba nenkulakulana yebibuga Judith Nalule Nabakooba asabye ebitongole ebiri kugw’okuzimba amayumba agatundibwa nebyo ebikola mu bintu ebyeyambisibwa mu by’okuzimba, okola omulimu n’obwesigwa nga bazimba amayumba agasanidde era amawangazi. Bino abyogeredde Lugogo mu kibangirizi kya bannamakolero bwabadde asisinkanyemu ebitongole ebizimba amayumba n’ebintu ebyeyambisibwa mu kuzimba(Hardwares) wansi womukago ogubigata ogwa Construction Hardware Dealers…

Read More

Museveni agamba nti eddagala eriwonya Mukenenya Uganda erina wetuuse

Bya Prossy Kisakye, Omukulembeze weggwanga Yoweri Kaguta Museveni akakasizza nti Uganda eri mu nteekateeka ezisembayo okwevumbulira eddagala eriwonya n’okutangira okusiigibwa akawuka ka siriimu. Bino yabyogeredde mu district ye Rakai mu kukuza olunaku lwensi yonna olwókwefumintiriza ku akawuka ka siriimu. Museveni yategezeza nti ekitongole ekya Uganda Virus Research Institute,kiriko wekituuse mu kunoonyereza ku ddagala erigema…

Read More

Eyasobya ku mwana owémyaka 4 esibiddwa emyaka 34

Bya Ruth Anderah, Abalamuzi ba kkooti ejjulirwamu 3 bakakasuzza ekibonerezo ky'e myaka 34 ekyawebwa omusajja owemyaka 47 oluvanyuma lwokusingisibwa omusango gwokusobya ku mwana owemyaka 4 gyoka ate namusiiga nakawuka akaleete siriimu. Benywanira Emmanuel myaka 47 nga 13th April 2018 omulamuzi wa kkooti enkulu e Rukungiri Moses Kazibwe Kawumi yamusingisa omusango era namuwa ekibonerezo kyakukola busibe okumala emyaka…

Read More

Kabaka akunze abakulembeze okujjukiza abantu okwewala Siriimu

Bya Prossy Kisakye, Empologoma ya Buganda, Kabaka Ronald Muwenda Mutebi 11, akunze abakulemebeze ku mitendera egyenjawulo okukulemberamu ekiwenda ekyókumala amaanyi ekirwadde kya mukenenya mu ggwanga lino. Ssabasajja agamba nti buvunanyizibwa bwa bakulembeze okujjukiza abantu babwe okwekuuma ekirwadde kya siriimu naddala mu kaseera kano nga abebyóbulamu bagamba nti obulwadde bweyongedde nyo mu bantu. Ono mungeri yemu asabye bannauganda okwejjamu…

Read More

Abé Koome basonze ku bibasibyeko Mukenenya

Bya Kiguli Diphus, Abatuuze abawangalira mu bizinga bye Koome mu district ye Mukono basonze ku bivirako obulwadde bwa mukenennya okweriisa enkuuli mu bitundu byabwe. Bano nga bakulembeddwamu ssentebe w’eggomboloola eno Lawrence Kiyingi bagambye nti abavubuuka abasinga ensangi zino tebalina byakola okwo nga kwogase n’okwesiiwa amagengere kko n’abakyala abetunda okweyuuna ebitundu by’ebizinga zezimu ku nsonga ezisibye nawokera wa…

Read More

Abakulembeze bénnono basabiddwa okuyambako Gavt mu kulwanyisa obutabanguko

Bya Mike Sebalu,  Minisita w’ekikula ky’abantu, abakozi n’enkulaakulana y’embeera z’abantu Betty Amongi asabye abakulembeze b’ebyobuwangwa okwegatta ne gavumenti mu kulwanyisa obutabanguko obweyongedde ku bakyala n’abawala okwetoloola Ggwanga. Okusinziira ku Amongi, ebikolwa eby’obulabe ng’okufumbiza abaana abato, embuto z’abavubuka n’okukomola abakyala mu mbugo bikyaliwo mu ggwanga. Okwogera bino abadde mu kutongoza entekateeka y’akakiiko ka bakulembeze abennono aka Council of Traditional…

Read More

Tukwatire wamu okulwanyisa okutyobolebwa kw’butonde bwénsi

Bya Prossy Kisakye, Okunoonyereza okukoleddwa ekitongole ky’ensi yonna ekitakabanira obutonde bwensi ki World wide Fund for Nature kulaze nti abakyala n’abaana bandyongera okukosebwa n’ebitundu 14% olw’okutyoboolebwa kw’Obutondebwensi munsi yonna singa tewaba kikolebwa kubutaakiriza. Okunoonyereza kulaze nti okufumbisa enku n’amanda kukosezza nnyo Obutonde bwensi, nga ekyetaagisa ye gavumenti okwenyigira obutereevu mu kaweefube w’Okutaasa ebibira nga esimba ebipya, okutaasa entobazzi…

Read More