Amawulire
Ssaabalabirizi Kaziimba akubiriza abakkiriza okwetanira okusaba Katonda mu bibasomooza
Bya Prossy Kisakye, Ssaabalabirizi w’ekkanisa ya Uganda, Dr Stephen Samuel Kaziimba Mugalu asabye Abakristu bulijjo okunoonya Katonda n’okumukaabira buli lwe bafuna okusoomoozebwa. Bino ayogerako eri bannamawulire enkya ya leero e Namirembe mu kulanga olukungaana lw’okusaba mu masaza olusoose. Okusaba kuno okutumiddwa Provincial Prayer Convention kutandise […]
Omuntu omu afiiridde munyanja e Mayuge
Bya Abubaker Kirunda, Omuntu omu akakasiddwa nti afudde oluvannyuma lw’empewo ey’amaanyi okukuba eryato kwebabadde batambulira mu nnyanja Nalubaale e Mayuge. Omugenzi ategerekese nga Badiru Muwanguzi nga afiiridde ku mwalo e Bugoto mugombolola ye Bukaboli e Mayuge. Majidu Kapadu eyali kansala wa Bugoto parish mugombolola ye […]
Owek. Joyce Mpanga abadde nómwogo gwa buganda ogutafa
Bya Prossy Kisakye, Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga asiimye emirimu egikolebwa omugenzi Joyce Mpanga namwogerako ngómukyala abadde nómwoyo gwanti Buganda Uganda ogutafa. Bino abyogedde akyaliddeko aba famire yómugenzi mu makage e Lungujja mu divizoni y’e Rubaga okubasaasira. Mayiga agambye nti omugenzi Mpanga ne bba, […]
Dr. Mathew Kirabo asibiddwa emyaka 30 lwa kutta eyali muganziwe
Bya Ruth Anderah, Kkooti enkulu e Mukono ekalize Dr. Mathew Kirabo yebake mu nkomyo emyaka 30, oluvannyuma w’okusingisibwa omusango gw’okutta eyali muganzi we Desire Mirembe. Kirabo omusango gwamukka mu vvi mu mwaka gwa May 2022, neyemulula nadduka mu ggwanga, okutuusa lweyakwatibwa mu Kenya mu September,2022 […]
Gavt esabiddwa okwongera okutondawo emirimu
Bya Mike Sebalu, Omumyuka Ow’okubiri owa Mufti wa Uganda ku Uganda Muslim Supreme Council Sheikh Mohamad Ali Waisswa awadde gavumenti amagezi okufuba okulaba nga etondawo emilimu giyambeko bangi okweyimirizaawo okusobola okukendeeza ku bikorwa eby’obuli bwenguzi. Waiswa era ayagala abantu bayigiriizbwe ennono z’empisa ennungi wadde nga […]
Abóludda oluvuganya bayimiriza akeediimo okusiima emirimu gyómugenzi Joyce Mpanga
Bya Prossy Kisakye, Ab’oludda oluvuganya gavumenti mu Palamenti olwaleero bakomyewo mu ssenteserezo nga baduumirwa omukulembeze waabwe Mathias Mpuuga okusiima omugenzi Joyce Mpanga. Omulambo gw’omugenzi Mpanga gutuuse mu palamenti enkya ya leero oluvannyuma ne guyingira mu bisenge bya palamenti ku ssaawa 8 ababaka okussa ekitiibwa mu […]
Okunonyereza ku batta Joan Kagezi kuwedde
Bya Ruth Anderah, Okunoonyereza ku musango gw’okutta eyali omuwaabi wa gavumenti Joan Kagezi kuwedde. Bino bitegezedwa omuyambi wa ssaabawaabi ba gavumenti Thomas Jatiko ku kkooti e Nakawa. Jatiko ategeezezza nti DPP yeetaaga okutuuka nga December 11th 2023 okusoma obujulizi obukung’aanyiziddwa, okubufunza n’okuteekateeka ebiwandiiko basindike abateeberezebwa […]
Aba NEED basabye ababaka abali ku ludda oluvuganya obutapondooka
Bya Prossy Kisakye, Ekibiina ekivuganya gavumenti ekya National Economic Empowerment Dialogue-NEED kisabye ababaka ba Palamenti abavuganya gavumenti obutafuna kutya ku kutiisatiisiibwa ku bikwata ku keendiimo kaabwe obutakiika mu ntuula za palmenti. Ababaka bano nga bakulembeddwamu omukulembeze w’oludda oluvuganya gavumenti mu palamenti Matthias Mpuuga, baatandika bazira […]
Gavt zámawanga ga Africa zisabiddwa okukalulanya ebyentambula yényonyi
Bya Moses Ndaye, Ekibiina omwegatira abali mu byentambula yenyonyi mu Africa ki African Airline Association kisabye bamemba bakyo okuzimba ebisaawe ebyomulembe ne bigenderako ku lwenkulakulana ye byentambula eyomubbanga. Amyuka akulira ekibiina kya International Air Transport Association mu Africa ne mu Middle East, Kam Al Awadhi […]
Omubaka Kabanda ayagala America eyingire mu lutalo lwa Yisirayiri ne Palestina
Bya Prossy Kisakye, Omubaka omukyala owa disitulikiti y’e Butambala mu lukiiko lweggwanga olukulu, Aisha Kabanda alangiridde eky’okusaba gavumenti ya Amerika esikirize eggwanga lya Yisirayiri okukomya okutta abantu baabulijjo abatalina musango mu lutalo olugenda mu maaso wakati wa Yisirayiri ne Palestine mu luwenanda lwe Gaza. Olutalo […]