Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Amawulire

UNEB erabudde ku bubbi bwébigezo

Bya Mike Sebalu, Ekitongole ekivunanyizibwa ku bigezo mu ggwanga ki Uganda National Examinations Board (UNEB) kyongedde okulabula abasomesa n’abakuumi b’ebigezo obutagezaako kwenyigira mu kukopera bayizi bigezo kubanga anakwatibwako wakukangavulwa nga besigama kuteeka erifuga ebigezo erya UNEB act 2021 Sabiiti eno abayizi aba p7 bakukola ebigezo byaabwe ebyakamalirizo ebya Primary Leaving Examinations (PLE) nga nga batandika nakigezo kya…

Read More

Kyadaaki aba NUP bagudewo yafeesi zaabwe empya

Bya Prossy Kisakye, Ssenkagale wekibiina kya National Unity Platform Robert Kyagulangi asabye bannakibiina okuba obumu lwe bajja okutuuka ku kigendererwa kyabwe. Okwogera bino asinzidde ku mukolo ogwokugulawo ekitebe kye kibiina kya NUP e Makerere Kavule. Omukolo guno gwetabiddwako bannabyabufuzi okuli Dr. Kiiza Besigye, eyaliko senkagale wekibiina kya FDC, Loodi meeya wa kampala Erias Lukwago, Eyaliko minisita akwasisa empisa…

Read More

Ogwa Besigye ne Mukaaku teguwuliddwa

Bya Ruth Anderah, Kkooti ya Buganda road, efulumizza ekiwandiiko ekiyita abajulizi b’oludda oluwaabi mu musango gw’okukuma omuliro mu bantu n’okukola effujjo oguvunaanibwa Dr. Kiiza Besigye ne Samuel Lubega Mukaku basobole okuwa obujulizi bwabwe. Okusinziira ku kiwandiiko ekibayita ekyafulumiziddwa omulamuzi w’eddaala erisooka, Winnie Nankya, balagiddwa okweyanjula nga December 8th 2023 awatali kulemererwa. Kino kiddiridde Omuwaabi wa Gavumenti Ivan Kyazze…

Read More

Taata asse omwanaawe lwakuba shs 18000

Bya Abubaker Kirunda, Omusajja mu disitulikiti y’e Kaliro akwatiddwa ab’obuyinza ku by’okukuba omwana we ow’emyaka 8 n’amutta olw’okumubba omutwalo 18000. Omukwate ye Musa Musamali omutuuze ku kyalo Bamutaze mu town council y’e Kaliro. Ssentebe wa LC1 mu kitundu kino Fred Kasolo yategeezezza nti omugenzi abadde muyizi wa pulayimale yakusatu ku ssomero lya Budini boy’s primary school mu town…

Read More

Gavt eddukiridde essomero lya Kasana junior school nóbukadde 50

Bya Gertrude Mutyaba, Minister w’eby’enjigiriza n’emizannyo Janet Kataha Museveni awaddeyo obukade 50 obwensimbi eza Uganda eri essomero lya Kasana Junior School  lino ng’ekisulo kyalyo kyakutte omuliro abaana 7 nebasirikka. Ensimbi zino zeiwereddwayo omuwandiisi ow’enkalakkalira mu Ministry y’ebynejigiriza Kate Lamano nga yazikwasizza abakulembeze b’essomero lino. Lamaro yategeezezza nga buli maka g’omwana eyafudde bagenda kuguwa obukadde 5 ziyambeko mu nteekateeka…

Read More

Gavt etongozza Namba Puleeti za Digito

Bya Mike Sebalu, Gavumenti ddaaki etongozza namba puleeti  z’ebidduka eza digito. (digital number plates). Omuwandiisi ow’enkalakkalira mu Ministry y’eby’entambula Waiswa Bageya ategeezezza nga buli muntu alina ekidduka kati bwekijja omukakatako okufuna nemba plate ekika kino kuba yakubeera nyangu okuginoonya singa waliwo obwetaavu okwetoloola wonna mu gwanga. Kawefube ono akulembeddwamu Ministry y’eby’entambula ngeri wamu n’ey’aby’okwerinda nga era yakwongera okunyweza…

Read More

Wetunatukira 20230 nga uganda ekozesa Mmotoka zaámasanyalaze-Minisita

Bya Ronald Ssenvuma, Gavumenti ekakkasiza bannaUganda nti wegunatukira omwaka ogwa 2030 nga ekisaawe kyebyentambula kikyuuse nga tuvudde kubidduka ebikozesa amafuta nga tuzze kubikozesa amasanyalaze. Bino byogeddwa Minister avunanyizibwa Ku buyiiya science netekinologiya Monica Musenero bwadde alambika entekateeka ya sabiiti oyo kwolesa ebintu ebiyiyuziddwa bana Uganda era nebikolebwa wano nga sabiiti Eno eyitobwa science week Musenero agamba nti mu…

Read More

Ekkanisa ya Uganda etongoza omwezi gwábaana

Bya Prossy Kisakye, Ekkanisa ya Uganda leero etongoza omwezi ogugenda okuteeka essira ku baana. Omwezi guno gwakubaawo buli mwaka mu mwezi gwe 11 n’ekigendrererwa kye kanisa wamu ne bannauganda bonna okukwatiza awamu ku kulwanyisa ebikolobero ebituusibwa ku baana. Bwabadde atongoza ebikujjuko byomwezi guno, Ssabalabirizi wé Kanisa ya Uganda Kitaffe mu Katonda Samuel Stephen Kaziimba Mugalu, abatizza nábaana abasoba…

Read More

Abasuubuzi bénnuuni bakaabidde mu maaso ga babaka ba palamenti

Bya Prossy Kisakye, Abasuubuzi be Nnuuni abegattira mu kibiina Kyabwe ekya Fish Maws and Traders Association Uganda limited bakaabidde mu maaso ga babaka ba palamenti bwebabadde balombojja okusomozebwa kwe bayitamu nga bakola omulimu gwabwe. Bano beekokodde omusolo ogubalese ngabatubidde mu mabanja ngakati bagamba nti singa tebayambibwa batuuse okusuulawo omulimu gwabwe. Bino babyogeredde mu kakiiko ka Palamenti akebyobulimi nobulunzi…

Read More

Olunaku lwábavubuka mu Africa lwa nkya

Bya Mike Sebalu,  Uganda olunaku lw’enkya nga 1st November egenda kwegatta ku Africa yonna okukuza olunaku lw’abavubuka mu Africa 2023. Olunaku luno lukuzibwa okusiima abavubuka abatuuse ku buwanguzi mu obuyiiya, n’okugumira embeera y’abavubuka ba Afrika okwetoloola ssemazinga wa Afrika ne mu nsi endala. Kiggumiza obukulu bw’enteekateeka ezikulemberwa abavubuka ezisukkulumye ku nsalo, nga zikolagana wamu okutuuka ku biseera eby’omu…

Read More