Bya Prossy Kisakye,
Ekibiina ekivuganya gavumenti ekya National Economic Empowerment Dialogue-NEED kisabye ababaka ba Palamenti abavuganya gavumenti obutafuna kutya ku kutiisatiisiibwa ku bikwata ku keendiimo kaabwe obutakiika mu ntuula za palmenti.
Ababaka bano nga bakulembeddwamu omukulembeze w’oludda oluvuganya gavumenti mu palamenti Matthias Mpuuga, baatandika bazira entuula za palamenti omwezi oguwedde nga baagala gavumenti ebawe ebyokudamu ku bikolwa…
