Bya Abubaker Kirunda,
Ng’eggwanga lyetegekera okujjukira olunaku lw’ensi yonna olwa mukenenya olunaku lw’enkya, abakugu mu by’obulamu beeralikirivu olw’omuwendo gw’abantu abapya abakwatibwa akawuka ka mukenenya ogweyongera buli lukya.
Avunaanyizibwa ku kulwanyisa siriimu mu disitulikiti y’e Bugiri Deogracious Mwondha, agamba nti kati omuwendo guyimiridde ku bitundu 3 ku buli 100, okuva ku bitundu bibiri ku buli 100 omwaka oguwedde.
Mwondha…
