Amawulire
Banka Enkulu esabiddwa eveeyo ku bubbi bwénsimbi mu mabanka
Bya Prossy Kisakye, Ekibiina ekivuganya gavumenti ekya National Economic Empowerment Dialogue-NEED, kitadde Bank ya Uganda enkulu kunninga eveeyo ebeeko kyekola ku bubbi bwensimbi za bakasitoma obuze bweyongera mu banka z’ebyobusuubuzi. Obufere bwa bbanka buba mu ngeri ez’enjawulo okuva ku kukyusa ceeke, okukoppa kaadi za ATM […]
Bannauganda basabiddwa okwetanira Yinsuwa yókuziika
Bya Moses Ndaye, Abakola mu bya-yinsuwa basabye amawanga agakyakula okwongera ku yinsuwa nga bakubiriza abantu okwettanira yinsuwa y’okuziika. Maneja wa kampuni ya Liberty Insurance, Joe Almeida agamba nti kino kye kiseera ekituufu abantu okusomesebwa ku ngeri y’okutwala yinsuwa y’okuziika kubanga egenda kukola kinene mu kwongera […]
Abakulu Bébika e Busoga bakuwa Ente emu buli omu ku Mbaga ya Kyabazinga
Bya Abubaker Kirunda, Abakulira ebika by’e Busoga bakkiriziganyizza okuwaayo ente buli omu ku mbaga y’obwakabaka eya Kyabazinga William Gabula IV etegekeddwa nga November 18. Kino kituukiddwaako mu lukiiko olwatudde ku kitebe ky’obwakyabazinga e Bugembe, nga lukubirizibwa minisita w’ebyobuwangwa Richard Mafumo. Omwogezi w’abakulu b’ebika David Igulu […]
Balondemu asindikibwa ku alimanda lwa bufere
Bya Ruth Andera, Ssentebe wa kakiiko ke byettaka mu Kampala era nga Munnamateeka David Balondemu asimbiddwa mu kkooti ya City Hall n’avunaanibwa omusango gw’okufuna ssente mu lukujjukujju oluvannyuma lw’ebigambibwa nti yafera omusiga nsimbi munnansi wa Korea Hyun Uk Kim ssente eziwera 600USD mu ddiiru ya […]
Mabirizi ayagala wabeewo akalulu kékikungo ku nfuga ya Federo
Bya Prossy Kisakye, Abékisinde kya Sauti ya Wanainchi nga bakulembeddwamu Elton Joseph Mabirizi eyavuganyako ku bwa Pulezidenti, baagala akakiiko k’ebyokulonda kategeke akalulu k’ekikungo ku nkola ya Federo mu kifo ky’okwetegekera okulonda kwa bonna kw’agamba nti si kwa bwerufu Bwabadde ayogerako eri bannamawulire mu Kampala olwaleero, […]
Abasawo ab’ebulankanya ku mirimu balabuddwa
Bya Abubaker Kirunda, Abasawo mu disitulikiti y’e Kaliro balabuddwa ku kutuuka ekikeerezi nokwosa ku mirimu gyabwe nti okubaviirako okugobwa. Okulabula kuno kukolebwa omumyuka wa RDC Kaliro, Martin Kasonzi oluvannyuma lw’okukyala mu ngeri ey’ekimpowooze mu malwaliro mu disitulikiti eno nazuula nti abakozi b’ebyobulamu bangi beeyanjula ku […]
Abavunanibwa okwagala okutta omulamuzi baddizibwayo ku alimanda
Bya Ruth Anderah, Abantu 9 abavunaanibwa emisango egyekuusa ku kulumba kabangali y’omulamuzi Flavian Zeija n’okutta abaserikale ba poliisi basatu ku poliisi y’e Busiika, basindikiddwa mu kkooti enkulu. Emisango emirala gyekuusa ku butemu bw’abantu baabulijjo obuwerako n’okunyaga abantu nga bakozesa emmundu. Kino kiddiridde Omuwaabi wa Gavumenti […]
Ababaka ku ludda oluvuganya bazeemu okwekandaga ne bafuluma palamenti
Bya Prossy Kisakye, Ababaka ba palamenti ab’oludda oluvuganya bazzeemu okwekandaga ne bafuluma olutuula olwaleero nga bawakanya olw’okuyiwa abasirikale abangi ku palamenti n’eky’obutakkiriza kulaga katambi akalaga okutyoboola eddembe ly’obuntu okukolebwa ebitongole by’ebyokwerinda. Bano nga bakulembeddwamu omukulembeze w’oludda oluvuganya gavumenti mu palamenti, Mathias Mpuuga, bategezezza nti kisingako […]
Museveni ayambalidde abakuuma ddembe ku kuttibwa kwábalambuzi
Bya Mike Sebalu, Omukulembeze w’eggwanga Museveni ayambalidde ebitongole ebikuuma ddembe obutakola kimala ekyaviiriddeko abajambula abateberezebwa okubeera abayeekera ba ADF okutta abalambuzi 2 ne dereeva waabwe mu kuumiro ly’ebisolo elya Queen Elizabeth mu district eye Kasese. Mu bubakabwe bwayisizza ku mitimbango, Museveni ategeezezza nga n’ekitongole ekivunanyizibwa […]
Aba DP basabye UNEB okukuuma ebigezo
Bya Prossy Kisakye, Ekibiina ekivuganya gavumenti ekya Democratic Party kiwadde ekitongole ekitegeka ebigezo byábayizi mu ggwanga ekya Uganda National Examination Board-UNEB omulimu okulaba ng’ebigezo byonna bikuumibwa bulungi okwewala okumalamu abazadde nábayizi amaanyi. Eggulo ebigezo bya siniya eyókuna byatandise mu masomero gonna okwetoloola eggwanga. Bino bigenda […]