Amawulire
Abavuganya bawera si bakudda mu ssetteserezo okutuusa nga Gavt ebanukudde
Bya Prossy Kisakye, Ababaka ba palamenti abali ku ludda oluvuganya basazeewo okwesamba entuula za parliament zonna, okutuusa nga government ewadde alipoota erimu okwetonda ku bikolwa byebayise ebyeffujjo ebityooboola eddembe ly’abantu abali ku ludda oluvuganya, nti byezze ebakolako ng’eyita mu bitongole by’ebyokwerinda. Akulira oludda oluvuganya government […]
Gavt yeyamye okwongera okuwagira omwana owóbuwala
Bya Barbara Anyait, Gavumenti yeyamye okwongera okussa ssente mu pulojekiti z’ebyenjigiriza ezigendereddwamu okutumbula abaana abawala n’okubawa emikisa gy’okuyigirizibwa emirimu gyo mitwe. Bwabadde ayogerako eri bannamawulire mu Kampala ku mukolo gw’okukuza olunaku lw’omwana omuwala mu nsi yonna, minisita w’eggwanga ow’ensonga z’abavubuka n’abaana Sarah Mateke akubiriza abakyala […]
Wabadewo akalipagano kébidduka oluvanyumwa lwa Ssezibwa okufuna enjatika
Bya Fred Muzale, Wabadewo akalippagano k’ebidduka ku luguudo oluva e Kampala okudda e Mukono oluvannyuma lw’ekitongole ky’ebyenguudo ekya Uganda National Roads Authority (UNRA) okukyusa entambula okuva ku lutindo lwa Ssezibwa olwazeemu enjatika. Ku wiikendi, ekitongole kya UNRA kyalemesezza mmotoka ennene okukozesa olutindo lwa Ssezibwa olumaze […]
Aba DP bagala etteeka ku kulonda kwóbukiiko bwábakyala likyusibwemu
Bya Prossy Kisakye, Ekibiina ekiri ku ludda oluvuganya ekya Democratic Party kisabye gavumenti okukyusa mu tteeka erifuga okulonda obukiiko bwábakyala erya Women Council Act, okukkiriza okulonda kw’abakyala okukolebwa ku lunaku lwe lumu olw’okulonda kwa bonna. Bwabadde ayogerako eri bannamawulire ku ofiisi z’ekibiina mu Kampala, Ssaabawandiisi […]
Okubala Bannauganda kwa mwaka gujja
Bya Mike Sebalu, Ekitongole ekivunaanyizibwa ku bibalo mu ggwanga ekya Uganda Bureau of Statistics (UBOS) kitegeezezza nti okubala abantu mu ggwanga kugenda okutandika nga 10 May 2024. Bwabadde ayogerako ne Dembe FM, Dr Chris Mukiza, akulira ekitongole kino, agambye nti omulimo guno mu ggwanga lyonna […]
Abavuganya Gavt bavudde kunsonga zábakadde
Bya Mike Sebalu, Abali ku ludda oluvuganya gavt mu Palamenti baagala gavumenti eyongere ku muwendo gw’abakadde abaganyulwa mu nsimbi ezibaweebwa buli mwezi ate ekendeeza ne ku myaka kwebalina okuzifunira. Ensimbi zino zimu ku nteekateeka ya Social Protection Programme (ESP) eyassibwa mu nkola Gavumenti okuyita mu […]
Museveni asanyukidde ekya CAF okukkiriza East Africa okutegeka empaka za AFCON
Bya Mike Sebalu, Pulezidenti Museveni asanyukidde amawulire g’ekibiina ekitwala omuzannyo gwomupiira mu Africa ekya Confederation of African Football (CAF) okuwa amawanga 3 aga East Africa okuli Kenya, Tanzania ne Uganda omukisa okutegeka empaka za AFCON eginabaawo mu 2027, n’agamba nti kabonero akalaga omwoyo gwóbwa sseruganda. […]
Zaake yagobebwa mu bukyamu kubwa Kamisona
Bya Ruth Anderah ne Juliet Nalwooga, Palamenti ekkirizza okufuna ensala ekwata ku mubaka wa munisipaali y’e Mityana Francis Zaake okuggyibwa kubwa kamisona bwa Palamenti. Kkooti ya Ssemateeka olwaleero erangiridde nti omubaka Zaake yagobwa ku bwa kaminsona mungeri emenya amateeka kuba sipiika wa Palamenti teyayolesa bwenkanya. […]
Ekitongole ekiramuzi kisabiddwa okuteeka munkola enfuga ey’amateeka
Bya Ruth Anderah, PULEZIDENTI w’ekibiina ekigatta bannamateeka ekya Uganda Law Society alajaanidde ekitongole ekiramuzi okutumbula obuvunaanyizibwa n’enfuga y’amateeka ng’engeri y’okussa ekitiibwa mu mugenzi eyasooka okuba ssaabalamuzi weggwanga Benedicto Kiwanuka. Kiwanuka yatemulwa lwa kwagala n’okussa ekitiibwa mu nfuga y’amateeka, eddembe ly’obuntu n’obwenkanya. Yakwatibwa n’effujjo basajja beyaliko […]
Amuriat ne Nandala basunsuddwa
Bya Damali Mukhaye, Akakiiko k’ebyokulonda ak’oludda oluvuganya gavumenti aka Forum for Democratic Change (FDC) akawungeezi ka leero kasunsudde senkagale wekibiina Patrick Amuriat ku kifo kye kimu. Era mu balala abasunsuddwa ye Jack Sabiiti eyegwanyiza ekifo kya ssentebe w’ekibiina ate Ssaabawandiisi Nandala Mafabi avuganya ku kifo […]