Amawulire

Aba DP bakubye ebituli mu kwogera kwa Pulezidenti

Aba DP bakubye ebituli mu kwogera kwa Pulezidenti

Ivan Ssenabulya

September 12th, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye, Ekibiina ekiri kuludda oluvuganya gavumenti ekya Democratic Party kikubye ebituli mu kwogera kwa Pulezidenti gye buvuddeko ku nsonga z’ebyokwerinda wakati mu bwerinde bwe bikolwa ebye kitujju Mu kwogera kwe pulezidenti Museveni yawadde amagezi ebifo byonna eby’okusinzizaamu biwalirize abagoberezi baabyo okuleeta ebibakwatako nga […]

Aba NEED bagala enfuga ya Fedelo ekkomezebwewo mu Uganda

Aba NEED bagala enfuga ya Fedelo ekkomezebwewo mu Uganda

Ivan Ssenabulya

September 11th, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye, Ekibiina ekivuganya gavumenti ekya National Economic Empowerment Dialogue (NEED) kyagala enfuga ya Federo ekkomezebwewo mu Uganda. Bwabadde ayogerako eri bannamawulire ku kitebe ky’ekibiina e Rubaga olwaleero, omwogezi w’ekibiina kino, Moses Matovu alumiriza okugabanya eby’obugagga mu ggwanga mu ngeri etali ya bwenkanya ky’agamba […]

Abantu 30 bebagyeyo Foomu okuvuganya ku bifo byóbukulembeze mu FDC

Abantu 30 bebagyeyo Foomu okuvuganya ku bifo byóbukulembeze mu FDC

Ivan Ssenabulya

September 11th, 2023

No comments

Bya Damali Mukhaye, Abantu 30 be bakimye foomu z’okwesimbawo okuvuganya ku bifo by’obukulembeze 38 eby’oku ntikko ebiriwo mu kibiina kya Forum for Democratic Change. Bwabadde ayogerako eri bannamawulire ku kitebe ky’ekibiina e Najjanankumbi, Ssentebe w’akakiiko ak’ebyokulonda mu FDC, Boniface Bamwenda agambye nti abantu 19 be […]

Agambibwa okuyambako aba ADF yewaddeyo eri abébyókwerinda

Agambibwa okuyambako aba ADF yewaddeyo eri abébyókwerinda

Ivan Ssenabulya

September 11th, 2023

No comments

Bya Mike Sebalu, Agambibwa okuba nga abadde ayambako abatujju ba ADF mu disitulikiti ye Rubirizi yewadeyo eri abebyokwerinda. Ono ategerekese nga William Byaruhanga ow’emyaka 30 era nga yaliko omutuuze w’e Busunga trading centre mu disitulikiti y’e Bundibugyo. Okusinzira ku mwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred […]

Museveni asaasidde Kabaka wé Morocco olwá Musisi eyabagoyeza

Museveni asaasidde Kabaka wé Morocco olwá Musisi eyabagoyeza

Ivan Ssenabulya

September 11th, 2023

No comments

Bya Mike Sebalu, Pulezidenti Museveni aweerezza obubaka obw’okusaasira eri Obwakabaka bwa Morocco ku musisi ow’amaanyi eyakubye eggwanga lyabwe ku Lwokutaano lwa ssaabiiti ewedde omwafiiridde abantu abasoba mu 2,000 n’abalala ebikumi n’ebikumi ne balumizibwa. Mu bubaka bwayisiza ku twitter, Pulezidenti Museveni atuusizza okusaasira okw’amaanyi eri Kabaka […]

NDA eggadde amadduka agatunda eddagala mu bukyamu mu Busoga

NDA eggadde amadduka agatunda eddagala mu bukyamu mu Busoga

Ivan Ssenabulya

September 8th, 2023

No comments

Bya Abubaker Kirunda, Ekitongole ekivunaanyizibwa ku ddagala mu ggwanga ekya National Drug Authority [NDA] kiggadde ebifo ebitundibwamu eddagala 166 olw’okukolera mu bukyamu. Akulira ekitongole ekikwasisa amateeka mu kibiina kya NDA Samuel Kyomukama agamba nti ebifo ebitundibwamu eddagala ebikoseddwa bikola nga tebirina bisaanyizo na layisinsi Agambye […]

Omukyala eyayambibwako Maama Wange Health Camp asumulukuse bulungi

Omukyala eyayambibwako Maama Wange Health Camp asumulukuse bulungi

Ivan Ssenabulya

September 8th, 2023

No comments

Bya Khalil Ibrahim Manzil, Nakazadde weggwanga eyakubyeewo ezadde ery’omwana omulenzi mu ddwaliro erya Kampala hospital atendereza nnyo enkola eyatekebwawo Kampuni ya Nation Media nga eyita mu Radio Dembe fm emannyiddwa nga Maama Wange Health Camp olw’okumukwatirako natuuka okusumuluka nga talina munwe gwa nusu gwasasuddeyo eri […]

Omuwendo gwábakyala abafa nga bazaala gwóngedde okukendeera

Omuwendo gwábakyala abafa nga bazaala gwóngedde okukendeera

Ivan Ssenabulya

September 8th, 2023

No comments

Bya Moses Ndaye, Abakugu mu by’obulamu balina essuubi nti embeera yábakyala okufiira mussanya yakwongera okukendeera singa bamaama abazaala beeyongera okunoonya obuweereza bw’okulabirirwa nga bafunye embuto. Alipoota ekwata ku byobulamu bya bannauganda eya Uganda Demographic and Health Survey (UDHS) eyomwaka 2022 eyafulumiziddwa ekitongole ekivunanyizibwa ku kubala […]

Sipiika awera nti wakulemesa okukakasibwa kwábaminisita abatagenda mu ntuula

Sipiika awera nti wakulemesa okukakasibwa kwábaminisita abatagenda mu ntuula

Ivan Ssenabulya

September 7th, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye, Omukubiriza wólukiiko lwéggwanga olukulu atiisatiisiza nga bwagenda okulemesa okukakasibwa kwábaminisita abanaba balondebwa omukulembeze. Anita Among, aweze nti minisita yenna agenda okuleetebwa mu kakiiko ka palamenti akekenenya ababa balondebwa pulezidenti nga abadde batuula mu nkiiko za palamenti si wakusunsulwa. Bino abyogedde ng’aggulawo olukiiko […]

Omukazi e Bugiri asse omwanawe asobole okugenda e Kampala akole obwayaaya

Omukazi e Bugiri asse omwanawe asobole okugenda e Kampala akole obwayaaya

Ivan Ssenabulya

September 7th, 2023

No comments

Bya Abubaker Kirunda, Omukazi mu disitulikiti y’e Bugiri asimattuse okuttibwa abatuuze ku kyalo Makoma mugombolola ye Bulidha oluvanyuma lwokutta omwanawe owa wiiki 2 asobole okujja e Kampala akole obwayaaya. Omumyuka wa ssentebe wa LC1 mu kitundu kino, Denis Okecho agambye nti omutemu ono yakwatiddwa ng’asuula […]