Amawulire
Omusajja asse omwanawe lwa Mukaziwe kumunobako
Bya Abubaker Kirunda, Omusajja ow’emyaka 34 akwatiddwa ab’obuyinza mu disitulikiti y’e Namayingo ku by’okuwa omwana we ow’emyaka 8 obutwa oluvanyuma lwa nnyina okunoba. Omukwate mutuuze ku kyalo Busuma mu town council y’e Banda mu disitulikiti y’e Namayingo kigambibwa nti yawadde Kisakye Nagudi obutwa n’afa nga […]
Munnansi wa Congo asindikibwa mukkomera e Luzira lwakufera
Bya Ruth Anderah, Munnansi wa Congo agambibwa okubba sente z’omukolo asindikiddwa mu kkomera e Luzira ajira yebakayo okumala ennaku kumi nanya. Chubaka Lumumba nga musubuzi e Kabowa mu Rubaga Division wano mu Kampala alabiseko mu maaso g’omulamuzi we daala erisooka ku Buganda Road Fidelis Otwao […]
FDC efundikidde okulonda abakulembeze
Bya Prossy Kisakye, Akakiiko ke byokulonda mu kibiina kya FDC mu butongole kalangiridde nti kamalirizza okulondesa ebifo byonna mu kibiina kya FDC eby’obukulembeze bw’ebitundu. Kati ekisigalidde kwekuyingiza amannya g’abakulembeze mu bitabo by’ekibiina ebitongole. Akakiiko kano kaali kaalangirira dda nga bwekamaze okulondesa eggwanga lyonna, wabula district […]
Bannauganda basabiddwa okulwanyisa ebisomooza ensoma yómwana omuwala
Bya prossy Kisakye, Gavumenti esabye bannauganda okumenyawo ebiziyiza byonna ebiremesa omwana omuwala n’abaana abaliko obulemu okugenda ku masomero. Okusinziira ku minisita ow’ekikula ky’abantu, Sarah Mateke, wadde nga gavumenti evudeyo ne kaweefube ow’enjawulo okutumbula owókusoma okulungi eri omwana omuwala n’abaana abaliko obulemu ebitundu bingi bikyasibidde mu […]
Bannamateeka batandise kawefube owókusomesa obukulu bwékiraamo
Bya Mike Sebalu, Ekibiina ekigatta bannamateeka mu ggwanga ekya Uganda Law Society kitandise okumanyisa abantu ku bulungi obuli mu kuwandiika ekiraamo. Bino byogeddwa Bernard Oundo, pulezidenti w’ekibiina kino bwabadde ayogerera ku bikujjuko by’olunaku lwa probono olw’omulundi ogwa 14 olukuzibwa ku kibangirizi kya Railway mu Kampala. […]
Gavt yeyamye okwongera amaanyi mu byenjigiriza, okusoma nókuwandiika
Bya Prossy Kisakye, Gavumenti egamba nti yeewaddeyo okukola ku bintu byonna ebiziyiza ebyenjigiriza n’okusoma n’okuwandiika. Bwabadde ayogerako eri bannamawulire mu Kampala, nga beetegekera olunaku lw’ensi yonna olw’okusoma n’okuwandiika olubeerawo buli nga 8th Sept, minisita ow’ekikula ky’abantu, abakozi n’enkulaakulana y’embeera z’abantu, Sarah Mateke, ategeezezza nti wadde […]
Ebibiina byábavubuka 17 e Mityana bifunye ensimbi zábavubuka
Bya Prossy Kisakye, Ebibiina byábavubuka 17 mu district y’e Mityana, biweeredwa ensimbi z’okwekulakulanya muntekateeka ya gavument eya Youth livelihood program. Buli kibiina kifunye ssente obukadde musanvu nekigendererwa eky’okugoba obwavu mu bavubuka, nga betandikirawo emirmu egyenjawulo. Obukadde 135 zeziweereddwa abavubuka mu bibiina ebyenjawulo, era nga abavubuka bano bavudde […]
Gavt eddukiridde abaakosebwa Omuyaga e Ssembabule
Bya Malik Fahad, Govt ya Uganda ng’eyita mu office ya prime minister, ewadde banna Sembabule kilo 20,000 ez’akawunga olwa kibuyaga n’emuzira ebyabakuba mumwezi ogwokuna omwaka gunno. Abamu ku batuuze ku baasinga okukosebwa bava mu magombolola okuli Mijwala, Kawanda, Mabindo, Matete, ne Matete town council. RDC […]
Bobiwine agenze Kasese mu kawefube wókukunga Bannakibiina
Bya Prossy Kisakye, Omukulembeze Wékibiina Kyébyóbufuzi ekya NUP, Robert Kyagulanyi Ssentamu w’owulira bino mutaka mu kibuga ky’eKasese gyagenze okugulawo yafeesi zekibiina n’okudamu okumakuma bannakibiina enaku zinno ababadde betemyemu. Abamu ku bannakibiina Kya NUP,okuli abakolera mu butale kunguudo, abagoba baboda nabalala betwogedeko nabo balaze esannyu era […]
Kkooti yámaggye yegyereeza Gen. Kale Kayihura
Bya Ruth Anderah, Kkooti y’amagye etuula e Makindye eggyeyo emisango gyonna egyali gyaggulwa kweyali omudumizi wa poliisi mu ggwanga General Kale Kayihura. Emisango egibadde gimuvunanibwa kuliko; okulemererwa okukuuma ebikozesebwa mu lutalo, okulemererwa okulabirira abaserikale ba poliisi, n’okuyambako mu kuwamba abantu. Emisango gino gyonna gimugiddwako akakiiko […]