Amawulire
Bannauganda 87 baggalibwa mu Butuluuki
Bya Juliet Nalwooga, Gavumenti ng’eyita mu minisitule y’ensonga z’ebweru ekakasizza nti omugatte gwa bannayuganda 87 bebasibirwa mu ggwanga lya Turkey olwa viza zaabwe okugwako ne basigalayo. Mu kiwandiiko ekifulumiziddwa olunaku olwaleero, Vincent Waiswa Bagire omuwandiisi ow’enkalakkalira mu minisitule eno, nga bali wamu n’ekitebe kya Uganda […]
Bannauganda bakubirizibwa okuyambako mu kulwanyisa ekirwadde kya Kkokolo
Bya Prossy Kisakye, Katikkiro w’Obwakabaka bwa Buganda, Charles Peter Mayiga akunze Bannayuganda okwetaba mu misinde gya Rotary Cancer Run egigenda okubeerawo ku Ssande eno ku kisaawe e Kololo. Bino abyogedde akawungeezi ka leero bwabadde asisinkanye banna Rotale abakyadde e Mbuga. Mayiga ategeezezza nti emisinde gino […]
Omusango gwa Minisita Lugoloobi teguwuliddwa
Bya Ruth Anderah, Okuwulira omusango oguvunaanibwa Minisita omubeezi ow’ebyensimbi, Amos Lugoloobi kwongezebwayo okutuuka nga 16th October 2023 olw’a mulamuzi Margaret Tibulya aguli mitambo obutalabikako. Minisita Lugoloobi avunaanibwa emisango 2 egy’okozesa obubi obuyambi bwámabaati agalina okujuna abantu bé karamoja abali mu mbeera embi. Nga 8th August […]
Abasaabalira mu Baasi basobedwa eka ne mu Kibira
Bya Mike Sebalu ne Ronald Ssenvuma, Nókutuuka kati abasabaze abakozesa entambula eya zi baasi mu paaka eye Namayiba ne ya sir appollo kaggwa road bakyakonkomalidde mu paaka olwókubulwa entambula ezibongerayo gyebagenda. Kino kidiridde ekikwekweto ekikolebwa enkya ya leero ekitongole ekiddukanya ekibuga kampala nga bafuuza ba […]
Entalo mu FDC buli lukya zikwata ssuula mpya
Bya Damali Mukhaye, Ekibiina kye byobufuzi ekya forum for democratic change party kiri mu masanganzira oluvanyuma lwábakungu békibiina okutegeka tabamiruka wékibiina kino wamirundi ebiri mu budde bwebumu. Kino kidiridde Ssentebe wékibiina kino, Wasswa Birigwa okuyita htabamiruma mu mwezi ogwo 9 songa ne ssentebe wákakiiko kébyókulonda […]
Abagambibwa okuba abali bébisiyaga 4 bakwatibwa e Buikwe
Bya Abubaker Kirunda, Abantu bana bakuumirwa ku poliisi mu disitulikiti y’e Buikwe ku bigambibwa nti basangibwa mu bikolwa ebyóbuli bwe bisiyaga ekimenya amateeka mu ggwanga lino. Omwogezi wa poliisi mu kitundu kya Ssezibwa, Helllen Butoto ategeezezza nti abakwatiddwa baasangibwa okuva mu bbaala ya Claud nine […]
Omubaka Basalirwa ayambalidde Banka yénsi yonna ku byétteeka
Bya Prossy Kisakye, Omubaka wa Palamenti owékibuga kyé Bugiri, eyaleta etteeka erirwanyisa ebisiyaga mu ggwanga, Asuman Basalirwa atabukidde Banka y’ensi yonna olw’okusalawo okuyimiriza obuyambi bw’ewa Uganda mu by’ensimbi oluvannyuma lw’okussaawo etteeka erirwanyisa ebisiyaga. Gyebuvuddeko Banka yategeeza nga bwebatagenda kuddamu kuwa Uganda buyambi bwa nsimbi nga […]
Kabaka asabye Gavt okutumbula ebyóbulimi
Bya Prossy Kisakye, Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi 11 asabye gavumenti okutwala ebyobulimi ng’empagi ennywevu eri enkulaakulana y’eggwanga. Bino abyogedde nkya ya leero bw’abadde aggulawo Olukiiko lwa Buganda olw’omulundi ogwa 31 e Bulange Mengo. Kabaka ayagala gavumenti efuule ebyobulimi essomo eryóbuwaze eri abayizi okutuukira […]
Eyasobya ku mwana owémyaka 3 asibiddwa emyaka 25
Bya Ruth Anderah, Agambibwa okusangibwa lubona mu mwezi gwe 11 mu mwaka gwa 2010 ngasobya ku mwana omuto mufumbiro lya jjajjaawe gwe yali awangala naye asibiddwa emyaka 25. Mukundane Edison asibiddwa abalamuzi bassatu aba kkooti ejulirwamu nga bakulembeddwamu amyuuka ssabalamuzi wa Uganda Richard Buteera. Oludda […]
Museveni akubiriza abavubuka okujjumbira technologia
Bya Ronald Ssenvuma, Omukulembeze weggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni akkalaatidde abavubuka okujjumbira okusoma ebintu ebinabayamba n’okubasobozesa okufuna emirimo oba okujetandikirawo nebatamala gasoma muwawa. Pulezidenti bino abyogeredde Kabale kusomero erya Kigezi primary school awali entiko yemikolo gy’okuza olunaku olwabavubuka Pulezidenti agambye nti singa abavubuka banetanira okuyiga […]