Amawulire
Gavt evudeyo enkola endala ezókuyamba abavubuka
Bya Juliet Nalwooga, Gavumenti ng’eri wamu n’ekibiina ky’amawanga amagatte batandise enteekateeka endala ez’obukugu mu bavubuka okusobola okutumbula okuyamba abavubuka okudda engulu okuva mu buzibu obwava ku kubalukawo kwa Covid-19. Bino byogeddwa minisita w’ekikula ky’abantu, abakozi n’enkulaakulana y’embeera z’abantu, Betty Amongi ku mukolo gw’eggwanga ogw’okukuza olunaku […]
Abavubuka tebaganyuddwa munteekateeka za gavt
Bya Prossy Kisakye, Abakulembeze b’abavubuka mu Uganda bagamba nti enteekateeka ezizze ziteekebwawo govt okusitula embeera zabwe tebaziganyuddwamu. Olunaku lw’abavubuka mu Uganda lukuzibwa buli nga 12 August, wabula ku mulundi guno lwayongezebwayo okutuuka nga 18 August 2023. Olunaku luno lujjiddde mu kiseera ng’ensimbi obuwumbi 16 gavumenti […]
Tayebwa akubiriza bayinginiya okukola n’obukugu
Bya Mike Sebalu, Omumyuka wa Sipiika wa Palamenti Thomas Tayebwa asabye bayinginiya okussa obuyiiya n’obuvunaanyizibwa ku mirimu gyabwe. Ono era awadde bammemba ba Uganda Institution of Professional Engineers (UIPE) amagezi okukola enteekateeka mwebanayita okulwanyisa obuli bw’enguzi, n’okukuuma omutindo mu mulimu gwabwe basobole okukola pulojekiti z’enkulaakulana. […]
Bannakyewa batongoza kawefube ow’okusomesa bannauganda ku tteeka ly’ebisiyaga
Bya Prossy Kisakye, Bannakyewa mu mukago gutakabanira amaka amalungi ogwa Family Life Network, (FLN), batongozza kawefube w’okutalaaga ebitundu by’eggwanga ebyenjawulo nga basomesa abantu obukulu bwétteeka erikugira omukwano ogw’ebikukujju, n’okumanyisa abazadde obuvujjirizi bwabwe mu tteeka lino. Stephen Langa ssenkulu w’omukago gwa Family Life Network, abadde mu […]
Sipiika agaanye ebyókugoba Omubaka Ssemujju kubwa Nampala
Bya Damali Mukhaye, Sipiika wa Palamenti, Anita Among agaanye okuggya omubaka wa Munisipaali y’e Kira, Ssemujju Nganda ku kifo kye nga akulira ababaka ba FDC mu Palamenti. Kino kyaddiridde ekibinja ky’ababaka ba palamenti abava mu FDC okusaba sipiika okuyimiriza enkyukakyuka ezakolebwa abakulembeze békibiina kyabwe kunsonga […]
DPP asabye Kkooti okujjulira kwa Troy avunaanibwa okutta Omuyimbi Radio kugobwe
Bya Ruth Anderah, Ofiisi ya ssaabawaabi wa gavumenti esabye kkooti ejulirwamu egobe okujulira kwa Godfrey Wamala amanyiddwa nga Troy mw’awakanyiza ekibonerezo ky’okusibwa emyaka 14 ekyamuweebwa ku byokutta omuyimbi Moze Radio. Wamala yasingisibwa omusango mu October wa 2019 omulamuzi Jane Frances Abodo ng’asinziira ku bujulizi obwaleetebwa […]
Gavumenti etongoza kawefube owókwongera okuyitimusa ebyóbulimi
Bya Prossy Kisakye, Gavumenti okuyita mu yafeesi ya ssaabaminisita evudeyo ne kawefube owokwongera okutumbula ebyobulimi nóbulunzi mu ggwanga ne kigendererwa ekyokwongera okuwagira ababirimu okubifunamu ensimbi eziwera nókubaawo obungi bwemmere mu ggwanga. Bwabadde ayogerako eri bannamawulire mu ofiisi ye mu Kampala Ssaabaminisita, Robinnah Nabbanja, ategeezezza nti […]
Abatuuze e Kiboga bagala Poliisi positi zidde mu bitundu byabwe
Bya Ronald Ssenvuma, Poliisi enkulu eye Kiboga ewanjagidde abatwala eby’okwerinda ab’okuntiko okuddamu batunule munsonga z’okuzaawo ezimu ku poliisi posts ezajibwaawo olwobumenyi bwamateeka obusitudde enkundi mukitundu ekyo okuva ebifo ebyo lwebyajjibwaawo Okusaba kuno kukoleddwa Omudduunizi wa police ey’e kiboga Hillary Nuwahereza. Nuwahereza okwoogera bino abadde awayaamu […]
Endagano ya DP ne NRM erimu ebirumira bingi
Bya Prossy Kisakye, Abatunulizi bébyóbufuzi mu ggwanga bakubye ebituli mu ndagaano eyakolebwaekibiina kya DP ne NRM eyókolaganira awamu eyassibwako omukono mu July w’omwaka oguwedde. Endagaano eno yassibbwaako omukono wakati wa pulezidenti w’ekibiina kya Democratic Party Nobert Mao, ne pulezidenti era nga ye ssentebe w’ekibiina kya […]
Poliisi Entebbe enunudde Amabaati 215 agalina okuweebwa abé Karamoja
Bya Juliet Nalwooga, Poliisi e Entebbe ezuddeyo amabaati 215 okuva mu yafesi ya ssabaminisita agamu kwago agalina okutwalibwa okugabirwa abannaku mu bitundu bye Karamoja. Gano gasangibwa ku kizimbe ekizimbibwa mu bitundu bye Nkumba -KatabiEntebbe nga kitegerekese nti kya mukyala ategerekeseeko erya Joy Luke Owoyesigyire amyuka […]