Amawulire
Aba DP basabye Gavt okunonyereza ku bulyake obwetobese munsimbi Zé Emyooga
Bya Prossy Kisakye, Ekibiina ekivuganya gavumenti ekya Democratic Party kisabye palamenti okunoonyereza ku nguzi ekolebwa mu kuddukanya ensimbi zémyooga. Kino kiddiridde amawulire okufuluma ku bigambibwa nti minisita avunanyizibwa ku micro finance, Haruna Kasolo yakozesa bubi ssente ze Emyooga ezisoba mu buwumbi bubiri. Kigambibwa nti ssente […]
Abadde Nampala wa FDC mu Parliament Ssemuju Ibrahim Nganda asuuliddwa
Bya Damalie Mukhaye. Obukulembeze bw’ekibiina ki FDC e Najjanankumbi kikutte ku nkoona abadde nampala w’ekibiina mu Parliament era Omwogezi waakyo Ssemuju Ibrahim Nganda. Okusinziira ku bbaluwa etereddwako omukono gwa Ssabawandiisi w’ekibiina Nathan Nandala Mafaabi, Nganda asikiziddwa Yufu Nsibambi. Nandala ategeezezza nga bwakozesezza obuyinza obumuwebwa semateeka […]
Omusango gwa Ssegirinya ne Ssewanyana ogwóbutujju teguwuliddwa
Bya Ruth Anderah, Omusango gw’obutujju oguvunanibwa ababaka ba palamenti, okuli Allan Ssewanyana owa Makindye West ne Muhammad Ssegirinya owa Kawempe North gw’ongezebwayo. Omusango guno gwongezebwayo omulamuzi wa kkooti ya International Crimes Division, Alice Komuhangi Khaukha, oluvanyuma lwómu ku bavunnanwa Muhammad Ssegirinya okuba nti teyewulira bulungi […]
Emirambo 14 gyegyakanyululwa mu Nyanja
Bya Mike Sebalu, Poliisi etegeezezza nti n’okutuusa kati emirambo 14 gye giggyiddwa mu nnyanja Nalubaale oluvannyuma lw’ekikangabwa ekyagwawo wiiki ewedde abantu 25 mwe bateeberezebwa okubbira mu nnyanja eno. Bano bebamu kubantu 34 abaali batambulira ku lyato eryabbira olwómuyaga omungi ogwali ku Nyanja ku lunaku olwo […]
Besigye akubye ebituli mu alipoota yákakiiko ka FDC ku Nsimbi ezaayingira mu Kibiina
Bya Prossy Kisakye, Eyali pulezidenti w’ekibiina gavumenti ekya Forum for Democratic Change-FDC, Rtd Col. Dr. Kiiza Besigye, akubye ebituli mu alipoota ya kakiiko ka bakadde mu FDC akaweebwa omulimu gwókunonyereza kunsimbi zékibi ezigambibwa okujja mu kibiina kyabwe. Okusinziira ku alipoota eyayanjurwa kakiiko kabakulembeze ba FDC […]
Abadde akulira UNBS agobeddwa
Bya Mike Sebalu Abadde akulira ekitongole ekivunanyizibwa ku mutindo gw’ebintu mu gwanga KI Uganda National Bureau of Standards (UNBS) David Livingstone Ebiru agobeddwa ku bukulu bw’ekitongole ekyo. Mu baluwa etereddwako ennaku z’omweezi 4/08 omukono gwa Minister w’eby’obusuubuzi Francis Mwebesa, ono akkiriziganyizza n’okusalawo kw’olukiiko lwa National […]
Ensimbi za SACCO ezaali zabbibbwa zizuuse
Bya Elly Katahinga Obukulembeze bwa disitulikiti y’e Ntungamo buzudde obukadde bwa ssente 8 ezaali zibbiddwa mu kibiina kya sacco ki Rukarango-Kibatsi Parish Development Model Sacco. Ssente zino zaali zibbiddwa akulira eby’obusuubuzi mu disitulikiti Niwagaba Seth n’akulira enkulaakulana y’abantu mu Kibatsi Arinaitwe Isaac kati abakwate. Disitulikiti […]
Bannauganda bangi tebamanyi nti waliwo Ambyulensi za Gavt mu bitundu byabwe
Bya Ndaye Moses. Okunonyereza okukolebwa kulaga nti bannauganda 2 ku 10 beebokka bebamanyi nti waliwo ambulance mu bitundu byabwe zebasobola okukubira nga batuuse mu bwetaavu. Alipoota empya etuumiddwa ‘’Bannauganda byebayiseemu ne byebalowooza ku mbeera ezóbutyabaga némpereeza’’ eyafulumiziddwa Twawenza egamba nti abasinga ku bannauganda bamanyi nti […]
Abafiiriddwa abantu babwe mu kabenje kéryato balajanidde Gavt
Bya Ivan Walunyolo, Abooluganda lw’abantu abagudde mu Nyanja Nalubaale olunaku lweggulo, balajanidde gavumenti okuwagira okunoonya emirambo gyabwe kibasobozese okufuna okuziikibwa okusaanira. Bano bagumbye ku mwalo e Bugonga nga balindiridde amawulire agakwata ku nkomerero y’abaagalwa baabwe okuva mu ttiimu ey’awamu ey’amagye ne poliisi y’oku mazzi wamu […]
Akakiiko kébyókulonda keetaaga ensimbi 1.3Tn okutegeka okulonda kwa 2026
Bya Prossy Kisakye, Akakiiko k’ebyokulonda kasuubira okukozesa omugatte gwa shs1.38 trillion mu kutegeka okulonda kwa bonna okujja mu 2026. Bino byogeddwa ssaabawandiisi w’akakiiko kano, Leonard Mulekwah, mu kutongoza enteekateeka y’akakiiko kano eyomwaka gwa 2022-2023- 2026-2027 n’enteekateeka y’okulonda 2025-2026 mu Kampala. Okusinziira kuntekateeka omulimu ogwokwekenenya empapula […]