Amawulire
Kazimba asabye aba UCDC okuleka essomo lyéddiini mu bisomesebwa Abayizi
Bya Damali Mukhaye, Ssabalabirizi wa Uganda Kitaffe mu Katonda Samuel Stephen Kazimba Mugalu abuulidde ekitongole kya gavumenti ekivunanyiizbwa ku nambika y’ebisomesebwa ki Uganda Curriculum Development Centre okulowooza ku ky’okuleka essomo ly’eddiini mu ebyo ebisomesebwa abayizi mu masomero, mu kawefube agenda mu maaso okukola engosereza mu […]
Abatunulizi bébye’nfuna bawabudde Gavt ne NAB
Bya Sebalu Mike, Abakugu mu by’enfuna bawadde gavumenti n’ekibiina ekigatta emikutu gyámawulire ekya National Association of Broadcasters (NAB) amagezi okunoonya okutuula bakanye buli muntu asobole okuwangaala. Kino kiddiridde ekiragiro kya pulezidenti ekiragira ebirango bya gavumenti byonna okuyitira mu kitongole kya gavumenti ekye byempuliziganya ekya Uganda […]
DP yakunaabira mu maaso abakulembeze abagaanye okukkiririza mundowooza yabwe
Bya Prossy Kisakye, Ekibiina ekivuganya gavumenti ekya Democratic Party kigamba nti tekirina kyakukola okuggyako okugoba abakulembeze abagaanye mu bugenderevu okutegeera ebirubirirwa bye kibiina. Kino kiddiridde ababaka ba palamenti aba DP okukkaatiriza nti endagaano y’okukolagana ne gavumenti ya NRM eyassibwako omukono wakati wa pulezidenti Museveni era […]
Eyaliko Omubaka wa Makindye West Hussein Kyanjo Afudde
Bya Prossy Kisakye, Eyaliko omubaka wa Makindye West, mu lukiiko lweggwanga olukulu era nga yaliko senkagale wekibiina kye byobufuzi ekya JEEMA, Hussein Kyanjo mukama amunyuludde okuva munsi. Ono nga yali munnabyabufuzi aterya ntama afudde nkya ya leero mu ddwaliro e Kibuli gyabadde afunira obujanjabi. Ebizibu […]
Eyasobya kumwana owémyaka 10 asibiddwa emyaka 23
Bya Ruth Anderah, Kkooti ejulirwamu esalidde omusajja ow’emyaka 60 ekibonerezo kya kusibwa emyaka 23 lwa kusobya ku muwala ow’emyaka 10. Omusango guno Fred Bamuwaira yaguza nga July 19th 2012, nga yalina emyaka 47, oluvanyuma kkooti enkulu yasingisibwa omusango gwókujjula ebitanajja era naweebwa ekibonerezo kyakusibwa obulamu […]
Abalimi bómukyeere e Lwengo basse Nggaali 11
Bya Malik Fahad, Poliisi e Lwengo etandise okunoonyereza ku abalimi bómukyeere abatannamanyika e Lwengo gyebawaddemu obutwa Nggaali 11 nezifa n’okulumya abalala 8. Bino bibadde mu byalo bibiri okuli Kikonge ne Nabyewanga mugombolola ye mu disitulikiti y’e Lwengo. Okusinziira ku Gilbert Tayebwa akulira enteekateeka y’okukuuma ebinyonyi […]
Aba DP nabo baweereza Obubaka obukubagiza ku kufa kwa Bakyenga
Bya Prossy Kisakye, Ekibiina ekivuganya gavumenti ekya Democratic Party kiweereza okusaasira okuva ku mutima eri Eklezia Katolika mu Uganda olw’okufa kwa Ssaabasumba ow’e Mbarara, Paul Bakyenga. Bwabadde ayogerako eri bannamawulire ku ofiisi z’ekibiina mu Kampala, Ssaabawandiisi wa DP, Gerald Siranda yasiimye omugenzi nga munnadiini omuvumu […]
Sipiika akungubagidde eyali Ssabasumba Bakyenga
Bya Mike Sebalu, Abantu abénjawulo bakyagenda mu maaso nókuweereza obubaka obukungubagira eyaliko Ssabasumba wé Ssaza lye Mbarara, Paul Bakyenga, eyafudde mu bulamu enkya ya leero. Omumyuka wa Sipiika wa Palamenti Thomas Tayebwa, mu bubaka bwe obw’okusaasira, agambye nti Bakyenga yali taata ow’omwoyo, omukulembeze omusanyufu era […]
Katikkiro akubiriza bannauganda okuwagira omulimo gwókusima amafuta
Bya Prossy Kisakye, Kamala byonna wa Buganda Charles Peter Mayiga, akubiriza bannauganda okwewala endoowoza enkyamu ze balina ku ntekateeka yókusima amafuta. Okwogera bino abadde alambula ekisaawe kye nyonnyi ekiri mu kuzimbibwa e Buliisa, mu lugendo lwe lwaliko olwókulambula ebifo awagenda okusimwa amafuta. Ono agamba nti […]
Eyali Ssabasumba w’Obusumba bw’e Mbarara afiiridde ku gy’obukulu 79
Mike Sebalu Eyali Ssabasumba w’Essaza ekkulu ely’e Mbarara Paul Bakyenga afudde. Ono affiridde wali mu dwaliro ekkulu e Nsambya gyeyabadde aleteddwa okuddamu okumwekebejja embeera y’obulamu bwe. Omusumba Bakyenga, afiiridde ku gy’obukulu 79. Okusinziira ku kiwandiiko ekitereddwako omukono Chancellor w’obusumba bw’e Mbarara Fr Balikuddembe Mukasa, enteekateeka […]