Amawulire
Ensimbi mu bakulembeze zitambudde FDC
Bya Mike Sebalu Omwogezi w’ekibiina ki Forum for Democratic Change Ssemuju Ibrahim Nganda, ayagala abamu ku bakame be baveeyo bannyonyole ensimbuko y’ensimbi ezitamanyiddwa muwendo eziyitingana nga zibaviiriddeko okweluma luma n’okwawulayawula mu kibiina. Ssemuju agamba nti ensimbi ezibabobbesa omutwe, zayingira dda mu kibiina kino wabula nga […]
UNATU ekangudde ku ddoboozi
Bya Mike Sebalu Ekibiina ekigatta abasomesa ki Uganda National Teachers Union (UNATU) kitiisizzatiisizza okukozesa omukono ogwekyuma eri abakulembeze b’amatabi gaakyo okwetoloola eggwanga, abalemereddwa okulaga ensasanya y’ensimbi ezizze zibawebwa okukola emilimu ku matabi okuviira ddala mu kitundu ekyasooka eky’omwaka ogw’ebyensimbi. Obukadde bw’ensimbi obusoba mu 60 bwebutalagibwako […]
15 bafiiridde mu kabenje
Bya Mike Sebalu Poliisi ekakasizza ng’abantu 15 bwebafiiridde mu kabenje dekabuse akaguddewo ekilo kya leero ku luguudo oluva e Fortportal okugenda e Kagadi. Akabenje kano kabaddemu motoka ya taxi ne lukululama nga kagudde mu bitundu ebililaniganye omugga Rwizi. Ayogerera Poliisi mu bitundu bya Albertain Julius […]
Poliisi e Masaka ekutte Omusajja abadde akozesa Muwalawe námuzaalamu na Balongo
Bya Getrude Mutyaba, Poliisi e Bukomansimbi ekutte omusajja ow’emyaka 36 lwa kukozesanga muwalawe we mu mukwano ow’emyaka 16 omulema námufunyisa n’olubuto. Omusajja ono Kaggwensonyi ategerekese nga Joseph Katongole omutuuze ku kyalo Gongwe, mu town council y’e Kigangazi mu disitulikiti y’e Bukomansimbi. Katongole yakwatiddwa ne mukyala […]
Poliisi ekutte Omusajja agambibwa okupangisa batemu batte munne
Bya Prossy Kisakye, Poliisi ekutte omusajja agambibwa okupangisa abatemu batte musuubuzi munne e Luwero. Akwatiddwa ye Swaibu Ssemambo ow’e Kasana e Luweero nga kigambibwa nti abaddeko baaguze okumuttira munne Moses Kizito bwe bali mu business ya Haadiweya. Kigambibwa nti bano bombi, baliraanaganye mu buzinensi ku […]
Katikkiro asiimye Ssaabasajja okumuteekamu obwesige námuwa Ddamula
Bya Prossy Kisakye, Kamala byonna wa Buganda, Charles Peter Mayiga, asiimye Ssabasajja Kabaka, olwokumwesigisa Obwakatikkiro kwamaze emyaka kati 10 beddu. Okwogera bino asinzidde Bulange Mengo bwabadde asisinkanye abékika kyómutima ababadde bazze okumuyozayoza olwekuweza emyaka 10 nga akutte ddamula. Ono agamba nti emyaka 10 gyamaze ku […]
Museveni wakwogerako eri eggwanga Olunaku lwaleero
Bya Juliet Nalwooga, Pulezidenti Museveni akawungeezi ka leero asuubirwa okwogerako eri eggwanga ku nsonga z’ebyokwerinda n’ebirala ebikulu mu ggwanga Okwogera kwe kugidde mu kaseera nga abayeekera ba ADF bakalumba essomero mu disitulikiti ye Kasese ne batta abantu abasoba mu 40 ng’abasinga baali bayizi, n’okuwamba abalala […]
Embeera yámasomero e Kalungu yeeralikiriza
Bya Malik Fahad, Abatwala eby’enjigiriza, abakulembeze kwosa n’abazaddde mu disitulikiti y’e Kalungu bali mu kutya olw’omasomero ga gavumenti mu kitundu okuba mumbeera embi. Agamu kumasomero agali mumbeera enzibu lye lya Kamuwunga p/s ng’essaawa yonna ebizimbe by’essomero lino byalikuba abayizi. Amasomero amalala agali mumbeera embi mwemuli elya Nunda […]
Omusajja akase Mukazi omukwano ate námutta
Bya Prossy Kisakye, Poliisi mu disitulikiti yé Soroti ekutte omusajja agambibwa okuteeka mukaziwe ku mudumu gwe mmundu námukaka akabozi ate oluvanyuma namutta. Bino bibadde ku kyalo Arubela mugombolola ye Arapai mu disitulikiti eye Soroti. Owogezi wa poliisi mu bitundu bino, Oscar Ageca, atubuulidde nti omukwate […]
Abóludda oluvuganya bawadde Gavt ennaku 30 etegeke okulonda kwa Bassentebe
Bya Prossy Kisakye, Abakulembeze bóludda oluwabula gavumenti mu palamenti, bawadde gavumenti ennaku 30 ngéfunye ensimbi ezókutegeka okulonda kwa bassentebe bébyalo nóbukiiko bwa bakyala. Kino kiddiridde ekisanja kya bassentebe ba LC1 ne 11 okuggwaako nga 10th July. Akakiiko k’ebyokulonda kaalemereddwa okutegeka okulonda omwezi guno olw’ebbula ly’ensimbi. […]