Bya Ruth Anderah,
Ekitongole ky’ensi yonna ekivunaanyizibwa ku buzzi bw’emisango mu kkooti enkulu kiragidde kkampuni z’amasimu okuli eya Airtel Uganda ne MTN Uganda okubawa olukalala lwe ennamba z’essimu ezikubirwa agambibwa okuba omutujju ne bakubira.
Ekiragiro kino kiyisiddwa omulamuzi Richard Wejuli oluvannyuma lw’omuvunanwa Usufu Nyanzi okumumatiza nti ayagala ebiwandiiko by’essimu bimuyambe okwewozaako ku fayiro ssatu ez’enjawulo…
BYA FRED MUZAALE,
Ebyava mu kukeberebwa ku bulwadde obutta abantu obw’ekyama obwazuulibwa mu disitulikiti y’e Kayunga bisuubirwa olwaleero okuva mu kitongole ekinoonyereza ku kawuka ekya Uganda Virus Research Institute.
Sampo zaggyiddwa mu mirambo gy’abantu bana abaafudde mu bulwadde obw’ekyama ku kyalo Kayonjo mu Town Council y’e Busaana mu disitulikiti y’e Kayunga.
Akulira ebyobulamu mu disitulikiti y’e Kayunga, Dr.…
Bya Fred Muzale,
Abakkiriza e Kayunga abaali bazira okudda mu kanisa mwe bakwatira abaali benderamu ku kituti, bamaze ne bakomawo oluvanyuma lwokutukuzibwa.
Abakulisitaayo ba Bugonya Church of Uganda bebaali bakomba kwerima obutadda mu kanisa oluvanyuma lwokukwatiramu omusajja nga yeberese ku mukazi basinda omukwano ku katuuti ka mukama mu ssabiiti ewedde.
Bano kigambibwa nti bayita mu dirisa ne bagwa…
Bya Prossy Kisakye,
Abatunuulizi b’ebyokulonda basanyukidde ekiteeso kya Pulezidenti Yoweri Museveni eky’okutwala enkola y’okukozesa okulonda kw’ebyuma bikalimagezi mu kulonda okujja okwewala emize gyókubba akalulu.
Ekiteeso kya Museveni kiddiridde obuvuyo obwalabidde mu kalulu kókulonda omubaka wa palamenti owa Oyam North akaakaggwa nga kawanguddwa Dr. Eunice Apio owékibiina kya UPC.
Museveni yavumiridde effujjo elyakolebwa mu kulonda kuno era nalagira wabeewo…
Bya Juliet Nalwooga,
Akabenje akagudde okuliraana ekkumiro lye bisolo erya Murchison Game Park ku luguudo oluva e Karuma okudda e Pakwach enkya ya leero kasse abantu bana.
Nachuha Damali, addumira poliisi mu bitundu bya Aswa atutegeezezza nti ddereeva wa Toyota Noah ebadde etisse abasaabaze okuva e Lira okudda e Nebbi okwetaba ku mukolo gwokwanjula emulemeredde nga batuuse…
Bya Ruth Anderah,
Omulamuzi ku kkooti eya Buganda, Road Ronald Kayizzi yewaddeyo okukozesa sente ze akebeze ndagabutonde eza abasajja abaleetebwa mu kkooti ye nga basobeza ku baana abawala abatanetuuka ne babafunyisa embuto ate nebazegaana.
Omulamuzi Kayizzi ategeezezza kkooti nti kino kijja nakumuyamba okusala amazima mu misango jino ejisuuse obunji ensanji zino.
Omulamuzi ono era asazeewo obutawa bantu bwe bati…
Bya Prossy Kisakye,
Akakiiko ke ggwanga akakola kunsonga za bakyala aka Uganda National Women Council kagaanye ekiteeso kyababaka ba palamenti abaagala abakyala bawalirizibbwe okuliyirira abasajja n’ensimbi zebaba basaasaanyiza mu kukuza abaana abatali babwe
Kino kidiridde omuwendo gwa basajja abatwala abaana okukeberebwa endaga butonde, bakakase oba bebabazaalira ddala okweyongera kyokka ebisinga okuvaamu biraga nti abaana tebaba babwe
Faridah Kibowa…
Bya Prossy Kisakye,
Obubaka obukubagiza bukyagenda mu maaso n’okuyiiya eri abagenda z’omugenzi abadde omusubuuzi omututumufu Apollo Nyegamahe aka Aponye eyafiiridde mu kabenje k’emmotoka akawungeezi kajjo.
Mu baweereza obubaka kuliko ne sipiika wa palamenti, Anitah Among nga asaasidde abafamile, nayogera ku mugenzi ng’omusajja abadde omugezi enyo, ate omusanyufu era omukozi enyo.
Neggwandisizo lye kibiina kya NRM liweereza obubaka obwokusaasira…
Bya Bill Oketch,
Munnakibiina kya Uganda People’s Congress, Dr. Eunice Apio yeyawuse obuva ekifo kyómubaka wa Palamenti owa Oyam North Constituency.
Akakiiko akébyókulonda kalangiridde Dr. Apio oluvanyuma lwokuwangula okulonda okwabaddeyo olunaku lweggulo n’obululu 15,700 (49%) ate munne bwebeebadde ku mbiranye owa NRM Samuel Engola Jr Yafunye obululu 15,170 (47%).
Ekifo kya Oyam North kyasigala nga kikalu…
Bya Bill Oketch,
Abalonzi 93,000 babukeereza nkokola enkya ya leero okugenda okusuula akalulu kabwe mu kudamu okulonda omubaka wa palamenti akikirira abé Oyam North mu disitulikiti yé Oyam.
Okulonda kutandise ssaawa emu yennyini eyókumakya era kusuubirwa okufundikirwa ku ssaawa 11 ezólweggulo, wabula kutataganyizibwamu ekire kyénkuba ekedde okufudemba mu bitundu ebyénjawulo.
Abantu 9 bebalaga obwagazi mu kifo kino wabula…