Amawulire
Poliisi e Buikwe ekutte abasajja 3 besanze némmundu
Bya Abubaker Kirunda Poliisi e Buikwe eriko abantu basatu, betadeko obunyogoga oluvanyuma lwokubayimiriza ku luguudo lwa Jinja old bridge ne basangibwa ne mmundu mu kisawo. Omwogezi wa poliisi mu bitundu bye Ssezibwa Hellen Butoto, agambye nti bano okukwatibwa kidiridde loodi bulooka etereddwa ku luguudo luno. […]
Poliisi e Tororo ekutte omusajja eyasiyaze Omuvubuka
Bya Olivier Mukaaya, Poliisi e Tororo ekutte omusajja ow’emyaka 27 ku by’okusiyaga omwana ow’emyaka 16 gwabadde akozesa okumutundira wootameroni. Omukwate ategeerekese nga Emma omutuuze mu kibuga kye Tororo. Okusinzira ku kunonyereza omwana ono yagibwa mu maka ga bakaddebe ku kyalo Nyangole, Emma naamusaba okugenda naye […]
Gavt eyimiriza okuteekesa munkola namba puleeti eza Digito
Bya Busein Samilu, Gavumenti eyimiriza okuteekesa munkola enteekateeka empya eya namba puleeeti zébidduka eza digito. Enteekateeka eno ebadde erina kutandika olunaku lw’enkya, nga 1st july kati eyimiriziddwa oluvannyuma lw’ekiragiro ekivudde ewa kaliisoliiso wa gavumenti. Amawulire gano gakakasiddwa minisita ow’emirimu ne byentambula, Fred Byamukama, oluvannyuma lw’akampuni […]
Uganda ne EU baakukolera wamu okukuuma ebibira
Bya Ndaye Moses, Gavumenti ya Uganda n’omukago gwa Bulaaya ogwa European Union, leero batadde emikono kundagano eyokolera awamu okukuuma ebibira eby’ongera okukendeera mu ggwanga. Ebibalo ebigya okuva mu kibiina ky’Amawanga Amagatte ebyafulumizibwa mu ssaabiiti eno byalaze nti Afrika yafiirwa sukweya mailo 14,000 ez’emiti mu mwaka […]
Ababaka sibasanyufu kukya Gavt okutunda amasanyalaze e South Sudan
Bya Kevin Githuku, Ekya gavumenti okussa omukono ku ndagaano y’okutunda amasannyalaze mu ggwanga lya South Sudan tekisanyudde bakulembeze mu kitundu kya West Nile. Okusinzira ku minisita w’amasannyalaze Ruth Nankabirwa, endagaano eyassiddwaako omukono ku Lwokubiri egendereddwamu okutumbula ensuubulagana y’amasannyalaze wakati w’amawanga gombi n’okuleeta obulamu mu bibuga […]
Poliisi e Tororo ekutte abantu 5 ku by’okubba emmundu okuva ku Musirikale
Bya Daily Monitor, Poliisi mu disitulikiti y’e Tororo ekutte abantu bataano abateeberezebwa okuba abamenyi b’amateeka abeekuusa ku kunyaga emmundu okuva ku musirikale wa Poliisi, Godfrey Ojiambo eyeegattira mu kibiina kya VIPPU (CT) ku nsalo y’e Malaba wansi w’ekitongole ekiwooza ky’omusolo ekya Uganda Revenue Authority. Poliisi […]
Abaziggu basse omukuumi kusundiro ly’amafuta e Mubende
Bya Gertrude Mutyaba, Abazuggu abatanategerekeka balumbye esundiro lyamafuta erya Bamukisa filling station e Kalonga mu district ye Mubende ne babba era nebaleka nga n’omukuumi wesundiro lino attidwa mu kiro ekikeseza olunaku olwaleero. Okusinzira ku batuuze obulumbaganyi buno bwabadewo nga obudde bukya wakati wa saawa kumi […]
Omulangira Nakibinge asabye Gavt ku by’obutebenkevu
Bya Prossy Kisakye, Omulangira Kassim Nakibinge akulira obusiraamu mu Uganda asabye gavumenti okugumya bannansi ku by’okwerinda, oluvannyuma lw’obulumbaganyi obwakolebwa e Kasese gyebuvuddeko aba Allied Democratic Forces (ADF) abantu 43 ne bafiirwa obulamu bwabwe. N’effujjo ly’emmundu ery’eyongedde mu bitundu eby’enjawulo wa ggwanga ayagala likwatibweko. Bwabadde ayogerako […]
Minisita Katumba yenyamidde olw’ebikolwa eby’obutujju
Bya Diphas Kiguli, Minisita w’ebyenguddo n’entambula mu ggwanga Gen. Edward Katumba Wamala alaze okunyolwa olw’ebikolwa ebyekko ebigenze mu maaso mu ggwanga mu bitundu eby’enjawulo era nasaba abaddu ba Allah okusabira ennyo eggwanga emirembe gyeyongere okubukala. Gen. Katumba asinzidde ku muzikiti omukulu e Mukono ogwa Masjid […]
Mufti Mubajje avumiridde obulumbaganyi ku Bayizi e Kasese
Bya Prossy Kisakye, Olunaku olwaleero Abasiraamu wonna munsi lwebakuziza Iddi eyókusala ebisolo. Ku muzikiti gwa Gadafi ku Old Kampala okusaala kukulembedwamu Mufti wa Uganda, Sheikh Shaban Mubajje. Bwabadde awa obubakabwe obwa iddi, Mubajje avumiridde obulumbaganyi bwa bayekera ba ADF obwakolebwa e Kasese, Ono mungeri yemu […]