Amawulire
Mufti Galabuzi asabye gavt okulwanyisa obutali butebenkevu
Bya Prossy Kisakye, Supreme Mufti Sheikh, Mohammed Galabuzi asabye gavumenti okulwanyisa obutali butebenkevu obweyongera mu ggwanga. Bino abyogedde bwabadde atuusa Oobubakabwe obwa Iddi ku muzikiti e Kibuli enkya ya leero. Sheikh Galabuzi agamba nti tewali muntu yenna mu Uganda alina obukuumi kati olw’effujjo ery’emmundu n’obulumbaganyi […]
Kabaka ayagaliza Abasiraamu Iddi ennungi
Bya Prossy Kisakye, Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi II asabye Abasiraamu okukozesa ebikujjuko bya Eid eby’enkya okusabira amaka n’emyoyo gya Bannayuganda bonna abafiira mu mbeera etategeerekeka mu biseera ebiyise. Kabaka okusinga asabye Abasiraamu okusabira emyoyo gy’abantu abasoba mu 40 abaafiirwa obulamu bwabwe mu bulumbaganyi […]
Abayizi e Kamuli beekalakaasiza lwábasomesa abakyusibwa
Bya Abubaker Kirunda, Abayizi kusomero lya St. Paul Mbulamuti senior secondary school e Kamuli bali mu kwekalakaasa nga bawakanya ekyokukyusa abasomesa babwe. Abayizi banenya omukulu wessomero lino okuba nti yali emabega wentakteeka ezokusengula abasomesa babwe. Abayizi bano okwekalakaasa kwabwe bakutademu efujjo bagadde geeti ye somero okukasuka amayinja […]
Aba KACITA bakubiriza abasuubuzi obuteetaba mu kwekalakaasa olunaku olwénkya
Bya Prossy Kisakye, Ekibiina ekigatta abasuubuzi mu ggwanga ekya Kampala City Traders Association-KACITA, kisabye bammemba baakyo okwetoloola eggwanga obutenyigira mu kwekalakaasa okutegekeddwa nga bawakanya emisolo emingi. Enkya ya leero wabaddewo ekiwandiiko ekisaasaanyiziddwa ku mikutu gya yintaneeti nga kisaba Abasuubuzi okwenyigira mu kwekalakaasa okw’emirembe enkya nga […]
Gavt esabiddwa okwetegereeza ekivaako Abayekera okulumbanga e Kasese
Bya Rita Kemigisa, Munnamaggye eyawumula Maj. Rubaramira Ruranga asabye gavumenti okulowooza ku ky’okwekenenya ennyo ekizibu ky’e Kasese etegeere lwaki Abayekera ba ADF kibanguyira nyo okukola obulumbaganyi mu kitundu ekyo. Kino kiddiridde obulumbaganyi obwaliwo nga 16th June ku ssomero lya Mpondwe Lhubiriha secondary school nga bwaleka […]
Omuntu omu akwatibwa ku ttemu eryakolebwa ku bantu 5 abénju emu e Masaka
Bya Gertrude Mutyaba, Omuntu omu agombedwamu obwala ku by’okutta abantu bataano nga bonna banjo emu e Masaka. Abagenzi baalumbwa abatemu abatanategerekeka mu kiro ekyakeesa olwomukaaga ku kyalo Kijonjo, mu ssaza ly’e Buwunga mu disitulikiti y’e Masaka. Omubaka wa gavumenti atuula e Masaka, Teopista Ssenkungo ategeezeza […]
Abattemu balumbye Famile ne batta abantu bataano
Bya Malik Fahad, Poliisi e Masaka etandise okunoonyereza ku mbeera abantu abatannategeerekeka mwe balumbye famire ne batta abantu bataano. Abafudde ye ssemaka, Emanuel Mutesasira57, ne mukyala we Proscovia Ndagano 52, bazzukulu baabwe, okuli Nakavuma 13, Nakasagga shifan 5, Kayemba ow’emyaka 2 ne kitundu. Bino bibadde […]
Poliisi ekutte abantu abalala 3 ku bulumbaganyi bwé Kasese
Bya Joel Kaguta, Poliisi e Kasese ekutte abakungu basatu ab’oku ntikko mu by’enjigiriza okuyambako poliisi mu kunoonyereza ku bulumbaganyi bw’abayeekera ba ADF bwebakola ku ssomero lya Mpondwe-Lhubiriha Secondary School ne mufiiramu abantu 43. Omwogezi wa Poliisi mu Uganda, Fred Enanga yakakasizza okukwatibwa kwa bano olunaku […]
Omuwendo gwábasawo munsi yonna gwakukendera wetunatukira 2023
Bya Prossy Kisakye, Ekibiina kye byobulamu ekyensi yonna ki World Health Organization kirabudde nti wetunatukira 2030, ensi egenda kuba ne bbula lya basawo ba bukadde 10 olwembeera mwebakolera kati embi nómusaala omutono ogubamalamu amaanyi, Ekibiina kino kigamba nti amawanga mangi gatandise okufiirwa abasawo olwembera embi […]
Omukozi wa waka eyasobya ku mwana wa mukamaawe asindikibwa e Luzira
Bya Ruth Anderah, Omuwala Omukozi w’awaka ow’emyaka 25 asindikibwa e Luzira ku bigambibwa nti yasobya ku mwana wa bboosi ow’emyaka 4. Omusango guno gubadde gwa kuwulirwa olwaleero kyokka ne gwongezebwayo olw’obutabaawo muwaabi wa gavumenti. Kiiza Alice alabiseeko mu maaso g’omulamuzi wa kkooti enkulu Isaac Muwata […]