Amawulire

Omusinga wé Rwenzururu ayogedde ku bulumbaganyi kussomero e Kasese

Omusinga wé Rwenzururu ayogedde ku bulumbaganyi kussomero e Kasese

Ivan Ssenabulya

June 20th, 2023

No comments

Bya Daily Monitor, Omusinga wé Rwenzururu Charles Mumbere ayogedde ku bulumbaganyi obw’akolebwa kussomero e Kasese, agamba embeera eno yabamenye nyo emitima nókubakuba ekiyongobero ekitagambika. Obulumbaganyi bwakoleddwa ku Lwomukaaga abayekera Allied Democratic Forces ku ssomero lya siniya e Mpondwe ne batta abantu abasoba mu 40 ng’abasinga […]

Abébyókwerinda e Kasese bakutuula leero bateese ku bulumbaganyi obwakolebwa ku bayizi

Abébyókwerinda e Kasese bakutuula leero bateese ku bulumbaganyi obwakolebwa ku bayizi

Ivan Ssenabulya

June 19th, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye, Abakulembeze b’ebyokwerinda e Kasese baakusisinkana olunaku lwa leero ne bassentebe ba disitulikiti zonna mu bugwanjuba bweggwanga oluvannyuma lw’obulumbaganyi obwasse abantu ku ssomero lya Lhubiriha secondary school. Obulumbaganyi obwabaddewo ku Lwomukaaga bwafiiriddemu abayizi 37 n’abantu abalala bataano nga kiteeberezebwa nti bwakoleddwa bayekera ba […]

Museveni alagidde amaggye gongerwe okuyiibwa kunsalo okulwanyisa Abayekera

Museveni alagidde amaggye gongerwe okuyiibwa kunsalo okulwanyisa Abayekera

Ivan Ssenabulya

June 19th, 2023

No comments

Bya Andrew Bagala, Omukulembeze w’eggwanga YK Museveni alagidde okuyiwa amagye amalala ku nsalo ya Uganda ne DR Congo oluvannyuma lw’abayekera ba ADF okukola obulumbaganyi kussomero lya siniya mu Disitulikiti y’e Kasese ne batta abayizi 37. Pulezidenti mu kiwandiiko kyeyafulumiza yategeezezza nti abayeekera ba ADF balumbye […]

Museveni awonye ekirwadde kya Covid

Museveni awonye ekirwadde kya Covid

Ivan Ssenabulya

June 19th, 2023

No comments

Bya Rita Kemigisa, Pulezidenti Museveni alangiridde nti kati musajja wa ddembe oluvannyuma lw’ebyavudde mu kukeberebwa covid omulundi ogwókubiri okulaga nti takyalina kirwadde. Omukulembeze w’eggwanga abadde alwanagana nékirwadde kya covid19, yadde nga ekibiina kyébyóbulamu ekyensi yonna kyategeeza nti obulwadde buno tebukyali bwabulabe. Mu kiwandiiko kyeyafulumizza akawungeezi […]

Abayekera ba ADF basse abayizi 25 e Kasese

Abayekera ba ADF basse abayizi 25 e Kasese

Ivan Ssenabulya

June 17th, 2023

No comments

Bya Joel Kaguta, Abayekera ba ADF bakoze obulumbaganyi kusomero lya Lhubirira ss erisangibwa e Mpondwe mu disitulikiti eye Kasese nebatta abayizi 25 nábabala bangi basigadde ku bisago. Obulumbaganyi buno okusinzira ku poliisi bukolebwa ku ssaawa nga taano ezekiro kya leero. Abayekera ba ADF basoose kutta […]

Mpuuga asomoozeza Nabbanja

Mpuuga asomoozeza Nabbanja

Ivan Ssenabulya

June 16th, 2023

No comments

Bya Rita Kemigisa, Omukulembeze w’oludda oluvuganya gavumenti mu Palamenti Mathias Mpuuga alumirizza Ssaabaminisita Robinah Nabbanja okweteeka mu butaala mu ngeri gy’akwatamu emirimu gya gavumenti. Mpuuga okwanukula kiddiridde olunaku lumu nga Nabbanja akyalidde eddwaliro ly’e Kawolo mu disitulikiti y’e Buikwe, okunenyezza ab’oludda oluvuganya gavumenti okukuma omuliro […]

Omusango gwóbulyake oguvunanibwa Nandutu tegugenze mu maaso

Omusango gwóbulyake oguvunanibwa Nandutu tegugenze mu maaso

Ivan Ssenabulya

June 16th, 2023

No comments

Bya Ruth Anderah, Omusango gw’obuli bw’enguzi oguvunaanibwa minisita omubeezi ow’ensonga z’e karamoja Agnes Nandutu tegugenze mu maaso nókuwulirwa olunaku olwaleero. Kino kiddiridde oludda oluwaabi olukulembeddwamu David Bisamunyu, okutegeeza kkooti nti abajulizi abakulu mu musango guno bali mu kaduukulu mu kkomera e Luzira. Kubano kuliko; personal […]

Bannakyewa basabye Gavt ku mateeka agakuuma abaana

Bannakyewa basabye Gavt ku mateeka agakuuma abaana

Ivan Ssenabulya

June 16th, 2023

No comments

Bya Malik Fahad, Nga Uganda olunaku lwa leero yegasse kunsi yonna okukuza olunaku lwómwana wómudugavu, bannakyewa abali mu kulabirira abaana basabye govumenti enteeke munkola amateeka agaliwo mukukuuma eddembe ly’abaana. Bano nga bakulembedwamu ekibiina ki Child restoration outreach (CRO) e Masaka, akikulira Addah Nkorenta, agambye nti […]

Gavt esabiddwa okuteekawo enkola eneeyamba mu kutunda ebyámaguzi ebweru

Gavt esabiddwa okuteekawo enkola eneeyamba mu kutunda ebyámaguzi ebweru

Ivan Ssenabulya

June 16th, 2023

No comments

Bya Ndaye Moses, Abakugu mu by’enfuna basabye gavumenti okukola enteekateeka enzijuvu egenda okuwa ebibangirizi by’amakolero ebyakatondeddwawo amaanyi okufulumya ebintu ebigenda okutwalibwa ebweru w’eggwanga. Dr Fred Muhumuza, omusomesa w’ebyenfuna mu yunivasite y’e Makerere era nga ye muwi w’amagezi ku nkulaakulana agambye nti ekituufu Bannayuganda ne govt […]

Ababaka beemulugunyiza kunsimbi entono ezateereddwa mu byénjigiriza

Ababaka beemulugunyiza kunsimbi entono ezateereddwa mu byénjigiriza

Ivan Ssenabulya

June 16th, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye, Abamu ku babaka ba palamenti beemulugunyiza kunsimbi entono ezatekebwa mu byenjigiriza bye ggwanga lino mu mbalirira yomwaka gwe byensimbi ogujja. Bano bagamba nti yadde nga ku mulundi guno ebyenjigiriza byayongeddwa ensimbi okuva ku butabalika 5.2 okudda ku butabalika 5 nobuwumbi 500, ebintu […]