Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Amawulire

Abalwanirira ebyóbulamu balabudde kukyókusala kunsimbi zébyóbulamu mu Mbalirira

Bya Mike Sebalu, Abalwanirizi b’eddembe ly’ebyobulamu balabudde ku kabi eggwanga ke lyolekedde olw’okusala ennyo ku mbalirira y’ebyobulamu nga bwe kirabibwa mu mwaka gw’ebyensimbi ogujja ogwa 2023/24. Okusinziira ku mbalirira y’omwaka gw’ebyensimbi 2023/24, ensimbi eri ebyobujjanjabi obusookerwako zasaalibwako obuwumbi 3.483 okuva ku buwumbi 751.822 ezagerekebwa mu mwaka gw’ebyensimbi gwetufundikira. Peter Echweru okuva mu kitongole ekivunaanyizibwa ku by’obulamu, eddembe ly’obuntu…

Read More

Ababaka ba Palamenti Abakyala bagamba Bajeti eno tegenda kuyamba Bannaku

Bya Prossy Kisakye, Ababaka ba palamenti abakyala wansi w’ekibiina kyabwe ekibagatta ki Uganda Women Parliamentary Association-UWOPA bagamba nti embalirira y’omwaka gw’ebyensimbi ogujja eyinza obutagasa munnauganda owa wansi. Mukwogerako eri bannamawulire mu Kampala nga bakulembeddwamu omubaka omukyala owa disitulikiti y’e Kyegegwa, Flavia Kabahenda, ababaka bano bavumirira eky’okusala ku mbalirira mu by’obulamu, omuli ensimbi eziweebwayo mu mbalirira y’ekitongole kya…

Read More

Embalirira yéggwanga eya 2023/2024 esomwa leero

Bya Rita Kemigisa, Minisita w’ebyensimbi olwaleero asuubirwa okusoma mu butongole embalirira y’eggwanga ngembalirirwamu obutabalika 52 nóbuwumbi 7 eyómwaka gw’ebyensimbi 2023/2024. Okusinziira ku balondoola ebyenfuna mu ggwanga lino, embalirira eyayisibwa palamenti nga May 18 erabika nga nnene ku mpapula, obuwumbi 21.4 ziteekeddwa ku nsaasaanya, nga zino zikwata ku bintu ng’emirimu gy’eggwanika egyaweereddwa obuwumbi 18 n’obukadde 900,okusasula obusiimo bwábakozi…

Read More

Poliisi e Kassanda etandise okunonyereza ku Mukazi eyakubiddwa amasasi

Bya Barbara Nalweyiso, Poliisi e Kassanda etandise okunonyereza kutemu eryakolebwa ku mukazi ategerekese nga Kisangani Jolesi wa myaka 35. Omukazi ono yakubiddwa masasi agamugye mu budde ku kyalo Katuugo. Omwogezi wa poliisi mu bitundu bye Wamala, Racheal Kawala, akakasiza ettemu lino era agamba okunonyereza okusoose kulaga nti yalumbiddwa mu bbaala mweyabadde akolera ne bamukanda ensimbi zeyabadde talina kwekumukuba…

Read More

Bannauganda basabiddwa okukomya ebikolwa byonna ebirumya abakadde

Bya Prossy Kisakye, Nga Uganda etegeka okwegatta ku nsi yonna okukuza olunaku olw’okumanyisa abantu ku kutulugunyizibwa kw’abakadde olunaku lw’enkya, Bannayuganda basabiddwa okukomya okutulugunya abakadde mu ngeri yonna. Olunaku luno lukozesebwa okulaga n’okumanyisa abantu ku ddembe ly’abakadde, okujjukira n’okusiima omulimu gwe bakola mu kukulaakulanya eggwanga. Bwabadde ayogerako eri bannamawulire mu Kampala, minisita w’eggwanga avunaanyizibwa ku bakadde, Dominic Mafwabi Gidudu…

Read More

Museveni takyalina bubonero bwa kirwadde kya Covid-19

Bya Rita Kemigisa, PULEZIDENTI Museveni ategezeza nga obubonero obubadde bulaga ekirwadde kya Covid19 ekyamuzingako bwe bugenze. Mu kiwandiiko kyeyafulumizza ku mukutu gwe ogwa Twitter akawungeezi akayise, pulezidenti yategeezezza nti teyandigenze mu kweyawula singa ebyava mu musaayi ku Ssande byali bisanyusa. Omukulembeze w’eggwanga agumizza Bannayuganda nti kati ali bulungi era nga tali mumbeera mbi nga bangi bwebabadde balumiriza era…

Read More

Gavt Omusinga Wesley Mumbere emugyeko emisango

Bya Ruth Anderah, Gavumenti eggye emisango gy’obutujju egyali gyatekebwa ku Musinga wé Rwenzururu Charles Wesley Mumbere, n’abalala 217. Gavumenti wabula, esazeewo okuvunaana Ssaabaminisita w’o Businga bw’e Rwenzururu Thembo Kasubire ne Mashereka Kamada. Omulamuzi Alice Komuhangi okuva mu ekitongole kya International Crimes Division mu kkooti enkulu alagidde nti abali ku limanda mu kkomera e Jinja, e Luzira n’abali ku…

Read More

Onebe yeegaanye ebyókutta eyali Mukyalawe

Bya Ruth Anderah, Omubalirizi w’ebitabo omukulu, Francis Onebe yeegaanyi okutta eyali mukyala we Immaculate Mary Blessing Onebe ng’oludda oluwaabi bwe lulumiriza. Onebe ow’emyaka 62 alabiseeko mu maaso g’omulamuzi wa kkooti enkulu Michael Elubu amusomedde omusango gw’obutemu n’agwegaana. Ono avunaanibwa wamu ne Bonny Oriekot ow’emyaka 26, omukuumi eyeegattira mu kkampuni ya Pentagon Security Company. Kigambibwa nti Immaculate Onebe yatemulwa mu…

Read More

Sseduvutto e Iganga agombedwamu obwala

Bya Abubaker Kirunda, Omusajja ow’emyaka 70 mu disitulikiti y’e Iganga asimattuse okuttibwa abatuuze ku kyalo Mutkura mu munisipaali y’e Iganga abanyiize olw’ebigambibwa nti yakabasanya omwana omuto ow’emyaka 7. Ono omukozi w’embaawo mu kitundu kino era kigambibwa nti yawadde omwana Shs200 naamusaba ayingire mu kisenge kye gyebamusoberezaako. Kansala w’ekitundu kino Abasi Sajjabi eyatuuse mu budde yataasiza omusajja ono okuva…

Read More

Abateberezebwa okuba abamenyi bámateeka e Jinja 30 bakwatibwa

Bya Abubaker Kirunda, Poliisi ekutte abantu amakumi asatu abateeberezebwa okutigomya abatuuze mu kibuga kyé Jinja. Bano bakwatibwa mu kikwekweto ekikolebwa e Kakira ku luguudo oluva e Jinja okudda e Iganga bwebadde bagenda okuziika munnaabwe eyafudde mu disitulikiti y’e Bugweri. Omwogezi wa poliisi mu bitundu by’e Kiira, James Mubi ategeezezza nti abakwate babadde batambulira mu mmotoka ekika kya omnibus. Anyonodde…

Read More