Amawulire
Ababaka ku ludda oluvuganya banenya Museveni olw’okulemerwa okuweereza Bannauganda
Bya Prossy Kisakye, Nga bannauganda balindiridde okwogera kw’omukulembeze w’eggwanga akawungeezi ka leero, abamu ku babaka ba palamenti abali ku ludda oluvuganya, banenyeza pulezidenti Museveni, olwembeera y’eby’okwerinda ne by’enfuna mu ggwanga etali nnungi songa tewali kyakozeewo. Omubaka wa Nansana municipaali, Wakayima Musoke ayagala omukulembeze weggwanga leero […]
Abajaasi ba UPDF abaadduka Abatujju e Somalia babadde banywa Musulo okubaawo
Bya Daily Monitor, Abajaasi ba UPDF abaasimattuka olulumba lwábatujju nga May 26th ku beesi yaabwe e Somalia gye baddukira okwekukuma bamazeeyo ennaku 6 nga banywa omusulo gwabwe okusobola okutaasa obulamu. Omwogezi w’amagye ga UPDF, Brig Felix Kulayigye agamba nti abajjaasi bano basangiddwa nga banafu naye […]
Aba DP bagala Museveni mu kwogerakwe ajje n’ekyókudamu ku biruma bannauganda
Bya Prossy Kisakye, Ab’oludda oluvuganya gavumenti aba Democratic Party baagala Pulezidenti Museveni ayogereko eri eggwanga ku nsonga ez’amangu ezikosa eggwanga. Pulezidenti w’ekibiina kya Uganda Young Democrats, ekiwayi ky’abavubuka mu kibiina kya DP, Ismael Kirya, ayagala Museveni akole ku mpeereza y’ebyobulamu n’ebyenjigiriza egenda esereba mu ggwanga […]
Museveni wakwogerako eri palamenti leero
Bya Rita Kemigisa, Pulezidenti Museveni olwaleero agenda kwogerako eri palamenti ku mbeera eri mu y’eggwanga. Omukolo guno gugenda kubeera mu kisaawe k e Kololo okutandika ku ssaawa munaana ezakawungeezi. Okwogera kwa pulezidenti kujjidde mu kiseera nga Bannayuganda babonaabona n’obuzibu mu by’enfuna ng’ebbeeyi y’ebintu ekyali waggulu. […]
Munnakatemba Kato Lubwama afudde
Bya Prossy Kisakye, Eyaliko omubaka wa Palamenti akikirira aba Rubaga South, era munnakatemba era omuyimbi, Kato Lubwana mukama amujjuludde mu bulamu bwensi eno. Okusinziira ku pulomoota w’ebivulu Andrew Mukasa, aka Bajjo, Kato afudde ku ssaawa nga 9 nga bukya mu ddwaaliro lya Stana Medical Center […]
Eddwaliro Entebbe, Naguru ne Poliisi ya CPS basaliddwako Amazzi lwa bbanja
Bya Kevin Githuku, Ekizibu ky’amazzi kibutikidde eddwaliro lya gavumenti erya Entebbe Regional Referral Hospital oluvannyuma lw’ekitongole ky’amazzi okusalako amazzi olw’obukadde bwensimbi za Uganda 488 ezibabanjibwa. Kino kikosezza embyémpereza eri abantu nga obukadde busatu ne mitwalo 700 abajanjabibwa mu ddwaaliro lino okuva mu disitulikiti mukaaga. Richard […]
Poliisi e Luuka ekutte omuvubuka abadde ayagala okutta bazaddebe yeddize ekibanja
Bya Abubaker Kirunda, Poliisi mu disitulikiti yé Luuka eriko omuvubuka atemera mu gyóbukulu 24 gwetadeko obunyogoga ku bigambibwa nti yagezezaako okutta bazadde be n’ekigendererwa eky’okutwala ettaka lyabwe. Ono mutuuze ku kyalo Nantamali mugombolola yé Ikumbya kigambibwa nti yayiye obutwa mu bijanjaalo nnyina byeyabadde afumba nga […]
Lukwago ayogedde kukusalawo kwábabaka ba NRM
Bya Prossy Kisakye, Munnamateeka w’omu kampala omututumufu eranga ye Loodi Meeya wa Kampala, Erias Lukwago, agamba nti okusalawo kw’ababaka ba Palamenti abava mu kibiina kya National Resistance Movement obutawagira bbago ly’etteeka lyonna erireetebwa omubaka kubwannannyini mu biseera eby’omu maaso mu kigendereddwamu kutiisa babaka ba palamenti. […]
Bannakyewa bawabudde ababaka ba NRM mu lutalo lwókulwanyisa enguzi
Bya Rita Kemigisa, Ekibiina kyóbwannakyewa ekirwanyisa obuli bw’enguzi mu ggwanga ki Anti-Corruption Coalition Uganda, kisoomoozezza ababaka ba palamenti abava mu kibiina kya NRM era nga bebasinga obungi mu palamenti okussaawo etteeka erinunula eby’obugagga ebiba bibbiddwa abanene mu gavumenti bwekiba nti ddala beetegefu okuyambako mu kulwanyisa […]
Omufere agombedwamu obwala
Bya Ruth Anderah, Omusajja agambibwa okujja obukadde bwénsimbi za uganda busatu ng’amulimba nti amutwaala munsi ya Quarter agombeddwamu obwaala. Ssewanyana Hudson nga mutuuze we Kyengera asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi we daala erisooka ku Buganda Road Fidelis Otwao amusomedde omusango gw’obuffere nagwegaana. Wabula oluvanyuma lw’okwegaana omusango […]