Amawulire
Abalamazi okuva e Jinja abasoba mu 6000 batuuse ku kiggwa kyábakatoliki e Namugongo
Bya basasi baffe, Ekibinja kyábalamazi abasoba mu 6000, abagenda okukulemberamu emikolo ekyokujaguza abajjulizi ba Uganda, ku biggwa bya bajjulizi oludda olwa bakatoliki e Namugongo, abéssaza lye Jinja batuuse munfo. Bano nga bakulembedwamu omusumba Martin Lwamika,baasimbula ku lunaku lwa bbalaza nga batambulidde ennaku 3 mu kilo […]
Abalwanirira abalina akawuka batidde olwétteeka ku Basiyazi
Bya Rita Kemigisa, Abalwanirira abantu abawangala nakawuka ka mukenenya batidde nti etteeka eppya erirwanyisa obuli bwe bisiyaga mu ggwanga ligenda kufeebya ebibadde bitukidwako mu kawefube wokulwanyisa akawuka ka siriimu wetunatukira mu mwaka gwa 2030. Eggulo, mu kiwandiiko eky’awamu, ebibiina bisatu ebikulembedde mu nsi yonna mu […]
Gavt esoomoozezza amawanga ga Africa kuntambula yényonyi
Bya Prossy Kisakye, Gavumenti ya Uganda esoomoozezza amawanga ga Africa okukola ku kusoomoozebwa okuliwo kati mu kwetanira entambula y’ennyonyi. Minisita w’emirimu n’entambula Gen Edward Katumba Wamala agamba nti kiruma okusinziira ku budde Omufirika bw’ayonoona okugenda e Bulaaya. Yakkaatirizza obwetaavu bw’ennyonyi za Afrika okuleetawo okutambula mu […]
Omukulembeze wa America avumiridde ekya Museveni okusa omukono ku Tteeka
Bya Rita Kemigisa, Etteeka ku kulwanyisa obuli bw’ebisiyaga mu ggwanga likyagenda mu maaso n’okwongeza bannauganda n’abazungu ebitakwatagana. Etteeka eryateekebwako omukono omukulembeze weggwanga liwa ekibonerezo ekyokufa eri omuntu yenna asingisibwa omusango gwokusiyaga omwana atenatuuka, omuntu aliko obulemu ku mubiri, oba okusiiga siriimu oba ekirwadde ekirala omuntu […]
Abagambibwa okuba ababbi bagombeddwamu obwala e Jinja
Bya Abubaker Kirunda, Abantu basatu bakwatiddwa ab’obuyinza ku kyalo Nakanyonyi mu Jinja city north Division nga bagambibwa okwenyigira mu kumenya amayumba. Ssentebe wa LC1 mu kitundu kino Henry Bukenya agamba nti abakwate be bamu ku bantu 15 abekolamu ekibinja ekibba bantu b’omu kitundu. Agamba nti […]
Ekanisa ya Uganda ewakanyiza ekibonerezo okuwanika omuntu ku kalabba mu tteeka empya
Bya Prossy Kisakye, Ekanisa ya Uganda eyaniriza omulimu ogukolebwa palamenti nómukulembeze weggwanga okulaba nti Uganda efuna etteeka erirwanyisa obuli bwebisiyaga wabula ewakanyiza ekibonerezo okyókuwanika omuntu kukalaba. Mu kiwandiiko ekyatereddwako omukono ssabalabirizi we kanisa ya Uganda, Dr. Stephen Samuel Kaziimba Mugalu, yagambye nti musanyufu kuba etteeka […]
Museveni atadde omukono ku Tteeka elikangula Abasiyazi
Bya Prossy Kisakye, Omukulembeze weggwanga Museveni amazze nateeka omukono ku bbago lye teeeka erikangavula abenyigidde mu buli bwebisiyaga. Mu mwezi ogwokuna omukulembeze weggwanga yagaana okuteeka omukono gwe ku tteeka lino nalagira lidde mu palamenti liddemu okwetegerezebwa nga agamba nti obumu ku buwayiro bwali bwetaaga kukolebwamu […]
Abalamazi basabiddwa okugoberera amagezi g’abébyókwerinda mu kusomoka Katonga
Bya Gertrude Mutyaba ne Prossy Kisakye, Abalamazi abakozesa oluguudo oluva e Masaka-Kampala basabiddwa okugondera ebiragiro bya poliisi nga basomoka olutindo ku mugga Katonga olwa kaseera olwatereedwawo basobole okutuuka gye balaga. Ekitongole kye byenguudo ekya Uganda akawungeezi kajjo kyakakasiza nga bwebazimbyewo olutindo lwa batambuza ebigere okusobozesa […]
Akakiiko ké byénjigiriza kakunonyereza ku Masomo agatakkirizibwa
Bya Damali Mukhaye, Akakiiko ka Palamenti akavunaanyizibwa ku by’enjigiriza n’emizannyo olwaleero kagenda kutandika okwekenneenya ebigambibwa nti amattendekero ga yunivasite mu Uganda aga gavumenti nag’obwannannyini gasomesa abayizi amasomo agaayitako. Emikutu gy’amawulire wiiki eno gyafulumiza amawulira agalaga nti bannayuganda abalina diguli abatwala okusaba kwabwe munsi endala okweyongerayo […]
UNRA etaddewo olutindo lwékiseera e Katonga
Bya Rita Kemigisa, Ekitongole ekivunanyizibwa ku byenguudo mu ggwanga ki Uganda National Roads Authority (UNRA) kitadewo olutindo olwa kaseera ku mugga Katonga okulaba nti abalamazi abalina okukozesa oluguudo lwa Masaka-Kampala basomoka. Kino kidiridde ekibinja kya balamazi 75 okuva mu kigo kye Kakoma e Isingiro okukonkomalira […]