Bya Damali Mukhaye,
Minisitule yébyenjigiriza leero esuubirwa okwanja eri ababaka mu lukiiko lweggwanga olukulu ekiwandiiko ekijjuvu ku masomo agagwako agasomesebwa abayizi ku yunivasite.
Kino kidiridde amyuka sipiika Thomas Tayebwa akawungezi kajjo okuteeka minisitule ku nninga eveeyo etangaze eggwanga kunsonga.
Mukwogerako eri ababaka, Tayebwa yategeezezza nti emboozi ekwata ku misomo ne pulogulaamu ezisoba mu 2200 ezisomesebwa mu matendekero ga…
Bya Damali Mukhaye,
Akakiiko akavunanyizibwa ku byénjigiriza ebyawaggulu mu ggwanga aka National Council for Higher education, kavudeyo kunsonga za yunivasite ezisomesa abayizi amasomo agayitako.
Akakiiko kawedde yinivasite zonna mu ggwanga ezisomesa amasomo gano okutereeza ensobi mu bbanga lya myezi 6 gyokka.
Akakiiko era lugumizza abayizi abamaze diguli n’abazadde nti ebisaanyizo ebyebafuna mu masomo gonna…
Bya Getrude Mutyaba,
Abalamazi okuva mu Kigo kye Kakoma mu disitulikiti ye Isingiro abawerera ddala 75 bakonkolamidde ku mugga Katonga oluvannyuma lw’okusanga nga tebalina webayita.
Bano bagamba bavudde ku Kigo e Lukaya nga bolekera Mitala Maria nga balowooza waliwo ab’ebigere webayita wabula kibabuuseeko okusanga ekkubo nga liteereddwamu emisanvu nga mpaawo akkirizibwa kujiyitako.
Abalamazi betusanze nga bagalamidde mu luguudo…
Bya Damali Mukhaye,
Amattendekero agawaggulu wonna mu ggwanga gewolereza ku masomo agayitako ge basomesa abayizi ensagi zino.
Amasomo gano galambikiddwa ku mutimbagano gwa kakiiko akavunanyizibwa ku byenjigiriza ebyawaggulu mu ggwanga aka National Council for Higher Education (NCHE).
Abamu ku bakulira University zino mu kwogerako naffe bagambye nti amasomo gabwe tegayitako nga bwe bigambibwa abakakiiko ate abalala banenya akakiiko…
Bya Prossy Kisakye,
Ssentebe w’akakiiko ka Palamenti akéby’obulamu ku bwongo bwantu, Geoffrey Macho asabye gavumenti buli luvannyuma lwa myezi esatu wabeewo okukeberebwa kw’ab’ebyokwerinda n’abantu bonna ssekinnoomu abalina emmundu.
Okwogera bino kiddiridde effujjo ly’emmundu erigenda mu maaso mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo nga lino liviriddeko bannayuganda abawerako okuli ne minisita Engola okuttibwa ate abalala ne balumizibwa.
Macho agamba nti kino…
Bya Prossy Kisakye,
Akulira ekibiina ki National Unity Platform Robert Kyagulanyi Ssentamu akuutidde abavubuka mu kibiina kye okwewala obusosoze obwesigamiziddwa ku mawanga n’eddiini olw’okulakulanya ekibiina n’okukiyamba okutuuka ku biruubirirwa.
Kyagulanyi agamba nti enjawukana mu ddini n’amawanga zizza ekibiina mabega na kukifeebya.
Okwogera bino yasinzidde ku kitebe ky’ekibiina mu lukungaana lw’abavubuka bannakibiina nategeea nti yenna ayagaliza eggwanga enkyukakyuka eza…
Bya Gertrude Mutyaba,
Poliisi e Masaka etandise okunonyereza ku maama eyasse mutabaniwe owemyaka 2 ate naye nayagala okwetuga avve munsi.
Omwana eyattibwa ategerekese nga Jonathan Okendi, ate maama ye Rehema Tebasuula,owemyaka 30 nga mutuuze Kabaale-Kisoso in Kimaanya-Kabonera division mu kibuga Masaka.
Kigambibwa nti nga May 21, muwala wómukyala ono omukulu owemyaka 13 yamusaba amutwale ewa kitaawe mu bitundu…
Bya Juliet Nalwooga,
Ebitongole by'eby'okwerinda bikwataganye okunonyereza ku bbaluwa eyawandikibwa abasirikale wansi wekibiina ki Tired Officers in Uniforms – Uganda (Afon) eyaweereddwa omubaka omukyala, owa Mityana district, Joyce Bagala nga bamusaba abawe obukadde 10 obwensimbi mu nnaku 3 oba si ekyo bakumukuba amasasi 4.
Bwabadde ayogerako eri bannamawulire ku kitebe kya poliisi e Naguru omwogezi wa poliisi…
Bya Mike Sebalu,
Abasawo ku mitendera egy’enjawulo abateeka wansi ebikola kati sabiiti ezisoba mu 3 nga bamemba mu Uganda Medical Association bakkanyizza okusigala nga bagenda mu maaso n’okwekalakaasa kwabwe okutuusa nga ensonga zabwe zikoleddwako.
Bano kuliko abebuzibwako abamanyiddwa nga ba-
Associate Consultants nga baagala gavumenti okutereeza ensobi eyakolebwa mu musaala gwe balina okufuna ekibaviirako okufuna obuswazi bw’omusaala.
Bano era…
Bya Prossy Kisakye,
Eyali yeesimbyewo ku bwa Pulezidenti Dr Kiiza Besigye alabiseeko mu kkooti yákakiiko akalwanirira eddembe lyóbuntu mu ggwanga aka Uganda Human Rights Commission ku bigambibwa nti yatyoboolebwako eddembe lye mu kulonda kwa 2016.
kkooti yákakiiko kano erimu bakamisona basatu ngékulirwa ssentebe w’akakiiko kano Mariam Wangadya.
Okwemulugunya kwa Besigye kukwataganamu nókwékibiina kye nsi yonna ekigaba ekisonyiwo ekya…