Amawulire
Akakiiko mu maka ga pulezidenti akalwanyisa enguzi kakutte 4 mu bitundu by’ekigezi
Bya Robert Muherezi. Akakiiko akalwanyisa enguzi mu maka g’omukulembeze w’eggwanga aka Statehouse Anti-Corruption Unit, kaliko abakozi ba district ez’enjawulo mu bitundu bya Kigezi 4 bekaakutte ku misango egykuusa kukozesa obubi offisi, okufiiriza gavumenti gattako okwenyigira mu kubulankanya ensimbi za gavumenti. Omwogezi wa Poliisi mu bitundu […]
Ssaabasajja Kabaka asiimye okuggulawo empaka z’amasaza ez’omwaka guno
Bya Mike Sebalu. Ssaabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi Ow’okubiri, asiimye okulabikako eri Obuganda bwanaaba aggulawo empaka z’amasaza ga Buganda nga 24 omwezi ogujja ogw’omukaaga. Yafuuka nkola empaka zino okuggulirwangawo mu ssaza eriba liwangudde omwaka oguba guyise era ez’omwaka guno zakuggulirwawo mu ssaza Busiro […]
Ssentebe wa district y’e Kyankwazi asumattuse akabenje
Bya Enock Matovu. Ssentebe wa district y’e Kyankwanzi John Mpuuga asumattuse akabenje motoka mwabadde atambulira bwetomereganye ne ekimotoka ekyettissi ky’emigugu ekika kya Benz mu bitundu ebya Busunju mu district eye Mityana. Ssentebe abadde atambulira mu motoka namba LG 0012-062. Motoka ya benze ebadde namba UAL […]
Palamenti eyisiza etteeka ku bidduka n’obukuumi bw’okunguudo
Bya Damali Muhkaye, Palamenti eyisizza ebbago ly’etteeka erifuga ebidduka n’obukuumi ku nguudo erya Traffic and Road Safety (Amendment) Bill, 2023. Mu tteeka lino poliisi yébidduka egoberera okulaba nti wabaawo ekkomo ku sipiidi abebidduka gyebakozesa kunguudo, era abatagondere tteeka lino bakutanzibwa okuyita mu ntekateeka eya Express […]
Sipiika asabye Gavt okutondawo akakiiko akavunanyizibwa ku Misaala gy’abakozi
Bya Prossy Kisakye, Okuttibwa kw’omuyindi, Uttam Bhandari, abadde akulira kampuni ewola ensimbi mu kibuga kampala kuleesewo okukubaganya ebirowoozo mu palamenti ku mbeera y’obw’obwongo bwantu, omusaala omutono n’amagoba agasukkiridde ba mane lenda gebabinika abeewozi. Sipiika wa palamenti Anita Among, asabye gavumenti okwanguyiriza okutondawo akakiiko akakola ku […]
Gavumenti yakuzimba obutale obulala 10 mu Kampala
Bya Mikse Sebalu. Minisita Omubeezi owa Kampala Kabuye Kyofatogabye ategeezeza nga gavumenti bwerina enteekateeka endala ey’okuzimba obutale obulala 10 mu bitundu by’ekibuga ebyenjawulo. Obutale buno bugenda kuzimbibwa mu buli division okukendeeza engendo banna kampala zebatambula okujja masekati ekiviirako akalipagano k’ebidduka n’omujjuzo gw’abantu mu Kibuga. Kabye […]
Gavumenti efunye sente z’okuzzawo olutindo lwa Katonga
Bya Damali Mukhaye. Gavumenti etegeezezza nga bwemaze okufuna ensimbi ezigenda okuyamba ekitongole ky’ebyenguudo ki Uganda National Roads Authority okuzzaawo oluguudo lwa Kampala Masaka olwawomogose mu bitundu ebya Katonga sabiiti ewedde olw’okubooga kw’amazzi mu kitundu ekyo. Minisita Omubeezi ow’eby’obusuubuzi David Bahati, ategeezezza nga ebisingawo ku nsimbi […]
Paalament eyise Minisita w’ensonga ez’omunda mu ggwanga ku ttemu ly’emmundu
Damalie Mukyaye. Waliwo ababaka ba Parliament abasabye Speaker okuyita mu bwangu Minisita ow’ensonga ez’omunda mu gwanga okujja annyonyole Parliament ku temu elikyase mu gwanga nga likolebwa bakuuma dembe. Basinzidde ku kuttibwa kwa kw’abadde Minisita Omubeezi ow’ensonga ez’abakozi Charles Okello Engola, ng’ono yattibwa mukuumi we Wilson […]
Abavunanibwa ogw’okutta Nagirinya ne dereeva we batandika leero okwewozaako
Bya Ruth Anderah. Abantu 6 abagambibwa nti benyigira mu kutemula era nebatta omuwala Maria Nagirinya neyali dereeva we Ronald Kitayimbwa leero basuubirwa okukomezebwawo mu Kooti batandike okwewozaako. Kiddiridde omulamuzi wa Kooti Enkulu Isaac Muwata bano okubazuula nga balina eky’okuddamu oluvanyuma lw’okuyita mu bujulizi obwaleetebwa oluuyi […]
KCCA emenye likodi mu musolo ogukunganyizibwa
Bya Mike Sebalu. Ekitongole ki Kampala Capital City Authority, kitegeezezza nga omusolo kwekikungaanya gweyongedde okusinga emyaka gyonna egizze gibeerawo. Omusolo guno gutuuse ku buwumbi 93 n’obukadde 240 nga kwekweyongera n’ebitundu 16 ku 100. Mu myeezi 09 egiyise okuva mu mwezi gw’omusanvu omwaka 2022 okutuuka mu […]