Amawulire
Minisita Nandutu adda leero mu Kkooti
Bya Ruth Anderah, Okuwulira omusango oguvunanibwa minisita omubeezi owensonga ze Karamoja Agnes Nandutu ku bigambibwa nti yómu kubabulankanya amabaati agalina okujuna abawejere be Karamoja kudamu leero mu Kkooti ewozesa abalyake e Kololo. Omusango guli wansi womulamuzi Jane Kajuga. Nandutu mu kiseera kino ali ebweru wa […]
Gavt yakutangaza ku Masomo agaayitako eri Ababaka
Bya Damali Mukhaye, Minisitule yébyenjigiriza leero esuubirwa okwanja eri ababaka mu lukiiko lweggwanga olukulu ekiwandiiko ekijjuvu ku masomo agagwako agasomesebwa abayizi ku yunivasite. Kino kidiridde amyuka sipiika Thomas Tayebwa akawungezi kajjo okuteeka minisitule ku nninga eveeyo etangaze eggwanga kunsonga. Mukwogerako eri ababaka, Tayebwa yategeezezza nti […]
Akakiiko ka NCHE kagamba ensobi za Yunivasite ku masomo agaayitako
Bya Damali Mukhaye, Akakiiko akavunanyizibwa ku byénjigiriza ebyawaggulu mu ggwanga aka National Council for Higher education, kavudeyo kunsonga za yunivasite ezisomesa abayizi amasomo agayitako. Akakiiko kawedde yinivasite zonna mu ggwanga ezisomesa amasomo gano okutereeza ensobi mu bbanga lya myezi 6 gyokka. Akakiiko era lugumizza abayizi […]
Abalamazi okuva e Insingiro bakonkomalidde ku Katonga
Bya Getrude Mutyaba, Abalamazi okuva mu Kigo kye Kakoma mu disitulikiti ye Isingiro abawerera ddala 75 bakonkolamidde ku mugga Katonga oluvannyuma lw’okusanga nga tebalina webayita. Bano bagamba bavudde ku Kigo e Lukaya nga bolekera Mitala Maria nga balowooza waliwo ab’ebigere webayita wabula kibabuuseeko okusanga ekkubo […]
Yunivasite zeewolereza ku Masomo agaayitako g’ebasomesa Abayizi
Bya Damali Mukhaye, Amattendekero agawaggulu wonna mu ggwanga gewolereza ku masomo agayitako ge basomesa abayizi ensagi zino. Amasomo gano galambikiddwa ku mutimbagano gwa kakiiko akavunanyizibwa ku byenjigiriza ebyawaggulu mu ggwanga aka National Council for Higher Education (NCHE). Abamu ku bakulira University zino mu kwogerako naffe […]
Palamenti eyagala abakuuma ddembe nábalina emmundu bekebejebwe Obwongo
Bya Prossy Kisakye, Ssentebe w’akakiiko ka Palamenti akéby’obulamu ku bwongo bwantu, Geoffrey Macho asabye gavumenti buli luvannyuma lwa myezi esatu wabeewo okukeberebwa kw’ab’ebyokwerinda n’abantu bonna ssekinnoomu abalina emmundu. Okwogera bino kiddiridde effujjo ly’emmundu erigenda mu maaso mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo nga lino liviriddeko bannayuganda abawerako […]
Bobiwine akubiriza abavubuka okweyisa obulungi ku lwénkyukyuka
Bya Prossy Kisakye, Akulira ekibiina ki National Unity Platform Robert Kyagulanyi Ssentamu akuutidde abavubuka mu kibiina kye okwewala obusosoze obwesigamiziddwa ku mawanga n’eddiini olw’okulakulanya ekibiina n’okukiyamba okutuuka ku biruubirirwa. Kyagulanyi agamba nti enjawukana mu ddini n’amawanga zizza ekibiina mabega na kukifeebya. Okwogera bino yasinzidde ku […]
Omukazi e Masaka atuzze omwanawe n’amutta
Bya Gertrude Mutyaba, Poliisi e Masaka etandise okunonyereza ku maama eyasse mutabaniwe owemyaka 2 ate naye nayagala okwetuga avve munsi. Omwana eyattibwa ategerekese nga Jonathan Okendi, ate maama ye Rehema Tebasuula,owemyaka 30 nga mutuuze Kabaale-Kisoso in Kimaanya-Kabonera division mu kibuga Masaka. Kigambibwa nti nga May […]
Abébyókwerinda bakunonyereza kukutiisibwatiisibwa eri Ababaka
Bya Juliet Nalwooga, Ebitongole by’eby’okwerinda bikwataganye okunonyereza ku bbaluwa eyawandikibwa abasirikale wansi wekibiina ki Tired Officers in Uniforms – Uganda (Afon) eyaweereddwa omubaka omukyala, owa Mityana district, Joyce Bagala nga bamusaba abawe obukadde 10 obwensimbi mu nnaku 3 oba si ekyo bakumukuba amasasi 4. Bwabadde […]
Abasawo basazeewo okugenda mu maaso nákéddiimo kaabwe
Bya Mike Sebalu, Abasawo ku mitendera egy’enjawulo abateeka wansi ebikola kati sabiiti ezisoba mu 3 nga bamemba mu Uganda Medical Association bakkanyizza okusigala nga bagenda mu maaso n’okwekalakaasa kwabwe okutuusa nga ensonga zabwe zikoleddwako. Bano kuliko abebuzibwako abamanyiddwa nga ba- Associate Consultants nga baagala gavumenti […]