Amawulire

Kampala efunye Obutabalika 2.2 okukola ku bizibu byaayo mu Mbalirira yéggwanga

Kampala efunye Obutabalika 2.2 okukola ku bizibu byaayo mu Mbalirira yéggwanga

Ivan Ssenabulya

June 16th, 2023

No comments

Bya Juliet Nalwooga ne Rita Kemigisa Minsita owebyensimbi Minister Matia Kasaija afunye obutabalika 2 nobuwumbi 200 okukola ku mataba agatawanya ekibuga kampala buli nkuba bwetonya. Ensimbi zino era zakukola ku kumalawo akalipagano ke bidduka mu bitundu bya kampala ne miriraano. Bweyabadde asoma embalrira ye ggwanga […]

Abalwanirira ebyóbulamu balabudde kukyókusala kunsimbi zébyóbulamu mu Mbalirira

Abalwanirira ebyóbulamu balabudde kukyókusala kunsimbi zébyóbulamu mu Mbalirira

Ivan Ssenabulya

June 15th, 2023

No comments

Bya Mike Sebalu, Abalwanirizi b’eddembe ly’ebyobulamu balabudde ku kabi eggwanga ke lyolekedde olw’okusala ennyo ku mbalirira y’ebyobulamu nga bwe kirabibwa mu mwaka gw’ebyensimbi ogujja ogwa 2023/24. Okusinziira ku mbalirira y’omwaka gw’ebyensimbi 2023/24, ensimbi eri ebyobujjanjabi obusookerwako zasaalibwako obuwumbi 3.483 okuva ku buwumbi 751.822 ezagerekebwa mu […]

Ababaka ba Palamenti Abakyala bagamba Bajeti eno tegenda kuyamba Bannaku

Ababaka ba Palamenti Abakyala bagamba Bajeti eno tegenda kuyamba Bannaku

Ivan Ssenabulya

June 15th, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye, Ababaka ba palamenti abakyala wansi w’ekibiina kyabwe ekibagatta ki Uganda Women Parliamentary Association-UWOPA bagamba nti embalirira y’omwaka gw’ebyensimbi ogujja eyinza obutagasa munnauganda owa wansi. Mukwogerako eri bannamawulire mu Kampala nga bakulembeddwamu omubaka omukyala owa disitulikiti y’e Kyegegwa, Flavia Kabahenda, ababaka bano bavumirira […]

Embalirira yéggwanga eya 2023/2024 esomwa leero

Embalirira yéggwanga eya 2023/2024 esomwa leero

Ivan Ssenabulya

June 15th, 2023

No comments

Bya Rita Kemigisa, Minisita w’ebyensimbi olwaleero asuubirwa okusoma mu butongole embalirira y’eggwanga ngembalirirwamu obutabalika 52 nóbuwumbi 7 eyómwaka gw’ebyensimbi 2023/2024. Okusinziira ku balondoola ebyenfuna mu ggwanga lino, embalirira eyayisibwa palamenti nga May 18 erabika nga nnene ku mpapula, obuwumbi 21.4 ziteekeddwa ku nsaasaanya, nga zino […]

Poliisi e Kassanda etandise okunonyereza ku Mukazi eyakubiddwa amasasi

Poliisi e Kassanda etandise okunonyereza ku Mukazi eyakubiddwa amasasi

Ivan Ssenabulya

June 14th, 2023

No comments

Bya Barbara Nalweyiso, Poliisi e Kassanda etandise okunonyereza kutemu eryakolebwa ku mukazi ategerekese nga Kisangani Jolesi wa myaka 35. Omukazi ono yakubiddwa masasi agamugye mu budde ku kyalo Katuugo. Omwogezi wa poliisi mu bitundu bye Wamala, Racheal Kawala, akakasiza ettemu lino era agamba okunonyereza okusoose […]

Bannauganda basabiddwa okukomya ebikolwa byonna ebirumya abakadde

Bannauganda basabiddwa okukomya ebikolwa byonna ebirumya abakadde

Ivan Ssenabulya

June 14th, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye, Nga Uganda etegeka okwegatta ku nsi yonna okukuza olunaku olw’okumanyisa abantu ku kutulugunyizibwa kw’abakadde olunaku lw’enkya, Bannayuganda basabiddwa okukomya okutulugunya abakadde mu ngeri yonna. Olunaku luno lukozesebwa okulaga n’okumanyisa abantu ku ddembe ly’abakadde, okujjukira n’okusiima omulimu gwe bakola mu kukulaakulanya eggwanga. Bwabadde […]

Museveni takyalina bubonero bwa kirwadde kya Covid-19

Museveni takyalina bubonero bwa kirwadde kya Covid-19

Ivan Ssenabulya

June 14th, 2023

No comments

Bya Rita Kemigisa, PULEZIDENTI Museveni ategezeza nga obubonero obubadde bulaga ekirwadde kya Covid19 ekyamuzingako bwe bugenze. Mu kiwandiiko kyeyafulumizza ku mukutu gwe ogwa Twitter akawungeezi akayise, pulezidenti yategeezezza nti teyandigenze mu kweyawula singa ebyava mu musaayi ku Ssande byali bisanyusa. Omukulembeze w’eggwanga agumizza Bannayuganda nti […]

Gavt Omusinga Wesley Mumbere emugyeko emisango

Gavt Omusinga Wesley Mumbere emugyeko emisango

Ivan Ssenabulya

June 13th, 2023

No comments

Bya Ruth Anderah, Gavumenti eggye emisango gy’obutujju egyali gyatekebwa ku Musinga wé Rwenzururu Charles Wesley Mumbere, n’abalala 217. Gavumenti wabula, esazeewo okuvunaana Ssaabaminisita w’o Businga bw’e Rwenzururu Thembo Kasubire ne Mashereka Kamada. Omulamuzi Alice Komuhangi okuva mu ekitongole kya International Crimes Division mu kkooti enkulu […]

Onebe yeegaanye ebyókutta eyali Mukyalawe

Onebe yeegaanye ebyókutta eyali Mukyalawe

Ivan Ssenabulya

June 13th, 2023

No comments

Bya Ruth Anderah, Omubalirizi w’ebitabo omukulu, Francis Onebe yeegaanyi okutta eyali mukyala we Immaculate Mary Blessing Onebe ng’oludda oluwaabi bwe lulumiriza. Onebe ow’emyaka 62 alabiseeko mu maaso g’omulamuzi wa kkooti enkulu Michael Elubu amusomedde omusango gw’obutemu n’agwegaana. Ono avunaanibwa wamu ne Bonny Oriekot ow’emyaka 26, […]

Sseduvutto e Iganga agombedwamu obwala

Sseduvutto e Iganga agombedwamu obwala

Ivan Ssenabulya

June 13th, 2023

No comments

Bya Abubaker Kirunda, Omusajja ow’emyaka 70 mu disitulikiti y’e Iganga asimattuse okuttibwa abatuuze ku kyalo Mutkura mu munisipaali y’e Iganga abanyiize olw’ebigambibwa nti yakabasanya omwana omuto ow’emyaka 7. Ono omukozi w’embaawo mu kitundu kino era kigambibwa nti yawadde omwana Shs200 naamusaba ayingire mu kisenge kye […]