Amawulire
Abalina okuganyulwa mu nsimbi za PDM e Butebo bakaaba
Bya Musasi waffe, Abalina okuganyulwa mu nsimbi za Parish Development Model mu Disitulikiti y’e Butebo bakaaba oluvannyuma lw’okuyimiriza okugaba ensimbi olw’ebigambibwa nti waliwo ensobi ezaakolebwa mu kwewandiisa. Gavumenti yafulumizza ensimbi za PDM eri disitulikiti eno ezibalirirwamu obuwumbi 6 kyokka ssente zino zikwamidde ku akawunti za […]
Kkooti esabye okufuna obujjulizi okuva mu Kampuni zámasimu ku musango gwóbutujju
Bya Ruth Anderah, Ekitongole ky’ensi yonna ekivunaanyizibwa ku buzzi bw’emisango mu kkooti enkulu kiragidde kkampuni z’amasimu okuli eya Airtel Uganda ne MTN Uganda okubawa olukalala lwe ennamba z’essimu ezikubirwa agambibwa okuba omutujju ne bakubira. Ekiragiro kino kiyisiddwa omulamuzi Richard Wejuli oluvannyuma lw’omuvunanwa Usufu Nyanzi okumumatiza […]
Alizaati ku kyasse abafamile bana e Kayunga zifuluma leero
BYA FRED MUZAALE, Ebyava mu kukeberebwa ku bulwadde obutta abantu obw’ekyama obwazuulibwa mu disitulikiti y’e Kayunga bisuubirwa olwaleero okuva mu kitongole ekinoonyereza ku kawuka ekya Uganda Virus Research Institute. Sampo zaggyiddwa mu mirambo gy’abantu bana abaafudde mu bulwadde obw’ekyama ku kyalo Kayonjo mu Town Council […]
Abakulisitaayo bakomyewo mu Kanisa eyakolebwamu Obwenzi, Baagitukuza
Bya Fred Muzale, Abakkiriza e Kayunga abaali bazira okudda mu kanisa mwe bakwatira abaali benderamu ku kituti, bamaze ne bakomawo oluvanyuma lwokutukuzibwa. Abakulisitaayo ba Bugonya Church of Uganda bebaali bakomba kwerima obutadda mu kanisa oluvanyuma lwokukwatiramu omusajja nga yeberese ku mukazi basinda omukwano ku katuuti […]
Abatunulizi bébyókulonda bawagidde Museveni ku by’okulonda kwa Uganda
Bya Prossy Kisakye, Abatunuulizi b’ebyokulonda basanyukidde ekiteeso kya Pulezidenti Yoweri Museveni eky’okutwala enkola y’okukozesa okulonda kw’ebyuma bikalimagezi mu kulonda okujja okwewala emize gyókubba akalulu. Ekiteeso kya Museveni kiddiridde obuvuyo obwalabidde mu kalulu kókulonda omubaka wa palamenti owa Oyam North akaakaggwa nga kawanguddwa Dr. Eunice Apio […]
Akabejje kasse bana mu ddundiro lyébisolo mu Murchison
Bya Juliet Nalwooga, Akabenje akagudde okuliraana ekkumiro lye bisolo erya Murchison Game Park ku luguudo oluva e Karuma okudda e Pakwach enkya ya leero kasse abantu bana. Nachuha Damali, addumira poliisi mu bitundu bya Aswa atutegeezezza nti ddereeva wa Toyota Noah ebadde etisse abasaabaze okuva […]
Omulamuzi Kayizzi wakukebeza abakwata abaana Endagabutonde
Bya Ruth Anderah, Omulamuzi ku kkooti eya Buganda, Road Ronald Kayizzi yewaddeyo okukozesa sente ze akebeze ndagabutonde eza abasajja abaleetebwa mu kkooti ye nga basobeza ku baana abawala abatanetuuka ne babafunyisa embuto ate nebazegaana. Omulamuzi Kayizzi ategeezezza kkooti nti kino kijja nakumuyamba okusala amazima mu misango […]
Abakyala bawakanyiza ekyókubaliyisa ku baana bebaasiba abasajja
Bya Prossy Kisakye, Akakiiko ke ggwanga akakola kunsonga za bakyala aka Uganda National Women Council kagaanye ekiteeso kyababaka ba palamenti abaagala abakyala bawalirizibbwe okuliyirira abasajja n’ensimbi zebaba basaasaanyiza mu kukuza abaana abatali babwe Kino kidiridde omuwendo gwa basajja abatwala abaana okukeberebwa endaga butonde, bakakase oba […]
Obubaka obukubagiza kukufa kw’omusubuuzi Aponye bukyayiika
Bya Prossy Kisakye, Obubaka obukubagiza bukyagenda mu maaso n’okuyiiya eri abagenda z’omugenzi abadde omusubuuzi omututumufu Apollo Nyegamahe aka Aponye eyafiiridde mu kabenje k’emmotoka akawungeezi kajjo. Mu baweereza obubaka kuliko ne sipiika wa palamenti, Anitah Among nga asaasidde abafamile, nayogera ku mugenzi ng’omusajja abadde omugezi enyo, […]
Owa UPC Dr. Eunice Apio yeyawangudde okulonda mu Oyam North
Bya Bill Oketch, Munnakibiina kya Uganda People’s Congress, Dr. Eunice Apio yeyawuse obuva ekifo kyómubaka wa Palamenti owa Oyam North Constituency. Akakiiko akébyókulonda kalangiridde Dr. Apio oluvanyuma lwokuwangula okulonda okwabaddeyo olunaku lweggulo n’obululu 15,700 (49%) ate munne bwebeebadde ku mbiranye owa NRM Samuel Engola Jr […]